Home

An-Nahl

النحل

Translation by Sheikh Abdul Razak Matovu

Surah 16

بِسْمِ اللَّهِ الرَّحْمَٰنِ الرَّحِيمِ

Verse 1

أَتَىٰٓ أَمۡرُ ٱللَّهِ فَلَا تَسۡتَعۡجِلُوهُۚ سُبۡحَٰنَهُۥ وَتَعَٰلَىٰ عَمَّا يُشۡرِكُونَ

Ekiragiro kya Katonda kisembedde n'olwekyo temusaba kwanguwa kwakyo, (Katonda) yasukkuluma neyeesamba ku ebyo bye bamugattako

Verse 2

يُنَزِّلُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةَ بِٱلرُّوحِ مِنۡ أَمۡرِهِۦ عَلَىٰ مَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦٓ أَنۡ أَنذِرُوٓاْ أَنَّهُۥ لَآ إِلَٰهَ إِلَّآ أَنَا۠ فَٱتَّقُونِ

Assa ba Malayika nga baleeta obubaka ku lw'ekiragirokye ku oyo gwaba ayagadde mu baddube, mutiise (abantu nga mubagamba nti), mazima tewali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako nze kale nno muntye

Verse 3

خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ بِٱلۡحَقِّۚ تَعَٰلَىٰ عَمَّا يُشۡرِكُونَ

Yatonda eggulu omusanvu n'ensi lwa nsonga, musukkulumu nnyo ku ebyo bye bamugattako

Verse 4

خَلَقَ ٱلۡإِنسَٰنَ مِن نُّطۡفَةٖ فَإِذَا هُوَ خَصِيمٞ مُّبِينٞ

Yatonda omuntu nga amuggya mu mazzi agazaala, (bwakula) naafuuka omukaayanye ow'olwatu

Verse 5

وَٱلۡأَنۡعَٰمَ خَلَقَهَاۖ لَكُمۡ فِيهَا دِفۡءٞ وَمَنَٰفِعُ وَمِنۡهَا تَأۡكُلُونَ

N’ebisolo ebirundibwa yabibatondera mufune mu byo okubuguma, n'emigaso (emirala) nga era kwe mulya

Verse 6

وَلَكُمۡ فِيهَا جَمَالٌ حِينَ تُرِيحُونَ وَحِينَ تَسۡرَحُونَ

Era mulina mu byo okunyumirwa mu kiseera wemubiggyirayo ne mu kiseera wemubitwalirayo (ku ttale)

Verse 7

وَتَحۡمِلُ أَثۡقَالَكُمۡ إِلَىٰ بَلَدٖ لَّمۡ تَكُونُواْ بَٰلِغِيهِ إِلَّا بِشِقِّ ٱلۡأَنفُسِۚ إِنَّ رَبَّكُمۡ لَرَءُوفٞ رَّحِيمٞ

(Nga ebisolo ebimu) byetikka emigugu gya mmwe okugitwala eri ekitundu gye mutandituuse okugyako mu buzibu obw'ekitalo, mazima bulijjo Mukama omulabirizi wa mmwe alumirwa nnyo wa kisa

Verse 8

وَٱلۡخَيۡلَ وَٱلۡبِغَالَ وَٱلۡحَمِيرَ لِتَرۡكَبُوهَا وَزِينَةٗۚ وَيَخۡلُقُ مَا لَا تَعۡلَمُونَ

Era (yatonda) enfalaasi, n'e nyumbu n'endogoyi mube nga mubyebagala era nga bya kubasanyusa, era atonda ne bye mutamanyi

Verse 9

وَعَلَى ٱللَّهِ قَصۡدُ ٱلسَّبِيلِ وَمِنۡهَا جَآئِرٞۚ وَلَوۡ شَآءَ لَهَدَىٰكُمۡ أَجۡمَعِينَ

Katonda y'alaga ekkubo ettuufu, ate amakubo agamu makyamu, singa yali ayagadde mwenna yandibalungamizza

Verse 10

هُوَ ٱلَّذِيٓ أَنزَلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗۖ لَّكُم مِّنۡهُ شَرَابٞ وَمِنۡهُ شَجَرٞ فِيهِ تُسِيمُونَ

Yye yooyo abatonnyeseza enkuba okuva waggulu, ku nkuba eyo kwe munywa, era ku nkuba eyo emiti kwe gimerera nga ku gyo kwe muliisa ensolo za mmwe

Verse 11

يُنۢبِتُ لَكُم بِهِ ٱلزَّرۡعَ وَٱلزَّيۡتُونَ وَٱلنَّخِيلَ وَٱلۡأَعۡنَٰبَ وَمِن كُلِّ ٱلثَّمَرَٰتِۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗ لِّقَوۡمٖ يَتَفَكَّرُونَ

Abamereza nayo ebirimwa ne Zaituni n'emitende ne nzabibu nabuli bibala byonna, mazima mu ekyo mulimu akabonero (akalaga obuyinza) bwa Katonda eri abantu abafumiitiriza

Verse 12

وَسَخَّرَ لَكُمُ ٱلَّيۡلَ وَٱلنَّهَارَ وَٱلشَّمۡسَ وَٱلۡقَمَرَۖ وَٱلنُّجُومُ مُسَخَّرَٰتُۢ بِأَمۡرِهِۦٓۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يَعۡقِلُونَ

Era yabagondeza ekiro n'emisana era enjuba n'omwezi n'emmunyeenye byonna byagonzebwa (bitambulira) ku kiragiro kye. Mazima mu ebyo byonna mulimu obubonero eri abantu abategeera

Verse 13

وَمَا ذَرَأَ لَكُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ مُخۡتَلِفًا أَلۡوَٰنُهُۥٓۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗ لِّقَوۡمٖ يَذَّكَّرُونَ

N’ebyo bye yabateera mu nsi nga amabala g'abyo tegafaanagana, mazima mu ekyo mulimu akabonero eri abantu abejjukanya

Verse 14

وَهُوَ ٱلَّذِي سَخَّرَ ٱلۡبَحۡرَ لِتَأۡكُلُواْ مِنۡهُ لَحۡمٗا طَرِيّٗا وَتَسۡتَخۡرِجُواْ مِنۡهُ حِلۡيَةٗ تَلۡبَسُونَهَاۖ وَتَرَى ٱلۡفُلۡكَ مَوَاخِرَ فِيهِ وَلِتَبۡتَغُواْ مِن فَضۡلِهِۦ وَلَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ

Era yye, yooyo eyagonza enyanja mube nga mulya muyo ennyama (ebyenyanja) ebibisi era muggye mu yo eby'okwewunda bye mwambala. Ogenda noolaba amaato nga gakola ekkubo muyo, olwo nno musobole okugenda okunoonya ebigabwabye (Katonda), era kibasobozese okwebaza

Verse 15

وَأَلۡقَىٰ فِي ٱلۡأَرۡضِ رَوَٰسِيَ أَن تَمِيدَ بِكُمۡ وَأَنۡهَٰرٗا وَسُبُلٗا لَّعَلَّكُمۡ تَهۡتَدُونَ

Era yassa mu nsi enkondo (ensozi) ereme kubayuuza, era nassaamu emigga, n'amakubo musobole okulungama

Verse 16

وَعَلَٰمَٰتٖۚ وَبِٱلنَّجۡمِ هُمۡ يَهۡتَدُونَ

Era naateeka (mu nsi) obubonero, okwo nno bwogattako emmunyeenye basobole okumanya gye balaga

Verse 17

أَفَمَن يَخۡلُقُ كَمَن لَّا يَخۡلُقُۚ أَفَلَا تَذَكَّرُونَ

Abange oyo atonda ayinza okuba nga atatonda! abaffe temujjukira

Verse 18

وَإِن تَعُدُّواْ نِعۡمَةَ ٱللَّهِ لَا تُحۡصُوهَآۗ إِنَّ ٱللَّهَ لَغَفُورٞ رَّحِيمٞ

Ne bwe mubala ebyengera bya Katonda temusobola kubikomekkereza, mazima Katonda musonyiyi nnyo musaasizi

Verse 19

وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ مَا تُسِرُّونَ وَمَا تُعۡلِنُونَ

Era Katonda amanyi bye mukola mu kyama ne bye mukola mu lwatu

Verse 20

وَٱلَّذِينَ يَدۡعُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ لَا يَخۡلُقُونَ شَيۡـٔٗا وَهُمۡ يُخۡلَقُونَ

Era abo bebasaba nebaleka Katonda tebatonda kintu kyonna ate nga bo batondebwa butondebwa

