Home

As-Saffat

الصافات

Translation by Sheikh Abdul Razak Matovu

Surah 37

بِسْمِ اللَّهِ الرَّحْمَٰنِ الرَّحِيمِ

1

وَٱلصَّـٰٓفَّـٰتِ صَفّٗا

Ndayidde ba Malayika abasimbye ennyiriri ennambulukufu

2

فَٱلزَّـٰجِرَٰتِ زَجۡرٗا

Olwo nno abo abagoba ebire olugoba (bigende bitonnyese enkuba)

3

فَٱلتَّـٰلِيَٰتِ ذِكۡرًا

N'abo abasoma ebigambo ebibuulirira

4

إِنَّ إِلَٰهَكُمۡ لَوَٰحِدٞ

Mazima Katonda wa mmwe ddala ali omu

5

رَّبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَا وَرَبُّ ٱلۡمَشَٰرِقِ

Mukama omulabirizi we ggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi era Mukama omulabirizi w'ebuvanjuba (n'e bugwanjuba)

6

إِنَّا زَيَّنَّا ٱلسَّمَآءَ ٱلدُّنۡيَا بِزِينَةٍ ٱلۡكَوَاكِبِ

Mazima ffe twawunda eggulu ly'okunsi n'okulabika obulungi kw'e mmunyeenye (ezirijjudde)

7

وَحِفۡظٗا مِّن كُلِّ شَيۡطَٰنٖ مَّارِدٖ

N'okulikuuma ku buli Sitane kyewaggula

8

لَّا يَسَّمَّعُونَ إِلَى ٱلۡمَلَإِ ٱلۡأَعۡلَىٰ وَيُقۡذَفُونَ مِن كُلِّ جَانِبٖ

Tezisobola kuwuliriza bitonde ebya waggulu era zikanyugirwa ebitawuliro okuva ku buli luuyi

9

دُحُورٗاۖ وَلَهُمۡ عَذَابٞ وَاصِبٌ

Nga zifuumuulwa emisinde era nga zigenda kufuna ebibonerezo ebitakoma

10

إِلَّا مَنۡ خَطِفَ ٱلۡخَطۡفَةَ فَأَتۡبَعَهُۥ شِهَابٞ ثَاقِبٞ

Okugyako (Sitane) eyo enyakula ekigambo kyeba enyakudde olwo nno neekasukirirwa ekitawuliro ekibumbujja

11

فَٱسۡتَفۡتِهِمۡ أَهُمۡ أَشَدُّ خَلۡقًا أَم مَّنۡ خَلَقۡنَآۚ إِنَّا خَلَقۡنَٰهُم مِّن طِينٖ لَّازِبِۭ

Kale nno babuuze nti bo be bazibu mu kutonda oba ebyo bye twatonda, mazima ffe (bo) twabatonda mu budongo obukwafu

12

بَلۡ عَجِبۡتَ وَيَسۡخَرُونَ

Wabula gwe weewuunya (ng’okungiriza) ate nga bo bajeeja bujeeja

13

وَإِذَا ذُكِّرُواْ لَا يَذۡكُرُونَ

Era nga bwe baba babuuliriddwa tebeebuulirira

14

وَإِذَا رَأَوۡاْ ءَايَةٗ يَسۡتَسۡخِرُونَ

Era bwe balaba akabonero konna (mu bubonero bwa Katonda) nga bajeeja

15

وَقَالُوٓاْ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا سِحۡرٞ مُّبِينٌ

Era nebagamba nti: kino tekiri okugyako eddogo eryeyolefu

16

أَءِذَا مِتۡنَا وَكُنَّا تُرَابٗا وَعِظَٰمًا أَءِنَّا لَمَبۡعُوثُونَ

(Nebongerako nti) bwe tuliba tufudde netufuuka ettaka era netuba magumba ameereere abaffe tulizuukizibwa

