Home

Ar-Rum

الروم

Translation by Sheikh Abdul Razak Matovu

Surah 30

بِسْمِ اللَّهِ الرَّحْمَٰنِ الرَّحِيمِ

1

الٓمٓ

Alif Laam Miim

2

غُلِبَتِ ٱلرُّومُ

Abaroma bawanguddwa

3

فِيٓ أَدۡنَى ٱلۡأَرۡضِ وَهُم مِّنۢ بَعۡدِ غَلَبِهِمۡ سَيَغۡلِبُونَ

Mu nsi ey'okumpi (eriraanye Shami) ate nabo oluvanyuma lw'okuwangulwa kwa bwe, bajja kuwangula

4

فِي بِضۡعِ سِنِينَۗ لِلَّهِ ٱلۡأَمۡرُ مِن قَبۡلُ وَمِنۢ بَعۡدُۚ وَيَوۡمَئِذٖ يَفۡرَحُ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ

Mu myaka mitono (egitasukka mwenda). Okusalawo kwa Katonda oluberyeberye n'oluvanyuma, olunaku olwo abakkiriza bagenda kukyakyankya

5

بِنَصۡرِ ٱللَّهِۚ يَنصُرُ مَن يَشَآءُۖ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ

Ku lw'okutaasa kwa Katonda (Katonda) ataasa oyo gwaba ayagadde, anti bulijjo ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga

6

وَعۡدَ ٱللَّهِۖ لَا يُخۡلِفُ ٱللَّهُ وَعۡدَهُۥ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَعۡلَمُونَ

Eyo ndagaano ya Katonda, Katonda tayawukana ku ndagaanoye, naye abantu abasinga obungi tebamanyi

7

يَعۡلَمُونَ ظَٰهِرٗا مِّنَ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا وَهُمۡ عَنِ ٱلۡأٓخِرَةِ هُمۡ غَٰفِلُونَ

(Anti) bamanyi bya kungulu ku bikwata ku bulamu bw'ensi, era nga nabo ku bikwata ku nkomerero tebalina kye bamanyi

8

أَوَلَمۡ يَتَفَكَّرُواْ فِيٓ أَنفُسِهِمۗ مَّا خَلَقَ ٱللَّهُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَمَا بَيۡنَهُمَآ إِلَّا بِٱلۡحَقِّ وَأَجَلٖ مُّسَمّٗىۗ وَإِنَّ كَثِيرٗا مِّنَ ٱلنَّاسِ بِلِقَآيِٕ رَبِّهِمۡ لَكَٰفِرُونَ

Abaffe tebafumiitiriza mu myooyo gyabwe (ne bakiraba nti) Katonda teyatonda ggulu musanvu n'ensi n'ebiri wakati wa byombi, wabula mu mazima era nga birina e kiseera ekigere naye mazima bangi mu bantu bawakanya okusisinkana Mukama omulabirizi waabwe

9

أَوَلَمۡ يَسِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَيَنظُرُواْ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۚ كَانُوٓاْ أَشَدَّ مِنۡهُمۡ قُوَّةٗ وَأَثَارُواْ ٱلۡأَرۡضَ وَعَمَرُوهَآ أَكۡثَرَ مِمَّا عَمَرُوهَا وَجَآءَتۡهُمۡ رُسُلُهُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِۖ فَمَا كَانَ ٱللَّهُ لِيَظۡلِمَهُمۡ وَلَٰكِن كَانُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ يَظۡلِمُونَ

Abaffe tebatambulangako mu nsi nebalaba yali etya enkomerero y'abo abaabakulembera! (ate) nga baali babasinga amaanyi era baayiikuula ensi era ne bagizimba okusinga nga bano bwe baagizimba era ababaka baabwe baabaleetera obunnyonnyofu, n'olwekyo Katonda teyali wa kubayisa bubi wabula bo bennyini be beeyisa obubi

10

ثُمَّ كَانَ عَٰقِبَةَ ٱلَّذِينَ أَسَـٰٓـُٔواْ ٱلسُّوٓأَىٰٓ أَن كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ وَكَانُواْ بِهَا يَسۡتَهۡزِءُونَ

Oluvanyuma enkomerero y'abo abaakola ebivve yali nti baalimbisa e bigambo bya Katonda era baali babijeeja