Verse 21

أَمۡوَٰتٌ غَيۡرُ أَحۡيَآءٖۖ وَمَا يَشۡعُرُونَ أَيَّانَ يُبۡعَثُونَ

(Bebasaba) bafu ssi balamu era tebamanyi ddi lwe balizuukizibwa

Verse 22

إِلَٰهُكُمۡ إِلَٰهٞ وَٰحِدٞۚ فَٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ بِٱلۡأٓخِرَةِ قُلُوبُهُم مُّنكِرَةٞ وَهُم مُّسۡتَكۡبِرُونَ

Katonda wa mmwe ali Katonda omu, abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero emitima gyabwe gikiwakanya era nga bo beekuza

Verse 23

لَا جَرَمَ أَنَّ ٱللَّهَ يَعۡلَمُ مَا يُسِرُّونَ وَمَا يُعۡلِنُونَۚ إِنَّهُۥ لَا يُحِبُّ ٱلۡمُسۡتَكۡبِرِينَ

Tewali kubuusabuusa mazima Katonda amanyi bye bakweka ne bye bakola mu lwatu, era mazima yye tayagala beekuza

Verse 24

وَإِذَا قِيلَ لَهُم مَّاذَآ أَنزَلَ رَبُّكُمۡ قَالُوٓاْ أَسَٰطِيرُ ٱلۡأَوَّلِينَ

Bwe baba bagambiddwa nti Mukama omulabirizi wa mmwe kiki kyassizza bagamba nti nfumo za baasooka

Verse 25

لِيَحۡمِلُوٓاْ أَوۡزَارَهُمۡ كَامِلَةٗ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ وَمِنۡ أَوۡزَارِ ٱلَّذِينَ يُضِلُّونَهُم بِغَيۡرِ عِلۡمٍۗ أَلَا سَآءَ مَا يَزِرُونَ

Olwo nno balyoke beetikke ebibi bya bwe mu bujjuvu ku lunaku lw'enkomerero, era beetikke ne ku bibi bya abo be baabuza awatali kumanya, abange kibi kye beetikka

Verse 26

قَدۡ مَكَرَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡ فَأَتَى ٱللَّهُ بُنۡيَٰنَهُم مِّنَ ٱلۡقَوَاعِدِ فَخَرَّ عَلَيۡهِمُ ٱلسَّقۡفُ مِن فَوۡقِهِمۡ وَأَتَىٰهُمُ ٱلۡعَذَابُ مِنۡ حَيۡثُ لَا يَشۡعُرُونَ

Ab’abakulembera baakola enkwe, Katonda naasitula ebizimbe byabwe nga asinziira ku musingi akasolya nekabagwira waggulu waabwe ebibonerezo nebibajjira okuva webatasuubira

Verse 27

ثُمَّ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ يُخۡزِيهِمۡ وَيَقُولُ أَيۡنَ شُرَكَآءِيَ ٱلَّذِينَ كُنتُمۡ تُشَـٰٓقُّونَ فِيهِمۡۚ قَالَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ إِنَّ ٱلۡخِزۡيَ ٱلۡيَوۡمَ وَٱلسُّوٓءَ عَلَى ٱلۡكَٰفِرِينَ

Oluvanyuma ku lunaku lw'enkomerero agenda kubaswaza, era agambe nti baliwa bannange abo bemwayawukanangamu, baligamba abo abaaweebwa okumanya nti mazima obuswavu ne nnaku olwa leero bigenda kubeera ku bakaafiiri

Verse 28

ٱلَّذِينَ تَتَوَفَّىٰهُمُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ ظَالِمِيٓ أَنفُسِهِمۡۖ فَأَلۡقَوُاْ ٱلسَّلَمَ مَا كُنَّا نَعۡمَلُ مِن سُوٓءِۭۚ بَلَىٰٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلِيمُۢ بِمَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ

Abo ba Malayika bebatuusa ku ntuuko zaabwe nga bakyeyisa bubi olwo nno nebalangirira okukkiriza Katonda (nga bwe bagamba nti) tetukolanga kibi kyonna. Nedda mazima Katonda amanyidde ddala ebyo bye mwakolanga

Verse 29

فَٱدۡخُلُوٓاْ أَبۡوَٰبَ جَهَنَّمَ خَٰلِدِينَ فِيهَاۖ فَلَبِئۡسَ مَثۡوَى ٱلۡمُتَكَبِّرِينَ

Kale muyingire emiryango gyo muliro Jahannama mugenda kutuula mu gwo obugenderevu. Obuddo bwa beekuza bubi

Verse 30

۞وَقِيلَ لِلَّذِينَ ٱتَّقَوۡاْ مَاذَآ أَنزَلَ رَبُّكُمۡۚ قَالُواْ خَيۡرٗاۗ لِّلَّذِينَ أَحۡسَنُواْ فِي هَٰذِهِ ٱلدُّنۡيَا حَسَنَةٞۚ وَلَدَارُ ٱلۡأٓخِرَةِ خَيۡرٞۚ وَلَنِعۡمَ دَارُ ٱلۡمُتَّقِينَ

Abo abatya Katonda bwe baba bagambiddwa nti Mukama omulabirizi wa mmwe kiki kyassizza bagamba nti bulungi bwereere, abo abakola obulungi mu nsi muno bateekwa kusasulwa bulungi ra e nyumba ey'enkomerero ye nnungi, era nga kyengera kinene okuba nga y’enyumba y'abatya Katonda

Verse 31

جَنَّـٰتُ عَدۡنٖ يَدۡخُلُونَهَا تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُۖ لَهُمۡ فِيهَا مَا يَشَآءُونَۚ كَذَٰلِكَ يَجۡزِي ٱللَّهُ ٱلۡمُتَّقِينَ

E jjana ey'olubeerera gye baliyingira, nga emigga gikulukutira wansi waayo nga bali mu yo balifuna ebyo bye beetaaga. Bwatyo Katonda bwasasula abamutya

Verse 32

ٱلَّذِينَ تَتَوَفَّىٰهُمُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ طَيِّبِينَ يَقُولُونَ سَلَٰمٌ عَلَيۡكُمُ ٱدۡخُلُواْ ٱلۡجَنَّةَ بِمَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ

Abo ba Malayika bebatusaako entuuko zaabwe nga balungi, nga bagamba nti emirembe gibeere ku mmwe muyingire e jjana olw'ebyo bye mwakola

Verse 33

هَلۡ يَنظُرُونَ إِلَّآ أَن تَأۡتِيَهُمُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ أَوۡ يَأۡتِيَ أَمۡرُ رَبِّكَۚ كَذَٰلِكَ فَعَلَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۚ وَمَا ظَلَمَهُمُ ٱللَّهُ وَلَٰكِن كَانُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ يَظۡلِمُونَ

Abaffe balina kye balinda mpozzi ba Malayika okubajjira oba nekijja ekyo Mukama omulabiriziwo kye yasalawo bwe batyo abaaliwo oluberyeberye lwabwe bwe baakola era Katonda teyabayisa bubi wabula bo bennyini be beeyisa obubi

Verse 34

فَأَصَابَهُمۡ سَيِّـَٔاتُ مَا عَمِلُواْ وَحَاقَ بِهِم مَّا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ

Obubi bw'ebyo bye baakola nebubatuukako era bye baali bajeeja nebibeetoloola

Verse 35

وَقَالَ ٱلَّذِينَ أَشۡرَكُواْ لَوۡ شَآءَ ٱللَّهُ مَا عَبَدۡنَا مِن دُونِهِۦ مِن شَيۡءٖ نَّحۡنُ وَلَآ ءَابَآؤُنَا وَلَا حَرَّمۡنَا مِن دُونِهِۦ مِن شَيۡءٖۚ كَذَٰلِكَ فَعَلَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۚ فَهَلۡ عَلَى ٱلرُّسُلِ إِلَّا ٱلۡبَلَٰغُ ٱلۡمُبِينُ

Abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala baagamba singa Katonda yayagala ffe wadde bakadde baffe tetwandisinzizza kintu kirala netulekayo yye, era tetwandizizizza kintu kyonna kyataaziza, mu ngeri y'emu abaaliwo oluberyeberye lwabwe baakola batyo, abaffe ababaka baali balina kye bavunaanyizibwa okugyako okutuukiriza obubaka mu ngeri ennyinyonnyofu

Verse 36

وَلَقَدۡ بَعَثۡنَا فِي كُلِّ أُمَّةٖ رَّسُولًا أَنِ ٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ وَٱجۡتَنِبُواْ ٱلطَّـٰغُوتَۖ فَمِنۡهُم مَّنۡ هَدَى ٱللَّهُ وَمِنۡهُم مَّنۡ حَقَّتۡ عَلَيۡهِ ٱلضَّلَٰلَةُۚ فَسِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَٱنظُرُواْ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلۡمُكَذِّبِينَ

Mazima buli bantu twabatumira omubaka (nga agamba) nti musinze Katonda mwewale ebisinzibwa ebirala byonna, mu bo mulimu Katonda be yalungamya, nga era mu bo mulimu abo abaakakatibwako okubula, kale mutambule mu nsi, mulabe enkomerero y'abalimbisa nga bwe yali

Verse 37

إِن تَحۡرِصۡ عَلَىٰ هُدَىٰهُمۡ فَإِنَّ ٱللَّهَ لَا يَهۡدِي مَن يُضِلُّۖ وَمَا لَهُم مِّن نَّـٰصِرِينَ

Bwoba olulunkanira kulungama kwa bwe, mazima Katonda tayinza kulungamya gwe yabuza, ate tebagenda kufuna wa kubadduukirira

Verse 38

وَأَقۡسَمُواْ بِٱللَّهِ جَهۡدَ أَيۡمَٰنِهِمۡ لَا يَبۡعَثُ ٱللَّهُ مَن يَمُوتُۚ بَلَىٰ وَعۡدًا عَلَيۡهِ حَقّٗا وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَعۡلَمُونَ

Era balayira Katonda nga bakakasa ebirayiro byabwe nti, Katonda tagenda kuzuukiza oyo afudde, nedda eyo ndagaano ku ye gye yeekakasaako edda (nti agenda kukikola) naye mazima abantu abasinga obungi tebamanyi (nti agenda kubazuukiza)

Verse 39

لِيُبَيِّنَ لَهُمُ ٱلَّذِي يَخۡتَلِفُونَ فِيهِ وَلِيَعۡلَمَ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَنَّهُمۡ كَانُواْ كَٰذِبِينَ

Olwo nno abannyonnyole ekyo kye baawukanamu era abo abaakaafuwala babe nga bamanya nti mazima bbo baali balimba

Verse 40

إِنَّمَا قَوۡلُنَا لِشَيۡءٍ إِذَآ أَرَدۡنَٰهُ أَن نَّقُولَ لَهُۥ كُن فَيَكُونُ

Mazima ekigambo kyaffe eri ekintu bwe tuba tukyagadde (kibeerewo) tukigamba nti ba nekiba

Verse 41

وَٱلَّذِينَ هَاجَرُواْ فِي ٱللَّهِ مِنۢ بَعۡدِ مَا ظُلِمُواْ لَنُبَوِّئَنَّهُمۡ فِي ٱلدُّنۡيَا حَسَنَةٗۖ وَلَأَجۡرُ ٱلۡأٓخِرَةِ أَكۡبَرُۚ لَوۡ كَانُواْ يَعۡلَمُونَ

Abo abaasenguka ku lwa Katonda oluvanyuma lw'okuyisibwa obubi tujja ku batuuza mu nsi mu bifo ebirungi, naye nga empeera y'olunaku lw'enkomerero yeesinga obunene singa baali bamanyi

Verse 42

ٱلَّذِينَ صَبَرُواْ وَعَلَىٰ رَبِّهِمۡ يَتَوَكَّلُونَ

(Bo) beebo abagumiikiriza era nga Mukama omulabirizi waabwe gwe beekwasa

Verse 43

وَمَآ أَرۡسَلۡنَا مِن قَبۡلِكَ إِلَّا رِجَالٗا نُّوحِيٓ إِلَيۡهِمۡۖ فَسۡـَٔلُوٓاْ أَهۡلَ ٱلذِّكۡرِ إِن كُنتُمۡ لَا تَعۡلَمُونَ

Tetutumanga oluberyeberyelwo okugyako basajja nga tubawa obubaka kale mubuuze ba nannyini kumanya bwe muba nga temumanyi

Verse 44

بِٱلۡبَيِّنَٰتِ وَٱلزُّبُرِۗ وَأَنزَلۡنَآ إِلَيۡكَ ٱلذِّكۡرَ لِتُبَيِّنَ لِلنَّاسِ مَا نُزِّلَ إِلَيۡهِمۡ وَلَعَلَّهُمۡ يَتَفَكَّرُونَ

(Tubatuma nga tubawa) obujulizi obweyolefu n'ebitabo, era twassa ku ggwe ekyokujjukiza osobole okunnyonnyola abantu ekyo ekyassibwa gye bali olwo babe nga beefumiitiriza

Verse 45

أَفَأَمِنَ ٱلَّذِينَ مَكَرُواْ ٱلسَّيِّـَٔاتِ أَن يَخۡسِفَ ٱللَّهُ بِهِمُ ٱلۡأَرۡضَ أَوۡ يَأۡتِيَهُمُ ٱلۡعَذَابُ مِنۡ حَيۡثُ لَا يَشۡعُرُونَ

Abo abakola enkwe, balina obwesige okuba nga Katonda tabaseeterezaako nsi oba ebibonerezo okubajjira nga biva gye batamanyi

Verse 46

أَوۡ يَأۡخُذَهُمۡ فِي تَقَلُّبِهِمۡ فَمَا هُم بِمُعۡجِزِينَ

(Oba Katonda) naabakwata nga bali mu kwetala kwa bwe (nga bakola emirimu) nga ate tebayinza kulemesa

Verse 47

أَوۡ يَأۡخُذَهُمۡ عَلَىٰ تَخَوُّفٖ فَإِنَّ رَبَّكُمۡ لَرَءُوفٞ رَّحِيمٌ

Oba naabakwata nga bali mu kutya (nti essaawa yonna ebibonerezo bibatuukako). Mazima Mukama omulabirizi wa mmwe alumirwa wa kisa

Verse 48

أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ إِلَىٰ مَا خَلَقَ ٱللَّهُ مِن شَيۡءٖ يَتَفَيَّؤُاْ ظِلَٰلُهُۥ عَنِ ٱلۡيَمِينِ وَٱلشَّمَآئِلِ سُجَّدٗا لِّلَّهِ وَهُمۡ دَٰخِرُونَ

Abaffe tebatunuulira ne balaba ebintu Katonda bye yatonda, ebisiikirize byabyo engeri gye bikyukamu ku ddyo ne ku kkono nga bivunnamira Katonda era nga bimugondera

Verse 49

وَلِلَّهِۤ يَسۡجُدُۤ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِ مِن دَآبَّةٖ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ وَهُمۡ لَا يَسۡتَكۡبِرُونَ

Katonda yekka ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi gwe bivunnamira, kabibe ebitambula ku nsi, ne ba Malayika, era byonna tebyekuza

Verse 50

يَخَافُونَ رَبَّهُم مِّن فَوۡقِهِمۡ وَيَفۡعَلُونَ مَا يُؤۡمَرُونَ۩

Batya Mukama omulabirizi waabwe ali waggulu waabwe era bakola buli ekibalagirwa

Verse 51

۞وَقَالَ ٱللَّهُ لَا تَتَّخِذُوٓاْ إِلَٰهَيۡنِ ٱثۡنَيۡنِۖ إِنَّمَا هُوَ إِلَٰهٞ وَٰحِدٞ فَإِيَّـٰيَ فَٱرۡهَبُونِ

Katonda agamba nti temugunjawo ba katonda ababiri, mazima yye ali Katonda omu kale nno nze nzekka gwe muba mutya

Verse 52

وَلَهُۥ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَلَهُ ٱلدِّينُ وَاصِبًاۚ أَفَغَيۡرَ ٱللَّهِ تَتَّقُونَ

Era bibye yekka ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi era yekka yaateekwa okugonderwa, ngeriki bwe muyinza okutya atali Katonda

Verse 53

وَمَا بِكُم مِّن نِّعۡمَةٖ فَمِنَ ٱللَّهِۖ ثُمَّ إِذَا مَسَّكُمُ ٱلضُّرُّ فَإِلَيۡهِ تَجۡـَٔرُونَ

Buli kyengera kyonna kye mulina kiva eri Katonda, oluvanyuma akabi bwe kabatuukako gyali gye musaba okuyambibwa

Verse 54

ثُمَّ إِذَا كَشَفَ ٱلضُّرَّ عَنكُمۡ إِذَا فَرِيقٞ مِّنكُم بِرَبِّهِمۡ يُشۡرِكُونَ

Ate bwabajjako obuzibu ogenda okulaba nga ekitundu ku mmwe bagatta ebintu ebirala ku Mukama omulabirizi waabwe