17

أَوَءَابَآؤُنَا ٱلۡأَوَّلُونَ

Oba ba kitaffe abaakulembera

18

قُلۡ نَعَمۡ وَأَنتُمۡ دَٰخِرُونَ

Gamba nti yee (mulizuukizibwa) nga nammwe mukkakkanyiziddwa

19

فَإِنَّمَا هِيَ زَجۡرَةٞ وَٰحِدَةٞ فَإِذَا هُمۡ يَنظُرُونَ

Mazima kyo (ekyo kuzuukira) luliba olufuuwa mu ngombe lumu oligenda okulaba nga bo batunula

20

وَقَالُواْ يَٰوَيۡلَنَا هَٰذَا يَوۡمُ ٱلدِّينِ

Era baligamba nti zitusanze luno lwe lunaku lw'okusasulwa

21

هَٰذَا يَوۡمُ ٱلۡفَصۡلِ ٱلَّذِي كُنتُم بِهِۦ تُكَذِّبُونَ

(Ba Malayika baligamba nti) luno lwe lunaku lw'okwawula (wakati wa balongoofu n’aboonoonyi) olwo lwe mwali mulimbisa

22

۞ٱحۡشُرُواْ ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ وَأَزۡوَٰجَهُمۡ وَمَا كَانُواْ يَعۡبُدُونَ

(Ba Malayika baliragirwa nti) mukungaanye abo abeeyisa obubi wamu n'ababafaanana n'ebyo bye baasinzanga

23

مِن دُونِ ٱللَّهِ فَٱهۡدُوهُمۡ إِلَىٰ صِرَٰطِ ٱلۡجَحِيمِ

Nebava ku Katonda olwo nno mubalage ekkubo eridda eri omuliro Jahiimu

24

وَقِفُوهُمۡۖ إِنَّهُم مَّسۡـُٔولُونَ

Era nga (temunnabatwala) mubayimirize (mu bbaliro) mazima bo balina okubuuzibwa

25

مَا لَكُمۡ لَا تَنَاصَرُونَ

(Olwo nno bagambibwe) nti: mubaddeki lwaki temwetaasa

26

بَلۡ هُمُ ٱلۡيَوۡمَ مُسۡتَسۡلِمُونَ

Wabula bo ku lunaku olwa leero bagenda kukkiriza (nti tebalina bya kukola kuvvuunuka buzibu bwe balibeeramu)

27

وَأَقۡبَلَ بَعۡضُهُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٖ يَتَسَآءَلُونَ

Abamu ne boolekera bannaabwe nga bawaanyisiganya ebigambo

28

قَالُوٓاْ إِنَّكُمۡ كُنتُمۡ تَأۡتُونَنَا عَنِ ٱلۡيَمِينِ

(Abagoberezi) ne bagamba (bebaagoberera) nti mazima mmwe mwalinga mutujjira nga mutuyita ku ddyo

29

قَالُواْ بَل لَّمۡ تَكُونُواْ مُؤۡمِنِينَ

(Abaagobererwa) baligamba nti nedda wabula temwali bakkiriza

30

وَمَا كَانَ لَنَا عَلَيۡكُم مِّن سُلۡطَٰنِۭۖ بَلۡ كُنتُمۡ قَوۡمٗا طَٰغِينَ

Era tetwabalinaako buyinza bwonna wabula mwali bantu abeewagguzi

31

فَحَقَّ عَلَيۡنَا قَوۡلُ رَبِّنَآۖ إِنَّا لَذَآئِقُونَ

Olwo nno ekigambo kya Mukama omulabirizi waffe nekitukakatako (fenna) mazima ddala ffe tuteekwa kukomba (ku bibonerezo)

32

فَأَغۡوَيۡنَٰكُمۡ إِنَّا كُنَّا غَٰوِينَ

Twababuza era mazima ddala ffe (okugenda okubabuza) twali babuze

33

فَإِنَّهُمۡ يَوۡمَئِذٖ فِي ٱلۡعَذَابِ مُشۡتَرِكُونَ

Mazima bo (ab'emirundi ebiri) bagenda kwegatta mu kibonerezo

34

إِنَّا كَذَٰلِكَ نَفۡعَلُ بِٱلۡمُجۡرِمِينَ

Mazima ffe bwe tutyo bwe tukola aboonoonyi

35

إِنَّهُمۡ كَانُوٓاْ إِذَا قِيلَ لَهُمۡ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا ٱللَّهُ يَسۡتَكۡبِرُونَ