11

ٱللَّهُ يَبۡدَؤُاْ ٱلۡخَلۡقَ ثُمَّ يُعِيدُهُۥ ثُمَّ إِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ

Katonda y'atandika e bitonde oluvanyuma agenda kubizzaawo ate oluvanyuma gyali gye mulizzibwa

12

وَيَوۡمَ تَقُومُ ٱلسَّاعَةُ يُبۡلِسُ ٱلۡمُجۡرِمُونَ

Era olunaku e ssaawa ey'enkomerero lwe lituuka, aboonoonyi bagenda kukutuka n'okusuubira

13

وَلَمۡ يَكُن لَّهُم مِّن شُرَكَآئِهِمۡ شُفَعَـٰٓؤُاْ وَكَانُواْ بِشُرَكَآئِهِمۡ كَٰفِرِينَ

Era tebagenda kufuna mu bannaabwe bawolereza, olwo nno balyegaana bannaabwe

14

وَيَوۡمَ تَقُومُ ٱلسَّاعَةُ يَوۡمَئِذٖ يَتَفَرَّقُونَ

Era olunaku e ssaawa ey'enkomerero lwe lituuka kw'olwo bagenda kwawukana

15

فَأَمَّا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ فَهُمۡ فِي رَوۡضَةٖ يُحۡبَرُونَ

Bo abakkiriza ne bakola e mirimu emirungi, abo nno baakubeera mu bifo ebyeyagaza nga basanyusibwa

16

وَأَمَّا ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَكَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا وَلِقَآيِٕ ٱلۡأٓخِرَةِ فَأُوْلَـٰٓئِكَ فِي ٱلۡعَذَابِ مُحۡضَرُونَ

Ate abo abaakaafuwala ne balimbisa ebigambo byaffe ne balimbisa n'ensisinkano y’olunaku lw'enkomerero, abo bagenda kuteekebwa mu bibonerezo

17

فَسُبۡحَٰنَ ٱللَّهِ حِينَ تُمۡسُونَ وَحِينَ تُصۡبِحُونَ

N'olwekyo asukkulumizibwe Katonda mu kiseera wemubeerera mu biseera eby'olweggulo ne wemubeerera mu biseera eby'okumakya

18

وَلَهُ ٱلۡحَمۡدُ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَعَشِيّٗا وَحِينَ تُظۡهِرُونَ

Era okutenderezebwa ku kwe mu ggulu omusanvu n'ensi ne mu kiseera eky'akawungeezi ne wemubeerera mu ttuntu

19

يُخۡرِجُ ٱلۡحَيَّ مِنَ ٱلۡمَيِّتِ وَيُخۡرِجُ ٱلۡمَيِّتَ مِنَ ٱلۡحَيِّ وَيُحۡيِ ٱلۡأَرۡضَ بَعۡدَ مَوۡتِهَاۚ وَكَذَٰلِكَ تُخۡرَجُونَ

(Era Katonda) aggya e kiramu mu kifu era naggya e kifu mu kiramu, era y'awa ensi obulamu oluvanyuma lw'okufa kwayo era bwe mutyo bwe muliggyibwa mu ntaana

20

وَمِنۡ ءَايَٰتِهِۦٓ أَنۡ خَلَقَكُم مِّن تُرَابٖ ثُمَّ إِذَآ أَنتُم بَشَرٞ تَنتَشِرُونَ

Era mu bubonerobwe (obulaga obuyinzabwe), kwe kuba nti yabatonda nga abaggya mu ttaka oluvanyuma mmwe mwabeera abantu abasaasaanira e nsi

21

وَمِنۡ ءَايَٰتِهِۦٓ أَنۡ خَلَقَ لَكُم مِّنۡ أَنفُسِكُمۡ أَزۡوَٰجٗا لِّتَسۡكُنُوٓاْ إِلَيۡهَا وَجَعَلَ بَيۡنَكُم مَّوَدَّةٗ وَرَحۡمَةًۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يَتَفَكَّرُونَ

Era mu bubonerobwe kwe kuba nti yabatondera be mufumbiriganwa nabo nga abaggya mu mmwe, mube nga musobola okubeera nabo, era yassa wakati wa mmwe omukwano n'okusaasira , mazima ebyo mulimu obubonero eri abantu abafumiitiriza