Verse 55

لِيَكۡفُرُواْ بِمَآ ءَاتَيۡنَٰهُمۡۚ فَتَمَتَّعُواْ فَسَوۡفَ تَعۡلَمُونَ

Nebawakanya bye twabawa kale mweyagale kyaddaaki mujja kumanya

Verse 56

وَيَجۡعَلُونَ لِمَا لَا يَعۡلَمُونَ نَصِيبٗا مِّمَّا رَزَقۡنَٰهُمۡۗ تَٱللَّهِ لَتُسۡـَٔلُنَّ عَمَّا كُنتُمۡ تَفۡتَرُونَ

Ebyo bye batamanyi (amasanamu) babiwa omugabo ku ebyo bye tubawa, ndayidde Katonda ddala mugenda kubuuzibwa ku ebyo bye mugunjaawo

Verse 57

وَيَجۡعَلُونَ لِلَّهِ ٱلۡبَنَٰتِ سُبۡحَٰنَهُۥ وَلَهُم مَّا يَشۡتَهُونَ

Nebateerawo Katonda abaana ab'obuwala, Katonda musukkulumu ku ekyo bo nebeewa be baagala (abalenzi)

Verse 58

وَإِذَا بُشِّرَ أَحَدُهُم بِٱلۡأُنثَىٰ ظَلَّ وَجۡهُهُۥ مُسۡوَدّٗا وَهُوَ كَظِيمٞ

so nga ate omu ku bo bwe bamuwa amawulire ag'okufuna omwana omuwala ekyenyikye kifuuka era n'aba munyikaavu

Verse 59

يَتَوَٰرَىٰ مِنَ ٱلۡقَوۡمِ مِن سُوٓءِ مَا بُشِّرَ بِهِۦٓۚ أَيُمۡسِكُهُۥ عَلَىٰ هُونٍ أَمۡ يَدُسُّهُۥ فِي ٱلتُّرَابِۗ أَلَا سَآءَ مَا يَحۡكُمُونَ

Nga yeekweka abantu olw'amawulire amabi agamutuuseeko, (nga alowooza eky'okukola) amale gabeera n'ekibi ekyo mu buswavu oba amuziike mu ttaka. Abange kibi ekyo kye baasalangawo

Verse 60

لِلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ بِٱلۡأٓخِرَةِ مَثَلُ ٱلسَّوۡءِۖ وَلِلَّهِ ٱلۡمَثَلُ ٱلۡأَعۡلَىٰۚ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ

Abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero bakubirwako ekifaananyi ekisinga okuba ekibi, (mu bukaafiiri n'obutamanya) so nga ye Katonda alina ebitendo ebisukkulumu, era nga ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga

Verse 61

وَلَوۡ يُؤَاخِذُ ٱللَّهُ ٱلنَّاسَ بِظُلۡمِهِم مَّا تَرَكَ عَلَيۡهَا مِن دَآبَّةٖ وَلَٰكِن يُؤَخِّرُهُمۡ إِلَىٰٓ أَجَلٖ مُّسَمّٗىۖ فَإِذَا جَآءَ أَجَلُهُمۡ لَا يَسۡتَـٔۡخِرُونَ سَاعَةٗ وَلَا يَسۡتَقۡدِمُونَ

Singa Katonda yali asasulirawo abantu olw'okweyisa kwabwe obubi, teyaalirese ku nsi kitambula kyonna wabula abalindiriza okutuuka ku kiseera kyabwe ekigere, olwo nno ekiseera kyabwe ekigere bwe kiba kimaze okutuuka tebayinza kusaba nekyongezebwayo nga bwe batayinza kusaba nekireetebwa mangu

Verse 62

وَيَجۡعَلُونَ لِلَّهِ مَا يَكۡرَهُونَۚ وَتَصِفُ أَلۡسِنَتُهُمُ ٱلۡكَذِبَ أَنَّ لَهُمُ ٱلۡحُسۡنَىٰۚ لَا جَرَمَ أَنَّ لَهُمُ ٱلنَّارَ وَأَنَّهُم مُّفۡرَطُونَ

(Era abo abatakkiriza) bateeka ku Katonda ekyo bbo kye batamwa, ennimi zaabwe zoogera eby'obulimba (mbu) balina obulungi (ewa Katonda), tewali kubuusabuusa nti mazima bo baakusasulwa muliro, era ddala bo baakulekebwa mu muliro

Verse 63

تَٱللَّهِ لَقَدۡ أَرۡسَلۡنَآ إِلَىٰٓ أُمَمٖ مِّن قَبۡلِكَ فَزَيَّنَ لَهُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ أَعۡمَٰلَهُمۡ فَهُوَ وَلِيُّهُمُ ٱلۡيَوۡمَ وَلَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ

Ndayira Katonda, mazima twatumira abantu abaaliwo oluberyeberyelwo (Ggwe Muhammad), ate Sitane naabawundira ebibi bye bakola, kale nno olwa leero abeere munnaabwe, era baakussibwako ebibonerezo ebiruma

Verse 64

وَمَآ أَنزَلۡنَا عَلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبَ إِلَّا لِتُبَيِّنَ لَهُمُ ٱلَّذِي ٱخۡتَلَفُواْ فِيهِ وَهُدٗى وَرَحۡمَةٗ لِّقَوۡمٖ يُؤۡمِنُونَ

Tetwakussaako kitabo (kino) wabula lwa kukusobozesa kubannyonnyola ekyo kye baawukanamu, era nga (Kur’ani) bulungamu era nga kusaasira eri abantu abakkiriza

Verse 65

وَٱللَّهُ أَنزَلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَأَحۡيَا بِهِ ٱلۡأَرۡضَ بَعۡدَ مَوۡتِهَآۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗ لِّقَوۡمٖ يَسۡمَعُونَ

Era Katonda yassa enkuba okuva waggulu naawa nayo ettaka obulamu, oluvanyuma lw'okukala kwalyo, mazima mu ekyo mulimu akabonero eri abantu abawulira (nebategeera)

Verse 66

وَإِنَّ لَكُمۡ فِي ٱلۡأَنۡعَٰمِ لَعِبۡرَةٗۖ نُّسۡقِيكُم مِّمَّا فِي بُطُونِهِۦ مِنۢ بَيۡنِ فَرۡثٖ وَدَمٖ لَّبَنًا خَالِصٗا سَآئِغٗا لِّلشَّـٰرِبِينَ

Mazima mulina eky'okuyiga mu bisolo ebirundibwa, tubanywesa ku ebyo ebiri munda wa'byo, amata ameereere nga gava wakati w'obusa n'omusayi agawoomera abanywi

Verse 67

وَمِن ثَمَرَٰتِ ٱلنَّخِيلِ وَٱلۡأَعۡنَٰبِ تَتَّخِذُونَ مِنۡهُ سَكَرٗا وَرِزۡقًا حَسَنًاۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗ لِّقَوۡمٖ يَعۡقِلُونَ

Era ne mu bibala by'emitende ne Nzabibu mwekoleramu eby'okunywa era nemufunamu n'ebyokulya ebirungi. Mazima mu ekyo mulimu akabonero eri abantu abategeera

Verse 68

وَأَوۡحَىٰ رَبُّكَ إِلَى ٱلنَّحۡلِ أَنِ ٱتَّخِذِي مِنَ ٱلۡجِبَالِ بُيُوتٗا وَمِنَ ٱلشَّجَرِ وَمِمَّا يَعۡرِشُونَ

Era Mukama omulabiriziwo yatumira enjuki nti mukole mu nsozi amayumba (emizinga), ne mu miti ne mu ebyo bye babazimbira

Verse 69

ثُمَّ كُلِي مِن كُلِّ ٱلثَّمَرَٰتِ فَٱسۡلُكِي سُبُلَ رَبِّكِ ذُلُلٗاۚ يَخۡرُجُ مِنۢ بُطُونِهَا شَرَابٞ مُّخۡتَلِفٌ أَلۡوَٰنُهُۥ فِيهِ شِفَآءٞ لِّلنَّاسِۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗ لِّقَوۡمٖ يَتَفَكَّرُونَ

Olwo nno (wanjuki), lya ku buli kibala, nga bwogoberera enkola ya Mukama omulabiriziwo gye yasalawo ogoberere, (enjuki bwe zikola zityo) mu mbuto zaazo muvaamu ekyokunywa eky'amabala agenjawulo nga mulimu okuwonya abantu, mazima mu ekyo mulimu akabonereo eri abantu abafumiititiza

Verse 70

وَٱللَّهُ خَلَقَكُمۡ ثُمَّ يَتَوَفَّىٰكُمۡۚ وَمِنكُم مَّن يُرَدُّ إِلَىٰٓ أَرۡذَلِ ٱلۡعُمُرِ لِكَيۡ لَا يَعۡلَمَ بَعۡدَ عِلۡمٖ شَيۡـًٔاۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلِيمٞ قَدِيرٞ