Mazima bo bwe baagambibwanga nti tewali kisinzibwa kyonna okugyako Katonda baali nga beekuza

36

وَيَقُولُونَ أَئِنَّا لَتَارِكُوٓاْ ءَالِهَتِنَا لِشَاعِرٖ مَّجۡنُونِۭ

Nebagamba nti mazima ffe tuyinza okuleka ba katonda baffe ku lw'omuyimbi omulalu

37

بَلۡ جَآءَ بِٱلۡحَقِّ وَصَدَّقَ ٱلۡمُرۡسَلِينَ

Nedda (Nabbi Muhammad talinga bwe bagamba) wabula yajja na mazima era n’akakasa ababaka (abaamukulembera)

38

إِنَّكُمۡ لَذَآئِقُواْ ٱلۡعَذَابِ ٱلۡأَلِيمِ

Mazima ddala mmwe muli ba kukomba ku bibonerezo ebiruma ennyo

39

وَمَا تُجۡزَوۡنَ إِلَّا مَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ

Era temugenda kusasulwa wabula ebyo bye mwakolanga

40

إِلَّا عِبَادَ ٱللَّهِ ٱلۡمُخۡلَصِينَ

Okugyako abaddu ba Katonda abalondobemu

41

أُوْلَـٰٓئِكَ لَهُمۡ رِزۡقٞ مَّعۡلُومٞ

Abo baliweebwa ebigabirirwa ebimanyiddwa

42

فَوَٰكِهُ وَهُم مُّكۡرَمُونَ

(Biriba) ebibala era nga nebaba nga bo bagabulwa

43

فِي جَنَّـٰتِ ٱلنَّعِيمِ

Nga bali mu jjana ez'ebyengera

44

عَلَىٰ سُرُرٖ مُّتَقَٰبِلِينَ

(Baliba) ku bitanda nga buli bamu boolekedde bannaabwe

45

يُطَافُ عَلَيۡهِم بِكَأۡسٖ مِّن مَّعِينِۭ

Nga babayisaamu (mu kubagabula) eggiraasi z'ebyo'kunywa eziva mu nsulo ezitakalira

46

بَيۡضَآءَ لَذَّةٖ لِّلشَّـٰرِبِينَ

(Eby'okunywa ebyo) nga byeru ebiriwoomera abanywi

47

لَا فِيهَا غَوۡلٞ وَلَا هُمۡ عَنۡهَا يُنزَفُونَ

Tebigenda kubaamu kirumya mutwe era nga bwebatagenda kutamiira olw'okubinywa

48

وَعِندَهُمۡ قَٰصِرَٰتُ ٱلطَّرۡفِ عِينٞ

Era baliba balina abakyala ab'amaaso amakkakkamu amanene

49

كَأَنَّهُنَّ بَيۡضٞ مَّكۡنُونٞ

Abakyala abo balibanga amagi ageegenderezebwa obutayatika

50

فَأَقۡبَلَ بَعۡضُهُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٖ يَتَسَآءَلُونَ