22

وَمِنۡ ءَايَٰتِهِۦ خَلۡقُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَٱخۡتِلَٰفُ أَلۡسِنَتِكُمۡ وَأَلۡوَٰنِكُمۡۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّلۡعَٰلِمِينَ

Era mu bubonerobwe : okutonda eggulu omusanvu n'ensi n'okwawukana kw'ennimi zammwe n'amabala gammwe mazima mu ebyo mulimu obubonero eri abamanyi

23

وَمِنۡ ءَايَٰتِهِۦ مَنَامُكُم بِٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِ وَٱبۡتِغَآؤُكُم مِّن فَضۡلِهِۦٓۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يَسۡمَعُونَ

Era mu bubonerobwe : okwebaka kwa mmwe ekiro n'emisana n'okunoonya kwa mmwe ebigabwabye mazima ebyo birimu obubonero eri abantu abawulira

24

وَمِنۡ ءَايَٰتِهِۦ يُرِيكُمُ ٱلۡبَرۡقَ خَوۡفٗا وَطَمَعٗا وَيُنَزِّلُ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَيُحۡيِۦ بِهِ ٱلۡأَرۡضَ بَعۡدَ مَوۡتِهَآۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يَعۡقِلُونَ

Era mu bubonerobwe : kwe kuba nti abalaga ekimyanso ky'eggulu nga mukitya ate nga mululunkanira (enkuba) era assa okuva waggulu amazzi n'awa nago ettaka obulamu oluvanyuma lw'okufa kwalyo. Mazima mu ebyo mulimu obubonero eri abantu abategeera

25

وَمِنۡ ءَايَٰتِهِۦٓ أَن تَقُومَ ٱلسَّمَآءُ وَٱلۡأَرۡضُ بِأَمۡرِهِۦۚ ثُمَّ إِذَا دَعَاكُمۡ دَعۡوَةٗ مِّنَ ٱلۡأَرۡضِ إِذَآ أَنتُمۡ تَخۡرُجُونَ

Era mu bubonerobwe : eggulu n'ensi okubeerawo ku kiragirokye, oluvanyuma bwali bakoowoola olukoowoola nti (muve) mu ttaka, oligenda okulaba nga muvaayo

26

وَلَهُۥ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ كُلّٞ لَّهُۥ قَٰنِتُونَ

Era bibye byonna ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi byonna bigondera yye (yekka)

27

وَهُوَ ٱلَّذِي يَبۡدَؤُاْ ٱلۡخَلۡقَ ثُمَّ يُعِيدُهُۥ وَهُوَ أَهۡوَنُ عَلَيۡهِۚ وَلَهُ ٱلۡمَثَلُ ٱلۡأَعۡلَىٰ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ

Era yye yooyo atandikawo ebitonde era nga yaalibizzaawo (oluvanyuma lw'okufa kwabyo) nakyo (eky'okubizzaawo) kye kisinga obwangu ku ye, era kikye yekka ekifo ekisukkulumu mu ggulu omusanvu n'ensi era yye ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga

28

ضَرَبَ لَكُم مَّثَلٗا مِّنۡ أَنفُسِكُمۡۖ هَل لَّكُم مِّن مَّا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُكُم مِّن شُرَكَآءَ فِي مَا رَزَقۡنَٰكُمۡ فَأَنتُمۡ فِيهِ سَوَآءٞ تَخَافُونَهُمۡ كَخِيفَتِكُمۡ أَنفُسَكُمۡۚ كَذَٰلِكَ نُفَصِّلُ ٱلۡأٓيَٰتِ لِقَوۡمٖ يَعۡقِلُونَ

(Katonda) yabakubira ekifaananyi nga kikwata ku mmwe mwe nnyini nga agamba nti abaffe mwebyo bye tubagabira mulina ababeegattako mwabo emikono gyamwe bye gifuga (abaddu ba mmwe) ne muba nga mwenna mwenkana mwekyo ne mutuuka okubatya nga bwe mwetya mwennyini, bulijjo bw tunnyonnyola ebigambo eri abantu abategeera

29

بَلِ ٱتَّبَعَ ٱلَّذِينَ ظَلَمُوٓاْ أَهۡوَآءَهُم بِغَيۡرِ عِلۡمٖۖ فَمَن يَهۡدِي مَنۡ أَضَلَّ ٱللَّهُۖ وَمَا لَهُم مِّن نَّـٰصِرِينَ

