Al-Humazah
الهمزة
Translation by Sheikh Abdul Razak Matovu
بِسْمِ اللَّهِ الرَّحْمَٰنِ الرَّحِيمِ
وَيۡلٞ لِّكُلِّ هُمَزَةٖ لُّمَزَةٍ
Okubonaabona okwamaanyi kugenda kubeera ku buli muntu atambuza engambo, ageya banne n'abaggya obumogo
ٱلَّذِي جَمَعَ مَالٗا وَعَدَّدَهُۥ
Oyo akungaanya ebyo bugagga n’abituuma
يَحۡسَبُ أَنَّ مَالَهُۥٓ أَخۡلَدَهُۥ
Alowooza nti eby'obugaggabye byakumukuumira ku nsi obugenderevu
كَلَّاۖ لَيُنۢبَذَنَّ فِي ٱلۡحُطَمَةِ
Nedda, ajja kukanyugwa mu muliro oguyitibwa “Hutwama”
وَمَآ أَدۡرَىٰكَ مَا ٱلۡحُطَمَةُ
Ye omanyi “Hutwama” kye ki
نَارُ ٱللَّهِ ٱلۡمُوقَدَةُ
(Hutwama) muliro gwa Katonda omukume, ogubumbujja
ٱلَّتِي تَطَّلِعُ عَلَى ٱلۡأَفۡـِٔدَةِ
Ogwo ogwokya negutuukira ddala ku mitima
إِنَّهَا عَلَيۡهِم مُّؤۡصَدَةٞ
Mazima ddala omuliro ogwo (Hutwama) ku bantu abo (abogeddwaako) gugenda kubabuutikira
فِي عَمَدٖ مُّمَدَّدَةِۭ
Mu midumu emiwanvu