Olwo nno abamu neboolekera bannaabwe nga bawaanyisaganya ebigambo

51

قَالَ قَآئِلٞ مِّنۡهُمۡ إِنِّي كَانَ لِي قَرِينٞ

Omwogezi (omu) ku bo aligamba nti mazima nze nalina ow'omukwano

52

يَقُولُ أَءِنَّكَ لَمِنَ ٱلۡمُصَدِّقِينَ

Yalinga angamba nti abaffe ggwe oli mu abo abakakasa

53

أَءِذَا مِتۡنَا وَكُنَّا تُرَابٗا وَعِظَٰمًا أَءِنَّا لَمَدِينُونَ

Nti bwe tulifa netufuuka ettaka n’amagumba ameereere, abaffe tuli baakubalibwa

54

قَالَ هَلۡ أَنتُم مُّطَّلِعُونَ

Omukozi w’obulungi aligamba nti abaffe mulaba ekiri mu muliro

55

فَٱطَّلَعَ فَرَءَاهُ فِي سَوَآءِ ٱلۡجَحِيمِ

Olwo alitunulayo n’amulaba ng’ali mu makkati g’omuliro Jahiimu

56

قَالَ تَٱللَّهِ إِن كِدتَّ لَتُرۡدِينِ

Aligamba nti ndayidde Katonda wabula kata onzikirize

57

وَلَوۡلَا نِعۡمَةُ رَبِّي لَكُنتُ مِنَ ٱلۡمُحۡضَرِينَ

Singa si byengera bya Mukama omulabirizi wange nnaalibadde mu baleeteddwa (eri omuliro)