Wabula abo abeeyisa obubi bagoberera kwagala kwabwe awatali kusinziira ku kumanya kwonna y'ate ani ayinza okulungamya oyo Katonda gwe yabuza era abo tebagenda kufuna babataasa

30

فَأَقِمۡ وَجۡهَكَ لِلدِّينِ حَنِيفٗاۚ فِطۡرَتَ ٱللَّهِ ٱلَّتِي فَطَرَ ٱلنَّاسَ عَلَيۡهَاۚ لَا تَبۡدِيلَ لِخَلۡقِ ٱللَّهِۚ ذَٰلِكَ ٱلدِّينُ ٱلۡقَيِّمُ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَعۡلَمُونَ

Kale nno yolekeza ekyenyikyo eri eddiini ng'oli mwesimbu. (Olw'okuba eddiini eyo) y'enkola ya Katonda gye yatonderako abantu, tewali kukyusa mu ntonda ya Katonda, eyo ye ddiini ennambulukufu, naye abantu abasinga obungi tebamanyi

31

۞مُنِيبِينَ إِلَيۡهِ وَٱتَّقُوهُ وَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَلَا تَكُونُواْ مِنَ ٱلۡمُشۡرِكِينَ

(N'olwekyo) mubeere abeemenyera Katonda era mumutye, era muyimirizeewo e sswala, era temubeeranga mu bagatta ku Katonda ebintu ebirala

32

مِنَ ٱلَّذِينَ فَرَّقُواْ دِينَهُمۡ وَكَانُواْ شِيَعٗاۖ كُلُّ حِزۡبِۭ بِمَا لَدَيۡهِمۡ فَرِحُونَ

Mu abo abaatemaatema e ddiini yaabwe ne baba bibiina nga buli kibinja kikyakyankya n'ebyo bye kirina

33

وَإِذَا مَسَّ ٱلنَّاسَ ضُرّٞ دَعَوۡاْ رَبَّهُم مُّنِيبِينَ إِلَيۡهِ ثُمَّ إِذَآ أَذَاقَهُم مِّنۡهُ رَحۡمَةً إِذَا فَرِيقٞ مِّنۡهُم بِرَبِّهِمۡ يُشۡرِكُونَ

Obuzibu bwe buba butuuse ku bantu basaba Mukama omulabirizi waabwe nga bamwemenyera, oluvanyuma bwabaloza ku kusaasira okuva gyali ogenda okulaba nga ekitundu ku bo bagatta ebintu ebirala ku Mukama omulabirizi waabwe

34

لِيَكۡفُرُواْ بِمَآ ءَاتَيۡنَٰهُمۡۚ فَتَمَتَّعُواْ فَسَوۡفَ تَعۡلَمُونَ

Kale beegaane ebyo bye twabawa era mweyagale mmwe (nabo) lumu mulimanya

35

أَمۡ أَنزَلۡنَا عَلَيۡهِمۡ سُلۡطَٰنٗا فَهُوَ يَتَكَلَّمُ بِمَا كَانُواْ بِهِۦ يُشۡرِكُونَ

Abaffe oba twabawa obujulizi nga bwogera ku ebyo bye bagatta ku Katonda (nti bituufu)

36

وَإِذَآ أَذَقۡنَا ٱلنَّاسَ رَحۡمَةٗ فَرِحُواْ بِهَاۖ وَإِن تُصِبۡهُمۡ سَيِّئَةُۢ بِمَا قَدَّمَتۡ أَيۡدِيهِمۡ إِذَا هُمۡ يَقۡنَطُونَ

Bwe tuba nga tulozezza abantu ku kusaasira kwaffe basanyuka nakwo, bwe baba nga batuukiddwako ekibi kyonna olw'ebyo e mikono gya bwe bye gyakola ogenda okulaba nga bakutuka n'okusuubira (okusaasira kwa) Katonda

37

أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ أَنَّ ٱللَّهَ يَبۡسُطُ ٱلرِّزۡقَ لِمَن يَشَآءُ وَيَقۡدِرُۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يُؤۡمِنُونَ

Abaffe tebalaba nti mazima Katonda agaziyiza eby'enfuna eri gwaba ayagadde ate naafundiza oyo gwaba ayagadde, mazima mu ekyo mulimu obubonero obulaga obuyinza bwa Katonda eri abantu abakkiriza