Era Katonda yeeyabatonda oluvanyuma y’abatta, era mu mmwe mulimu abazzibwa eri obulamu obusinga okuba obwa wansi, olwo nno (omuntu) atuuke okuba nga takyamanyi kintu kyonna oluvanyuma lw'okuba nti yali amanyi. Mazima Katonda amanyi nnyo muyinza

Verse 71

وَٱللَّهُ فَضَّلَ بَعۡضَكُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٖ فِي ٱلرِّزۡقِۚ فَمَا ٱلَّذِينَ فُضِّلُواْ بِرَآدِّي رِزۡقِهِمۡ عَلَىٰ مَا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُهُمۡ فَهُمۡ فِيهِ سَوَآءٌۚ أَفَبِنِعۡمَةِ ٱللَّهِ يَجۡحَدُونَ

Era Katonda yasukkulumya abamu mu mmwe ku balala mu by'enfuna, abo abaasukkulumizibwa ku balala tebaddiza ku bya nfuna bya bwe eri abo bebafuga, olwo nno babe nga bonna benkanankana, abaffe ate olwo ebyengera bya Katonda bye bawakanya

Verse 72

وَٱللَّهُ جَعَلَ لَكُم مِّنۡ أَنفُسِكُمۡ أَزۡوَٰجٗا وَجَعَلَ لَكُم مِّنۡ أَزۡوَٰجِكُم بَنِينَ وَحَفَدَةٗ وَرَزَقَكُم مِّنَ ٱلطَّيِّبَٰتِۚ أَفَبِٱلۡبَٰطِلِ يُؤۡمِنُونَ وَبِنِعۡمَتِ ٱللَّهِ هُمۡ يَكۡفُرُونَ

Era Katonda yabateerawo be mufumbiriganwa nabo nga abaggya mu mmwe era naabateerawo nga aggya mu bemufumbiriganwa nabo abaana n'abazzukulu, era naabagabira nga aggya mu birungi, abaffe ebitali bituufu bye bakkiriza ate ebyengera bya Katonda bo bye bawakanya

Verse 73

وَيَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ مَا لَا يَمۡلِكُ لَهُمۡ رِزۡقٗا مِّنَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ شَيۡـٔٗا وَلَا يَسۡتَطِيعُونَ

Nebatuuka okusinza ebitali Katonda, ebitalina buyinza bwonna ku Riziki yaabwe okuva mu ggulu omusanvu n'ensi, era nga tebiyinza kukisobola

Verse 74

فَلَا تَضۡرِبُواْ لِلَّهِ ٱلۡأَمۡثَالَۚ إِنَّ ٱللَّهَ يَعۡلَمُ وَأَنتُمۡ لَا تَعۡلَمُونَ

Kale nno Katonda temumu kubirangako bifaananyi, anti mazima Katonda amanyi ate mmwe temumanyi

Verse 75

۞ضَرَبَ ٱللَّهُ مَثَلًا عَبۡدٗا مَّمۡلُوكٗا لَّا يَقۡدِرُ عَلَىٰ شَيۡءٖ وَمَن رَّزَقۡنَٰهُ مِنَّا رِزۡقًا حَسَنٗا فَهُوَ يُنفِقُ مِنۡهُ سِرّٗا وَجَهۡرًاۖ هَلۡ يَسۡتَوُۥنَۚ ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِۚ بَلۡ أَكۡثَرُهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ

Katonda yakuba ekifaananyi eky'omuntu omufuge nga talina kintu kyonna kyasobola, n'ekifaananyi ekirala eky'oyo gwe tugabirira okuva gye tuli e riziki ennungi, nga naye (omuddu oyo) agaba ku yo mu kyama n'olwatu abaffe benkana?. Ebitendo byonna bya Katonda, wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi

Verse 76

وَضَرَبَ ٱللَّهُ مَثَلٗا رَّجُلَيۡنِ أَحَدُهُمَآ أَبۡكَمُ لَا يَقۡدِرُ عَلَىٰ شَيۡءٖ وَهُوَ كَلٌّ عَلَىٰ مَوۡلَىٰهُ أَيۡنَمَا يُوَجِّههُّ لَا يَأۡتِ بِخَيۡرٍ هَلۡ يَسۡتَوِي هُوَ وَمَن يَأۡمُرُ بِٱلۡعَدۡلِ وَهُوَ عَلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ

Era Katonda yakuba ekifaananyi ekya basajja ababiri omu ku bo nga Kasiru nga tasobola kukola kintu kyonna, n'aba mugugu ku Mukamaawe, wonna waaba amutumye nga talina kirungi kyayinza kumugasa abaffe oyo yenkana n'omuntu alagira okukola obwenkanya ate nga ali ku kkubo eggolokofu

Verse 77

وَلِلَّهِ غَيۡبُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ وَمَآ أَمۡرُ ٱلسَّاعَةِ إِلَّا كَلَمۡحِ ٱلۡبَصَرِ أَوۡ هُوَ أَقۡرَبُۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ

Katonda amanyi ebikusike mu ggulu omusanvu ne mu nsi, obwangu bw'okujja kw’olunaku lw'enkomerero tebuli okugyako nga olutemya lweriiso, oba kyo kyekisinga obwangu, anti mazima Katonda ku buli kintu muyinza

Verse 78

وَٱللَّهُ أَخۡرَجَكُم مِّنۢ بُطُونِ أُمَّهَٰتِكُمۡ لَا تَعۡلَمُونَ شَيۡـٔٗا وَجَعَلَ لَكُمُ ٱلسَّمۡعَ وَٱلۡأَبۡصَٰرَ وَٱلۡأَفۡـِٔدَةَ لَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ

Era Katonda yabagya mu mbuto za bannyamwe nga temulina kyemumanyi, naabawa amatu, n'amaaso, n'emitima mube nga mwebaza

Verse 79

أَلَمۡ يَرَوۡاْ إِلَى ٱلطَّيۡرِ مُسَخَّرَٰتٖ فِي جَوِّ ٱلسَّمَآءِ مَا يُمۡسِكُهُنَّ إِلَّا ٱللَّهُۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يُؤۡمِنُونَ

Abaffe tebatunuulira ebinyonyi nga byagondezebwa (okubuuka) waggulu mubbanga tewali abiwanirira okugyako Katonda. Mazima mwekyo mulimu obubonero eri abantu abakkiriza

Verse 80

وَٱللَّهُ جَعَلَ لَكُم مِّنۢ بُيُوتِكُمۡ سَكَنٗا وَجَعَلَ لَكُم مِّن جُلُودِ ٱلۡأَنۡعَٰمِ بُيُوتٗا تَسۡتَخِفُّونَهَا يَوۡمَ ظَعۡنِكُمۡ وَيَوۡمَ إِقَامَتِكُمۡ وَمِنۡ أَصۡوَافِهَا وَأَوۡبَارِهَا وَأَشۡعَارِهَآ أَثَٰثٗا وَمَتَٰعًا إِلَىٰ حِينٖ

Era Katonda yabateerawo mu mayumba gammwe obuwummuliro, era naabateerawo mu maliba gebisolo amayumba agabanguyira lwe muba mutambudde ne lwe muba temutambudde, ate nabaggira mu byoya bye ndiga ne bye ngamiya ne mu bye mbuzi ebyokukozesa era nga byakweyagala kwa mmwe okumala akabanga

Verse 81

وَٱللَّهُ جَعَلَ لَكُم مِّمَّا خَلَقَ ظِلَٰلٗا وَجَعَلَ لَكُم مِّنَ ٱلۡجِبَالِ أَكۡنَٰنٗا وَجَعَلَ لَكُمۡ سَرَٰبِيلَ تَقِيكُمُ ٱلۡحَرَّ وَسَرَٰبِيلَ تَقِيكُم بَأۡسَكُمۡۚ كَذَٰلِكَ يُتِمُّ نِعۡمَتَهُۥ عَلَيۡكُمۡ لَعَلَّكُمۡ تُسۡلِمُونَ

Era Katonda yabateerawo ebisiikirize nga bikolebwa ebimu ku ebyo bye yatonda era naabateera mu nsozi empuku (wemwekukuma) era naabateerawo ebyambalo ebibajuna ku bbugumu n'ebyambalo (ebirala) ebibakuuma mu ntalo zammwe bwatyo bwajjuliza ebyengerabye ku mmwe kibayambe okukkiriza