58

أَفَمَا نَحۡنُ بِمَيِّتِينَ

Ate ffe tetukyaddayo nakufa

59

إِلَّا مَوۡتَتَنَا ٱلۡأُولَىٰ وَمَا نَحۡنُ بِمُعَذَّبِينَ

Okugyako okufa kwaffe okwasooka era nga tetuli ba kubonerezebwa

60

إِنَّ هَٰذَا لَهُوَ ٱلۡفَوۡزُ ٱلۡعَظِيمُ

Mazima ekyo ddala kwo kwe kwesiima okusuffu

61

لِمِثۡلِ هَٰذَا فَلۡيَعۡمَلِ ٱلۡعَٰمِلُونَ

(N’olwekyo) ku lw’ebintu nga bino abatakabana baalitakabanye

62

أَذَٰلِكَ خَيۡرٞ نُّزُلًا أَمۡ شَجَرَةُ ٱلزَّقُّومِ

Abaffe obwo bwe bugugenyi obulungi oba omuti gwa Zakkuumi

63

إِنَّا جَعَلۡنَٰهَا فِتۡنَةٗ لِّلظَّـٰلِمِينَ

Twagussaawo nga kikemo eri abeeyisa obubi

64

إِنَّهَا شَجَرَةٞ تَخۡرُجُ فِيٓ أَصۡلِ ٱلۡجَحِيمِ

Mazima gwo muti guva ku ntobo ya muliro Jahiimu

65

طَلۡعُهَا كَأَنَّهُۥ رُءُوسُ ٱلشَّيَٰطِينِ

Ebibala byagwo (okumanya bibi) biringa emitwe gya Sitane

66

فَإِنَّهُمۡ لَأٓكِلُونَ مِنۡهَا فَمَالِـُٔونَ مِنۡهَا ٱلۡبُطُونَ

Mazima bo bagenda kugulyako bagenda kujjuza nagwo embuto

67

ثُمَّ إِنَّ لَهُمۡ عَلَيۡهَا لَشَوۡبٗا مِّنۡ حَمِيمٖ

Oluvanyuma bagenda kubongeza ku gwo eby'okunywa ebitabuddwa mu lweje

68

ثُمَّ إِنَّ مَرۡجِعَهُمۡ لَإِلَى ٱلۡجَحِيمِ

Oluvanyuma mazima obuddo bwabwe buli mu muliro Jahiimu

69

إِنَّهُمۡ أَلۡفَوۡاْ ءَابَآءَهُمۡ ضَآلِّينَ

Mazima bo baasanga bakadde baabwe nga babuze

70

فَهُمۡ عَلَىٰٓ ءَاثَٰرِهِمۡ يُهۡرَعُونَ

N’olwekyo bo mu buwufu bwabwe batwalibwa kantindiggwa

71

وَلَقَدۡ ضَلَّ قَبۡلَهُمۡ أَكۡثَرُ ٱلۡأَوَّلِينَ

Era mazima oluberyeberye lwabwe abasinga obungi mu baasooka baabula

72

وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا فِيهِم مُّنذِرِينَ

So nga ate twatuma mu bo abatiisa

73

فَٱنظُرۡ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلۡمُنذَرِينَ

Kale tunuulira olabe enkomerero y'abaatiisibwa yali etya

74

إِلَّا عِبَادَ ٱللَّهِ ٱلۡمُخۡلَصِينَ

(Tewali yawona) okugyako abaddu ba Katonda abalondobemu

75

وَلَقَدۡ نَادَىٰنَا نُوحٞ فَلَنِعۡمَ ٱلۡمُجِيبُونَ

Mazima Nuhu yatukoowoola naffe nno twali abaamwanukula obulungi

76

وَنَجَّيۡنَٰهُ وَأَهۡلَهُۥ مِنَ ٱلۡكَرۡبِ ٱلۡعَظِيمِ

Netumuwonya n’abantube akabenje akayitirivu

77

وَجَعَلۡنَا ذُرِّيَّتَهُۥ هُمُ ٱلۡبَاقِينَ

Netufuula ezzadde lye nebaba bo nga be basigaddewo

78

وَتَرَكۡنَا عَلَيۡهِ فِي ٱلۡأٓخِرِينَ

Netumulekerawo okwogerwako okulungi mu balijja oluvanyuma

79

سَلَٰمٌ عَلَىٰ نُوحٖ فِي ٱلۡعَٰلَمِينَ

Emirembe gibeere ku Nuhu (n’okwogerwako okulungi) mu bitonde byonna

80

إِنَّا كَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلۡمُحۡسِنِينَ

Mazima ffe bwe tutyo bwe tusasula abakozi b’obulungi

81

إِنَّهُۥ مِنۡ عِبَادِنَا ٱلۡمُؤۡمِنِينَ

Mazima (Nuhu) ali mu baddu baffe abakkiriza aba nnamaddala

82

ثُمَّ أَغۡرَقۡنَا ٱلۡأٓخَرِينَ

Oluvanyuma twazikiriza abasigadde (abatakkiriza Nuhu)

83

۞وَإِنَّ مِن شِيعَتِهِۦ لَإِبۡرَٰهِيمَ

Era mazima ddala Ibrahim ali ku nkolaye(Nuhu)

84

إِذۡ جَآءَ رَبَّهُۥ بِقَلۡبٖ سَلِيمٍ

Kubanga yajja ewa Mukama omulabiriziwe n’omutima omuyonjo

85

إِذۡ قَالَ لِأَبِيهِ وَقَوۡمِهِۦ مَاذَا تَعۡبُدُونَ

Bwe yagamba kitaawe n’abantu be nti biki bye musinza

86

أَئِفۡكًا ءَالِهَةٗ دُونَ ٱللَّهِ تُرِيدُونَ

Ba katonda abajingirire bemwagala nemuleka Katonda

87

فَمَا ظَنُّكُم بِرَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

Olwo Mukama omulabirizi w’ebitonde byonna, ki kye mumulowoozaako

88

فَنَظَرَ نَظۡرَةٗ فِي ٱلنُّجُومِ

Olwo nno naatunula olutunula mu munyeenye (nga enkola ya bantube bwe yali)