38

فَـَٔاتِ ذَا ٱلۡقُرۡبَىٰ حَقَّهُۥ وَٱلۡمِسۡكِينَ وَٱبۡنَ ٱلسَّبِيلِۚ ذَٰلِكَ خَيۡرٞ لِّلَّذِينَ يُرِيدُونَ وَجۡهَ ٱللَّهِۖ وَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُفۡلِحُونَ

Kale wa ow'olugandalwo olw'okumpi kyateekwa okuweebwa, n'omufuna mpola, n'omutambuze ekyo kye kirungi eri abo abaagala ebiri eri Katonda era abo bbo be bookutuuka ku kigendererwa

39

وَمَآ ءَاتَيۡتُم مِّن رِّبٗا لِّيَرۡبُوَاْ فِيٓ أَمۡوَٰلِ ٱلنَّاسِ فَلَا يَرۡبُواْ عِندَ ٱللَّهِۖ وَمَآ ءَاتَيۡتُم مِّن زَكَوٰةٖ تُرِيدُونَ وَجۡهَ ٱللَّهِ فَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُضۡعِفُونَ

Ekyo kyonna kye muba muwaddeyo (nga muwola) mu mmaali ey'ennyongeza (Riba) nti zigende zizaalire mu mmaali y'abantu tezizaala ewa Katonda, ate ekyo kye muba muwaddeyo mu Zzaka nga mwagala ebiri eri Katonda abo nno be basaanira ennyongeza

40

ٱللَّهُ ٱلَّذِي خَلَقَكُمۡ ثُمَّ رَزَقَكُمۡ ثُمَّ يُمِيتُكُمۡ ثُمَّ يُحۡيِيكُمۡۖ هَلۡ مِن شُرَكَآئِكُم مَّن يَفۡعَلُ مِن ذَٰلِكُم مِّن شَيۡءٖۚ سُبۡحَٰنَهُۥ وَتَعَٰلَىٰ عَمَّا يُشۡرِكُونَ

Katonda yooyo eyabatonda bwamala naabagabirira bwamala naabatta, oluvanyuma agenda kubawa obulamu, abaffe mu bannammwe be mugatta ku Katonda waliwo akola ku ebyo ekintu kyonna? musukkulumu Katonda era yayawukana ku ebyo bye bamugattako

41

ظَهَرَ ٱلۡفَسَادُ فِي ٱلۡبَرِّ وَٱلۡبَحۡرِ بِمَا كَسَبَتۡ أَيۡدِي ٱلنَّاسِ لِيُذِيقَهُم بَعۡضَ ٱلَّذِي عَمِلُواْ لَعَلَّهُمۡ يَرۡجِعُونَ

Obwonoonefu bweyolese ku lukalu ne ku nnyanja olw'ebyo emikono gy'abantu bye gikola, (Katonda) alyoke abakombese ku bukaawu bw'ebimu ku ebyo bye baakola, balyoke beekomeko

42

قُلۡ سِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَٱنظُرُواْ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلُۚ كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّشۡرِكِينَ

Gamba ( ggwe Muhammad) mutambule mu nsi mulabe yali etya e nkomerero y'abo abaaliwo oluberyeberye. abasinga obungi mu bo baali bagatta ku Katonda ebintu ebirala

43

فَأَقِمۡ وَجۡهَكَ لِلدِّينِ ٱلۡقَيِّمِ مِن قَبۡلِ أَن يَأۡتِيَ يَوۡمٞ لَّا مَرَدَّ لَهُۥ مِنَ ٱللَّهِۖ يَوۡمَئِذٖ يَصَّدَّعُونَ

Kale nno yolekeza ekyenyikyo eri e ddiini ennambulukufu, nga terunnajja olunaku olutagenda kuggyibwa ku Katonda neruzzibwayo, ku lunaku olwo abantu bagenda kubeera mu bibinja

44

مَن كَفَرَ فَعَلَيۡهِ كُفۡرُهُۥۖ وَمَنۡ عَمِلَ صَٰلِحٗا فَلِأَنفُسِهِمۡ يَمۡهَدُونَ

Omuntu awakanya, ekibi ky'okuwakanyakwe kiri ku ye, n'oyo yenna akola emirimu emirongoofu (abo) baba bateekerateekera myoyo gya bwe

45

لِيَجۡزِيَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ مِن فَضۡلِهِۦٓۚ إِنَّهُۥ لَا يُحِبُّ ٱلۡكَٰفِرِينَ