Verse 82

فَإِن تَوَلَّوۡاْ فَإِنَّمَا عَلَيۡكَ ٱلۡبَلَٰغُ ٱلۡمُبِينُ

Naye bwe bava ku ekyo mazima kyoteekwa okukola kwe kutuusa obubaka mu bunnyonnyofu

Verse 83

يَعۡرِفُونَ نِعۡمَتَ ٱللَّهِ ثُمَّ يُنكِرُونَهَا وَأَكۡثَرُهُمُ ٱلۡكَٰفِرُونَ

Bamanya ebyengera bya Katonda, naye nebabiwakanya, era abasinga obungi mu bo bakaafiiri

Verse 84

وَيَوۡمَ نَبۡعَثُ مِن كُلِّ أُمَّةٖ شَهِيدٗا ثُمَّ لَا يُؤۡذَنُ لِلَّذِينَ كَفَرُواْ وَلَا هُمۡ يُسۡتَعۡتَبُونَ

(Bajjukize) olunaku lwe tulizuukiza mu buli kibiina omujulizi, oluvanyuma abo abaakaafuwala tebagenda kukkirizibwa kwetonda, nga era bwe batagenda kusabibwa kwemenya

Verse 85

وَإِذَا رَءَا ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ ٱلۡعَذَابَ فَلَا يُخَفَّفُ عَنۡهُمۡ وَلَا هُمۡ يُنظَرُونَ

Abo abeeyisa obubi kebaliraba ku bibonerezo tebigenda kukendezebwa ku bo era tebagenda kulindirizibwa

Verse 86

وَإِذَا رَءَا ٱلَّذِينَ أَشۡرَكُواْ شُرَكَآءَهُمۡ قَالُواْ رَبَّنَا هَـٰٓؤُلَآءِ شُرَكَآؤُنَا ٱلَّذِينَ كُنَّا نَدۡعُواْ مِن دُونِكَۖ فَأَلۡقَوۡاْ إِلَيۡهِمُ ٱلۡقَوۡلَ إِنَّكُمۡ لَكَٰذِبُونَ

Abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala bwe baliraba ebyo bye baamugattangako, baligamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe abo be bannaffe betwasabanga gwe netukuvaako, nebabaddiza ekigambo nti, mazima mmwe muli balimba

Verse 87

وَأَلۡقَوۡاْ إِلَى ٱللَّهِ يَوۡمَئِذٍ ٱلسَّلَمَۖ وَضَلَّ عَنۡهُم مَّا كَانُواْ يَفۡتَرُونَ

Olunaku olwo bagenda kulangirira okwewaayo ewa Katonda era bigenda kubabulako ebyo bye bagunjawo

Verse 88

ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَصَدُّواْ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ زِدۡنَٰهُمۡ عَذَابٗا فَوۡقَ ٱلۡعَذَابِ بِمَا كَانُواْ يُفۡسِدُونَ

Abo abaakaafuwala nebalobera abantu abalafuubana nga baweereza mu kkubo lya Katonda, tugenda kubongera ebibonerezo waggulu w'ebibonerezo ku lw'ebyo bye baayonoonanga

Verse 89

وَيَوۡمَ نَبۡعَثُ فِي كُلِّ أُمَّةٖ شَهِيدًا عَلَيۡهِم مِّنۡ أَنفُسِهِمۡۖ وَجِئۡنَا بِكَ شَهِيدًا عَلَىٰ هَـٰٓؤُلَآءِۚ وَنَزَّلۡنَا عَلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبَ تِبۡيَٰنٗا لِّكُلِّ شَيۡءٖ وَهُدٗى وَرَحۡمَةٗ وَبُشۡرَىٰ لِلۡمُسۡلِمِينَ

Era bajjukize olunaku lwe tulizuukiza mu buli bantu oyo alibawaako obujulizi nga ava mu bo bennyini ate ggwe netukuleeta nga owa obujulizi ku abo, era twakussaako ekitabo nga kinnyonnyola buli kintu era nga bulungamu, era nga kusaasira, era nga mawulire ag'essanyu eri abasiraamu

Verse 90

۞إِنَّ ٱللَّهَ يَأۡمُرُ بِٱلۡعَدۡلِ وَٱلۡإِحۡسَٰنِ وَإِيتَآيِٕ ذِي ٱلۡقُرۡبَىٰ وَيَنۡهَىٰ عَنِ ٱلۡفَحۡشَآءِ وَٱلۡمُنكَرِ وَٱلۡبَغۡيِۚ يَعِظُكُمۡ لَعَلَّكُمۡ تَذَكَّرُونَ

Mazima Katonda alagira obwenkanya, n'okuyisa, obulungi n'okugabira ab'oluganda olw'okumpi. Era aziza eby'obuwemu n'empisa embi n'okwewaggula ababuUlirira mube nga mujjukira

Verse 91

وَأَوۡفُواْ بِعَهۡدِ ٱللَّهِ إِذَا عَٰهَدتُّمۡ وَلَا تَنقُضُواْ ٱلۡأَيۡمَٰنَ بَعۡدَ تَوۡكِيدِهَا وَقَدۡ جَعَلۡتُمُ ٱللَّهَ عَلَيۡكُمۡ كَفِيلًاۚ إِنَّ ٱللَّهَ يَعۡلَمُ مَا تَفۡعَلُونَ

Era mutuukirize endagaano ya Katonda, era temumenyanga ebirayiro oluvanyuma lw'okubinyweza, nga ate Katonda gwe mwafuula omweyimirize wa mmwe. Bulijjo mazima Katonda amanyi byonna bye mukola

Verse 92

وَلَا تَكُونُواْ كَٱلَّتِي نَقَضَتۡ غَزۡلَهَا مِنۢ بَعۡدِ قُوَّةٍ أَنكَٰثٗا تَتَّخِذُونَ أَيۡمَٰنَكُمۡ دَخَلَۢا بَيۡنَكُمۡ أَن تَكُونَ أُمَّةٌ هِيَ أَرۡبَىٰ مِنۡ أُمَّةٍۚ إِنَّمَا يَبۡلُوكُمُ ٱللَّهُ بِهِۦۚ وَلَيُبَيِّنَنَّ لَكُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ مَا كُنتُمۡ فِيهِ تَخۡتَلِفُونَ

Temubeera nga omukazi oyo eyataggululanga byatunze nebifuuka obulere oluvanyuma lw'okubinyweza, nga mufuula ebirayiro bya mmwe enkwe wakati wa mwwe olw'okuba nti abantu abamu bo bagagga okusinga abalala,mazima (eby'obugagga) Katonda abagezesa nabyo bugezesa era ku lunaku lw'enkomerero agenda kubannyonnyolera ddala bye mwali mwawukanamu

Verse 93

وَلَوۡ شَآءَ ٱللَّهُ لَجَعَلَكُمۡ أُمَّةٗ وَٰحِدَةٗ وَلَٰكِن يُضِلُّ مَن يَشَآءُ وَيَهۡدِي مَن يَشَآءُۚ وَلَتُسۡـَٔلُنَّ عَمَّا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ

Singa Katonda yayagala yandibafudde ekibiina kimu, naye abuza oyo gwaba ayagadde era nalungamya oyo gwaba ayagadde, era ddala mugenda kubuuzibwa ebyo bye mwakolanga

Verse 94

وَلَا تَتَّخِذُوٓاْ أَيۡمَٰنَكُمۡ دَخَلَۢا بَيۡنَكُمۡ فَتَزِلَّ قَدَمُۢ بَعۡدَ ثُبُوتِهَا وَتَذُوقُواْ ٱلسُّوٓءَ بِمَا صَدَدتُّمۡ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ وَلَكُمۡ عَذَابٌ عَظِيمٞ

Temufuulanga ebirayiro bya mmwe okukwenyakwenya wakati wa mmwe, olwo nno ekigere nekiserera oluvanyuma lw'okunywera kwakyo, era nemukomba ku bubi (bw'obusungu bwa Katonda), kulwokuziza kwa mmwe (abantu) ku kkubo lya Katonda era mugenda kutuusibwaako ebibonerezo ebiyitirivu

Verse 95

وَلَا تَشۡتَرُواْ بِعَهۡدِ ٱللَّهِ ثَمَنٗا قَلِيلًاۚ إِنَّمَا عِندَ ٱللَّهِ هُوَ خَيۡرٞ لَّكُمۡ إِن كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ

Endagaano ya Katonda temugitundanga omuwendo omutono, mazima ebiri ewa Katonda bye birungi gye muli, bwe muba nga mumanyi

Verse 96

مَا عِندَكُمۡ يَنفَدُ وَمَا عِندَ ٱللَّهِ بَاقٖۗ وَلَنَجۡزِيَنَّ ٱلَّذِينَ صَبَرُوٓاْ أَجۡرَهُم بِأَحۡسَنِ مَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ

Byemulina biggwawo ate ebiri ewa Katonda bya kusigalawo, abo abagumiikiriza tugenda kubasasulira ddala empeera yaabwe nga baweebwa ekisinga obulungi ku lw'ebyo bye baakolanga

Verse 97

مَنۡ عَمِلَ صَٰلِحٗا مِّن ذَكَرٍ أَوۡ أُنثَىٰ وَهُوَ مُؤۡمِنٞ فَلَنُحۡيِيَنَّهُۥ حَيَوٰةٗ طَيِّبَةٗۖ وَلَنَجۡزِيَنَّهُمۡ أَجۡرَهُم بِأَحۡسَنِ مَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ

Oyo yenna akola omulimu omulingi, kaabe musajja oba mukazi, nga naye mukkiriza, tugenda kumuwangaliza ddala mu bulamu obulungi era tugenda kubasasula empeera yaabwe nga baweebwa ekisinga obulungi ku lw'ebyo bye baakolanga

Verse 98

فَإِذَا قَرَأۡتَ ٱلۡقُرۡءَانَ فَٱسۡتَعِذۡ بِٱللَّهِ مِنَ ٱلشَّيۡطَٰنِ ٱلرَّجِيمِ

Buli lwoyagala okusoma Kur’ani saba Katonda akukuume ku Sitane eyafulumizibwa (mu kusaasira kwa Katonda)

Verse 99

إِنَّهُۥ لَيۡسَ لَهُۥ سُلۡطَٰنٌ عَلَى ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَلَىٰ رَبِّهِمۡ يَتَوَكَّلُونَ

Mazima ye (Sitane) talina buyinza ku abo abakkiriza era nga Mukama omulabirizi waabwe gwe beekwasa

Verse 100

إِنَّمَا سُلۡطَٰنُهُۥ عَلَى ٱلَّذِينَ يَتَوَلَّوۡنَهُۥ وَٱلَّذِينَ هُم بِهِۦ مُشۡرِكُونَ

Mazima obuyinzabwe buli ku abo abamwewa, era n'abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala

Verse 101

وَإِذَا بَدَّلۡنَآ ءَايَةٗ مَّكَانَ ءَايَةٖ وَٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِمَا يُنَزِّلُ قَالُوٓاْ إِنَّمَآ أَنتَ مُفۡتَرِۭۚ بَلۡ أَكۡثَرُهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ

Bwetukyusa aya mu kifo kya aya endala, era nga Katonda yamanyi ebyo byassa, bagamba nti mazima ggwe obyeyiyiza naye (ekituufu) abasinga obungi mu bo tebamanyi

Verse 102

قُلۡ نَزَّلَهُۥ رُوحُ ٱلۡقُدُسِ مِن رَّبِّكَ بِٱلۡحَقِّ لِيُثَبِّتَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَهُدٗى وَبُشۡرَىٰ لِلۡمُسۡلِمِينَ

Gamba nti yagissa (Kur’ani) mu bwesimbu mwoyo mutukuvu (Jiburilu) nga ajijja ewa Mukama omulabiriziwo, olwo nno alyoke anyweze abo abakkiriza era (Kur’ani) bulungamu n'amawulire ga ssanyu eri abasiraamu

Verse 103

وَلَقَدۡ نَعۡلَمُ أَنَّهُمۡ يَقُولُونَ إِنَّمَا يُعَلِّمُهُۥ بَشَرٞۗ لِّسَانُ ٱلَّذِي يُلۡحِدُونَ إِلَيۡهِ أَعۡجَمِيّٞ وَهَٰذَا لِسَانٌ عَرَبِيّٞ مُّبِينٌ

Mazima tukimanyi nti bo bagamba nti ddala amuyigiriza muntu (ekyo kyabulimba) anti olulimi lw'oyo gwebemulugunyako nti yamuyigiriza si Ruwarabu ate nga eno Kur’ani eri mu lulimi oluwarabu olweyolefu

Verse 104

إِنَّ ٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ لَا يَهۡدِيهِمُ ٱللَّهُ وَلَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٌ

Mazima abo abatakkiriza bigambo bya Katonda, Katonda tabalungamya era baakutukibwako ebibonerezo ebiruma

Verse 105

إِنَّمَا يَفۡتَرِي ٱلۡكَذِبَ ٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِۖ وَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡكَٰذِبُونَ

Mazima abagunjawo obulimba beebo abatakkiriza bigambo bya Katonda era abo bo be balimba

Verse 106

مَن كَفَرَ بِٱللَّهِ مِنۢ بَعۡدِ إِيمَٰنِهِۦٓ إِلَّا مَنۡ أُكۡرِهَ وَقَلۡبُهُۥ مُطۡمَئِنُّۢ بِٱلۡإِيمَٰنِ وَلَٰكِن مَّن شَرَحَ بِٱلۡكُفۡرِ صَدۡرٗا فَعَلَيۡهِمۡ غَضَبٞ مِّنَ ٱللَّهِ وَلَهُمۡ عَذَابٌ عَظِيمٞ

Oyo yenna awakanya Katonda oluvanyuma lwokukkirizakwe (kagenda kumujjutuka), okugyako oyo akakiddwa naye nga omutima gwe gunyweredde ku bukkiriza, naye oyo ayanjuliriza obukaafiiri ekifubakye, abo baliko obusungu okuva eri Katonda, era balituusibwako ebibonerezo ebiyitirivu

Verse 107

ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمُ ٱسۡتَحَبُّواْ ٱلۡحَيَوٰةَ ٱلدُّنۡيَا عَلَى ٱلۡأٓخِرَةِ وَأَنَّ ٱللَّهَ لَا يَهۡدِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلۡكَٰفِرِينَ

Ekyo nno lwa kuba nti mazima bbo baagala obulamu obw'ensi okusinga obw'enkomerero, era mazima Katonda talungamya bantu bakaafiiri

Verse 108

أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ طَبَعَ ٱللَّهُ عَلَىٰ قُلُوبِهِمۡ وَسَمۡعِهِمۡ وَأَبۡصَٰرِهِمۡۖ وَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡغَٰفِلُونَ

Abo beebo Katonda beyazibikira emitima gyabwe n'amatu gaabwe n'amaaso gaabwe era abo bo be batafaayo

Verse 109

لَا جَرَمَ أَنَّهُمۡ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ هُمُ ٱلۡخَٰسِرُونَ

Tewali kubuusabuusa mazima bo ku nkomerero be b'okufaafaaganirwa

Verse 110

ثُمَّ إِنَّ رَبَّكَ لِلَّذِينَ هَاجَرُواْ مِنۢ بَعۡدِ مَا فُتِنُواْ ثُمَّ جَٰهَدُواْ وَصَبَرُوٓاْ إِنَّ رَبَّكَ مِنۢ بَعۡدِهَا لَغَفُورٞ رَّحِيمٞ

Ate mazima Mukama omulabiriziwo ku nsonga y'abo abaasenguka oluvanyuma lw'okunyigirizibwa ate nebalafuubana nga baweereza mu kkubo lya Katonda era nebagumiikiriza, mazima Mukama omulabiriziwo oluvanyuma lw'ebyo musonyiyi musaasizi

Verse 111

۞يَوۡمَ تَأۡتِي كُلُّ نَفۡسٖ تُجَٰدِلُ عَن نَّفۡسِهَا وَتُوَفَّىٰ كُلُّ نَفۡسٖ مَّا عَمِلَتۡ وَهُمۡ لَا يُظۡلَمُونَ

Bajjukize olunaku omwoyo bwe gulijja nga gwerwanako gwokka, era buli mwoyo gugenda kusasulwa mu bujjuvu ekyo kye gwakola, era bo tebagenda kuyisibwa bubi

Verse 112

وَضَرَبَ ٱللَّهُ مَثَلٗا قَرۡيَةٗ كَانَتۡ ءَامِنَةٗ مُّطۡمَئِنَّةٗ يَأۡتِيهَا رِزۡقُهَا رَغَدٗا مِّن كُلِّ مَكَانٖ فَكَفَرَتۡ بِأَنۡعُمِ ٱللَّهِ فَأَذَٰقَهَا ٱللَّهُ لِبَاسَ ٱلۡجُوعِ وَٱلۡخَوۡفِ بِمَا كَانُواْ يَصۡنَعُونَ

Era Katonda yakuba ekifaananyi ky'ekitundu ekyali emirembe nga kitebenkedde, nga eby'okulya by'akyo bikijjira mu bungi, nga biva mu buli kifo, (ekitundu ekyo) nekiwakanya ebyengera bya Katonda, Katonda naakikombya ku kyambalo (kya nnawokeera) w'eenjala n'okutya, (ebyo byonna byabatuukako) olw'ebyo bye baakola