Katonda alyoke asasule mu bigabwabye abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu, anti mazima yye tayagala bakaafiiri

46

وَمِنۡ ءَايَٰتِهِۦٓ أَن يُرۡسِلَ ٱلرِّيَاحَ مُبَشِّرَٰتٖ وَلِيُذِيقَكُم مِّن رَّحۡمَتِهِۦ وَلِتَجۡرِيَ ٱلۡفُلۡكُ بِأَمۡرِهِۦ وَلِتَبۡتَغُواْ مِن فَضۡلِهِۦ وَلَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ

Era mu bubonerobwe kwe kuba nti atambuza empewo nga zireeta amawulire ag'essanyu (enkuba), era alyoke abaloze ku kusaasirakwe, era amaato galyoke gadduke ku lw'ekiragiro kye, era mube nga munoonya ebigabwa bye era mulyoke mwebaze (Katonda ku lw'ebyo)

47

وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا مِن قَبۡلِكَ رُسُلًا إِلَىٰ قَوۡمِهِمۡ فَجَآءُوهُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِ فَٱنتَقَمۡنَا مِنَ ٱلَّذِينَ أَجۡرَمُواْۖ وَكَانَ حَقًّا عَلَيۡنَا نَصۡرُ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ

Era mazima twatuma oluberyeberye lwo ababaka eri abantu baabwe ne babaleetera obunnyonnyofu (ne bakaafuwala) olwo ne tuzikiriza abo abaajeema, era kyali kitukakatako okutaasa abakkiriza

48

ٱللَّهُ ٱلَّذِي يُرۡسِلُ ٱلرِّيَٰحَ فَتُثِيرُ سَحَابٗا فَيَبۡسُطُهُۥ فِي ٱلسَّمَآءِ كَيۡفَ يَشَآءُ وَيَجۡعَلُهُۥ كِسَفٗا فَتَرَى ٱلۡوَدۡقَ يَخۡرُجُ مِنۡ خِلَٰلِهِۦۖ فَإِذَآ أَصَابَ بِهِۦ مَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦٓ إِذَا هُمۡ يَسۡتَبۡشِرُونَ

Katonda yooyo atambuza empewo, nezifuukuula ebire naabyanjuluza mu bbanga nga bwaba ayagadde, naabifuula ebitundutundu, olwo nno n'olaba namutikkwa w'enkuba nga bivaamu, (Katonda) bwagituusa ku abo baaba ayagadde mu baddube ogenda okulaba nga bo basanyuka

49

وَإِن كَانُواْ مِن قَبۡلِ أَن يُنَزَّلَ عَلَيۡهِم مِّن قَبۡلِهِۦ لَمُبۡلِسِينَ

Newaakubadde nga tennaba kubatonnyesebwa oluberyeberye lw'ekyo baali bakutuse n'okusuubira

50

فَٱنظُرۡ إِلَىٰٓ ءَاثَٰرِ رَحۡمَتِ ٱللَّهِ كَيۡفَ يُحۡيِ ٱلۡأَرۡضَ بَعۡدَ مَوۡتِهَآۚ إِنَّ ذَٰلِكَ لَمُحۡيِ ٱلۡمَوۡتَىٰۖ وَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ

Tunuulira olabe ebiva mu kusaasira kwa Katonda engeri gyawa ettaka obulamu oluvanyuma lw'okufa kwalyo. Mazima oyo ajja kulamusiza ddala abafu era yye bulijjo muyinza ku buli kintu

51

وَلَئِنۡ أَرۡسَلۡنَا رِيحٗا فَرَأَوۡهُ مُصۡفَرّٗا لَّظَلُّواْ مِنۢ بَعۡدِهِۦ يَكۡفُرُونَ

Wabula singa tuba tutambuzizza empewo ne babiraba (e birime) nga bifuuse bya kyenvu olw'okuwotoka, bandibadde olw'ekyo beegaana ebyengera bya (Katonda)

52

فَإِنَّكَ لَا تُسۡمِعُ ٱلۡمَوۡتَىٰ وَلَا تُسۡمِعُ ٱلصُّمَّ ٱلدُّعَآءَ إِذَا وَلَّوۡاْ مُدۡبِرِينَ

(N'olwekyo ggwe tobafaako) anti mazima ggwe tosobola kuwuliza bafu era nga bwotasobola kuwuliza bakiggala kasita bakyuka ne bakukuba amabega

53

وَمَآ أَنتَ بِهَٰدِ ٱلۡعُمۡيِ عَن ضَلَٰلَتِهِمۡۖ إِن تُسۡمِعُ إِلَّا مَن يُؤۡمِنُ بِـَٔايَٰتِنَا فَهُم مُّسۡلِمُونَ

Era toli asobola kulungamya bamuzibe n'obaggya ku bubuze bwabwe, tosobola kuwuliza okugyako abo abakkiriza ebigambo byaffe nebaba nga beewadde Katonda

54

۞ٱللَّهُ ٱلَّذِي خَلَقَكُم مِّن ضَعۡفٖ ثُمَّ جَعَلَ مِنۢ بَعۡدِ ضَعۡفٖ قُوَّةٗ ثُمَّ جَعَلَ مِنۢ بَعۡدِ قُوَّةٖ ضَعۡفٗا وَشَيۡبَةٗۚ يَخۡلُقُ مَا يَشَآءُۚ وَهُوَ ٱلۡعَلِيمُ ٱلۡقَدِيرُ

Katonda yooyo eyatonda mmwe okutandikira mu bunafu, ate oluvanyuma lw'obunafu yabawa amaanyi, ate oluvanyuma lw'amaanyi yassaawo obunafu n'obukadde. Atonda kyaba ayagadde era yye ye mumanyi ennyo omuyinza

55

وَيَوۡمَ تَقُومُ ٱلسَّاعَةُ يُقۡسِمُ ٱلۡمُجۡرِمُونَ مَا لَبِثُواْ غَيۡرَ سَاعَةٖۚ كَذَٰلِكَ كَانُواْ يُؤۡفَكُونَ

Olunaku lw'enkomerero lwe lulituuka aboonoonyi balilayira nti (Ku nsi) tebaatuulako okugyako kaseera katono, bwe batyo nno bwe baali bawugulwa

56

وَقَالَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ وَٱلۡإِيمَٰنَ لَقَدۡ لَبِثۡتُمۡ فِي كِتَٰبِ ٱللَّهِ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡبَعۡثِۖ فَهَٰذَا يَوۡمُ ٱلۡبَعۡثِ وَلَٰكِنَّكُمۡ كُنتُمۡ لَا تَعۡلَمُونَ

Ate abo abaaweebwa okumanya n'obukkiriza baligamba nti: mazima mwatuula (ku nsi) okumala ebbanga Katonda lye yabawandiikira, okutuuka ku lunaku lw'okuzuukira, kaakano luno lwe lunaku lw'okuzuukira (lutuuse) naye mazima mwali temumanyi

57

فَيَوۡمَئِذٖ لَّا يَنفَعُ ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ مَعۡذِرَتُهُمۡ وَلَا هُمۡ يُسۡتَعۡتَبُونَ

Ku lunaku olwo abo abeeyisa obubi okwetonda kwa bwe tekulibagasa era tebagenda kukubirizibwa kwenenya

58

وَلَقَدۡ ضَرَبۡنَا لِلنَّاسِ فِي هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانِ مِن كُلِّ مَثَلٖۚ وَلَئِن جِئۡتَهُم بِـَٔايَةٖ لَّيَقُولَنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ إِنۡ أَنتُمۡ إِلَّا مُبۡطِلُونَ

Mazima tukubidde abantu mu Kur’ani eno buli kika kya kifaananyi, naye singa obaleetedde akabonero konna, ddala abo abakaafuwala bajja kugamba nti temuli mmwe okugyako okuba aboonoonyi

59

كَذَٰلِكَ يَطۡبَعُ ٱللَّهُ عَلَىٰ قُلُوبِ ٱلَّذِينَ لَا يَعۡلَمُونَ

Bwatyo Katonda bwazibikira emitima gy'abo abatamanyi

60

فَٱصۡبِرۡ إِنَّ وَعۡدَ ٱللَّهِ حَقّٞۖ وَلَا يَسۡتَخِفَّنَّكَ ٱلَّذِينَ لَا يُوقِنُونَ

Kale gumiikiriza mazima endagaano ya Katonda ya mazima, era tebakutiisanga abo abatakakasa kintu kyonna kikwata ku Katonda

Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! •