Verse 113

وَلَقَدۡ جَآءَهُمۡ رَسُولٞ مِّنۡهُمۡ فَكَذَّبُوهُ فَأَخَذَهُمُ ٱلۡعَذَابُ وَهُمۡ ظَٰلِمُونَ

Era mazima omubaka yabajjira nga ava mu bo nebamulimbisa, ebibonerezo nebibatuukako nga bo bali mu kweyisa bubi

Verse 114

فَكُلُواْ مِمَّا رَزَقَكُمُ ٱللَّهُ حَلَٰلٗا طَيِّبٗا وَٱشۡكُرُواْ نِعۡمَتَ ٱللَّهِ إِن كُنتُمۡ إِيَّاهُ تَعۡبُدُونَ

Kale mulye mu ebyo Katonda byabagabira kasita biba Halali nga ate birungi, era mwebaze ebyengera bya Katonda bwe muba nga ye yekka gwe musinza

Verse 115

إِنَّمَا حَرَّمَ عَلَيۡكُمُ ٱلۡمَيۡتَةَ وَٱلدَّمَ وَلَحۡمَ ٱلۡخِنزِيرِ وَمَآ أُهِلَّ لِغَيۡرِ ٱللَّهِ بِهِۦۖ فَمَنِ ٱضۡطُرَّ غَيۡرَ بَاغٖ وَلَا عَادٖ فَإِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٞ رَّحِيمٞ

Mazima yabaziyiza okulya ennyamanfu n'omusaayi n'ennyama ye mbizzi, nakyonna ekiba kisaliddwa ku lw'ekintu ekirala ekitali Katonda, naye oyo abeera mu bwetaavu nga takikola lwa jjoogo, era naatasukka ekitebereka (mu kulya) mazima ddala Katonda musonyiyi wa kisa

Verse 116

وَلَا تَقُولُواْ لِمَا تَصِفُ أَلۡسِنَتُكُمُ ٱلۡكَذِبَ هَٰذَا حَلَٰلٞ وَهَٰذَا حَرَامٞ لِّتَفۡتَرُواْ عَلَى ٱللَّهِ ٱلۡكَذِبَۚ إِنَّ ٱلَّذِينَ يَفۡتَرُونَ عَلَى ٱللَّهِ ٱلۡكَذِبَ لَا يُفۡلِحُونَ

Temugambanga, ebyo ennimi zammwe bye zoogera mu bulimba nti kino kiri Halali nakino kiri Haramu olw'okutemerera obulimba ku Katonda. Mazima abatemerera obulimba ku Katonda tebagenda kutuuka ku buwanguzi

Verse 117

مَتَٰعٞ قَلِيلٞ وَلَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ

Okwo kweyagala kutono era bagenda kutuukwako ebibonerezo ebiruma

Verse 118

وَعَلَى ٱلَّذِينَ هَادُواْ حَرَّمۡنَا مَا قَصَصۡنَا عَلَيۡكَ مِن قَبۡلُۖ وَمَا ظَلَمۡنَٰهُمۡ وَلَٰكِن كَانُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ يَظۡلِمُونَ

Ate twaziza ku abo abagamba nti bayudaaya ebyo bye twakutegeeza oluberyeberye, si ffe twabayisa obubi bo bennyini be beeyisa obubi

Verse 119

ثُمَّ إِنَّ رَبَّكَ لِلَّذِينَ عَمِلُواْ ٱلسُّوٓءَ بِجَهَٰلَةٖ ثُمَّ تَابُواْ مِنۢ بَعۡدِ ذَٰلِكَ وَأَصۡلَحُوٓاْ إِنَّ رَبَّكَ مِنۢ بَعۡدِهَا لَغَفُورٞ رَّحِيمٌ

Ate mazima Mukama omulabiriziwo ku bikwata ku abo abakola ebibi mu butamanya, ate nebeenenya oluvanyuma lw'ekyo, era nebakola ebirungi (Katonda abasonyiwa), anti mazima Mukama omulabiriziwo oluvanyuma lw'ebyo musonyiyi nnyo wa kisa

Verse 120

إِنَّ إِبۡرَٰهِيمَ كَانَ أُمَّةٗ قَانِتٗا لِّلَّهِ حَنِيفٗا وَلَمۡ يَكُ مِنَ ٱلۡمُشۡرِكِينَ

Mazima Ibrahim (ye, yekka) yali kibiina, nga mugonvu ku lwa Katonda, nga mwesimbu, tabeerangako mu bagatta ku Katonda bintu birala

Verse 121

شَاكِرٗا لِّأَنۡعُمِهِۚ ٱجۡتَبَىٰهُ وَهَدَىٰهُ إِلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ

Nga yeebaza ebyengera bye, yamwawula, era naamulungamya ku kkubo eggolokofu

Verse 122

وَءَاتَيۡنَٰهُ فِي ٱلدُّنۡيَا حَسَنَةٗۖ وَإِنَّهُۥ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ لَمِنَ ٱلصَّـٰلِحِينَ

Era twamuwa ku nsi ebirungi era mazima yye ku nkomerero agenda kubeera mu balongoofu

Verse 123

ثُمَّ أَوۡحَيۡنَآ إِلَيۡكَ أَنِ ٱتَّبِعۡ مِلَّةَ إِبۡرَٰهِيمَ حَنِيفٗاۖ وَمَا كَانَ مِنَ ٱلۡمُشۡرِكِينَ

Oluvanyuma twakutumira (Ggwe Muhamad) nti goberera eddiini ya Ibrahim nga oli mwesimbu, era (Ibrahim) tabeerangako mu bagatta bintu birala ku Katonda

Verse 124

إِنَّمَا جُعِلَ ٱلسَّبۡتُ عَلَى ٱلَّذِينَ ٱخۡتَلَفُواْ فِيهِۚ وَإِنَّ رَبَّكَ لَيَحۡكُمُ بَيۡنَهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ فِيمَا كَانُواْ فِيهِ يَخۡتَلِفُونَ

Mazima olw'omukaaga lwateerwawo abo abalwawukanamu, era mazima Mukama omulabiriziwo agenda kulamula wakati waabwe ku lunaku lw'enkomerero mu ekyo kye baayawukanamu

Verse 125

ٱدۡعُ إِلَىٰ سَبِيلِ رَبِّكَ بِٱلۡحِكۡمَةِ وَٱلۡمَوۡعِظَةِ ٱلۡحَسَنَةِۖ وَجَٰدِلۡهُم بِٱلَّتِي هِيَ أَحۡسَنُۚ إِنَّ رَبَّكَ هُوَ أَعۡلَمُ بِمَن ضَلَّ عَن سَبِيلِهِۦ وَهُوَ أَعۡلَمُ بِٱلۡمُهۡتَدِينَ

Kowoola (abantu) okudda eri ekkubo lya Mukama omulabiriziwo nga okozesa amagezi n'okubuulirira okulungi, nyonnyolagana nabo nga okozesa amakubo agasinga obulungi mazima Mukama omulabiriziwo y'asinga okumanya ebikwata ku oyo eyabula okuva ku kkubolye era yaasinga okumanya ebikwata ku balungamu

Verse 126

وَإِنۡ عَاقَبۡتُمۡ فَعَاقِبُواْ بِمِثۡلِ مَا عُوقِبۡتُم بِهِۦۖ وَلَئِن صَبَرۡتُمۡ لَهُوَ خَيۡرٞ لِّلصَّـٰبِرِينَ

Bwe muba nga mubonereza mubonereze kyenkanyi ky'ekyo kye muba mubonerezebbwa nakyo, naye singa mugumiikiriza ekyo kye kisinga obulungi eri abagumiikiriza

Verse 127

وَٱصۡبِرۡ وَمَا صَبۡرُكَ إِلَّا بِٱللَّهِۚ وَلَا تَحۡزَنۡ عَلَيۡهِمۡ وَلَا تَكُ فِي ضَيۡقٖ مِّمَّا يَمۡكُرُونَ

Era gumiikiriza, okugumiikirizakwo tekuyinza kubaawo okugyako ku lwa Katonda, tobanakuwalira, era tobeera mu bulumi olw'enkwe ze bakola

Verse 128

إِنَّ ٱللَّهَ مَعَ ٱلَّذِينَ ٱتَّقَواْ وَّٱلَّذِينَ هُم مُّحۡسِنُونَ

Mazima Katonda ali wamu n'abo abamutya, era abo abalongoosa

Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! •