89

فَقَالَ إِنِّي سَقِيمٞ

(Naagamba nti) mazima nze ndi mulwadde

90

فَتَوَلَّوۡاْ عَنۡهُ مُدۡبِرِينَ

Olwo nebamuvaako nebamulekawo

91

فَرَاغَ إِلَىٰٓ ءَالِهَتِهِمۡ فَقَالَ أَلَا تَأۡكُلُونَ

Olwo nadda ku ba katonda baabwe naalyoka abagamba nti lwaki temulya

92

مَا لَكُمۡ لَا تَنطِقُونَ

Mwabaaki, nga temwogera

93

فَرَاغَ عَلَيۡهِمۡ ضَرۡبَۢا بِٱلۡيَمِينِ

Olwo kwe kutandika okubatema n’omukono gwe ogwa ddyo

94

فَأَقۡبَلُوٓاْ إِلَيۡهِ يَزِفُّونَ

Olwo (abantu ba Ibrahim bwe baamanya kyakoze) bajja gyali nga banguwa

95

قَالَ أَتَعۡبُدُونَ مَا تَنۡحِتُونَ

(Ibrahim) naagamba nti, musinza ebyo bye mubajja

96

وَٱللَّهُ خَلَقَكُمۡ وَمَا تَعۡمَلُونَ

So nga Katonda yeeyabatonda mmwe n'ebyo bye mukola

97

قَالُواْ ٱبۡنُواْ لَهُۥ بُنۡيَٰنٗا فَأَلۡقُوهُ فِي ٱلۡجَحِيمِ

Nebagamba nti mumuzimbire ekifo (mukikumemu omuliro) olwo nno mumukasuke mu nnabeengeya w’omuliro

98

فَأَرَادُواْ بِهِۦ كَيۡدٗا فَجَعَلۡنَٰهُمُ ٱلۡأَسۡفَلِينَ

Mu kukola ekyo, baagenderera okumukolera olukwe (bamutte) wabula bbo netubafuula ab'awansi (bwe twalemesa olukwe lwabwe)

99

وَقَالَ إِنِّي ذَاهِبٌ إِلَىٰ رَبِّي سَيَهۡدِينِ

(Awo Ibrahim naasalawo okusenguka) era naagamba nti mazima nze ngenda ewa Mukama omulabirizi wange ajja kunnungamya

100

رَبِّ هَبۡ لِي مِنَ ٱلصَّـٰلِحِينَ

Ayi Mukama omulabirizi wange ngabira (omwana) nga wa mu balongoofu

101

فَبَشَّرۡنَٰهُ بِغُلَٰمٍ حَلِيمٖ

Olwo netumusanyusa nti ajja kufuna omwana omulenzi ow'ekisa

102

فَلَمَّا بَلَغَ مَعَهُ ٱلسَّعۡيَ قَالَ يَٰبُنَيَّ إِنِّيٓ أَرَىٰ فِي ٱلۡمَنَامِ أَنِّيٓ أَذۡبَحُكَ فَٱنظُرۡ مَاذَا تَرَىٰۚ قَالَ يَـٰٓأَبَتِ ٱفۡعَلۡ مَا تُؤۡمَرُۖ سَتَجِدُنِيٓ إِن شَآءَ ٱللَّهُ مِنَ ٱلصَّـٰبِرِينَ

Omwana oyo (Ismail) bwe yatandika okutambula naye (Ibrahim) naagamba nti owange mutabani wange nkirabye lunye mu kirooto mazima nze nga nkusala kale tunula olabe, ogamba ki? (Ismail) naagamba nti owange taata kola ekyo kyolagirwa, Katonda nga ayagadde ojja kunsanga nga ndi mu bagumiikiriza

103

فَلَمَّآ أَسۡلَمَا وَتَلَّهُۥ لِلۡجَبِينِ

Bombi bwe baamala okwewaayo eri (ekiragiro kya Katonda) naamugalamiza nga amuwunzise

104

وَنَٰدَيۡنَٰهُ أَن يَـٰٓإِبۡرَٰهِيمُ

Netumukoowoola nti owange Ibrahim

105

قَدۡ صَدَّقۡتَ ٱلرُّءۡيَآۚ إِنَّا كَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلۡمُحۡسِنِينَ

Mazima otuukirizza endooto, mazima ffe bwe tutyo bwe tusasula abalongoosa

106

إِنَّ هَٰذَا لَهُوَ ٱلۡبَلَـٰٓؤُاْ ٱلۡمُبِينُ

Mazima ekyo (ekyatuuka ku Ibrahim n’omwana we) ddala kwe kugezesa okw'olwatu

107

وَفَدَيۡنَٰهُ بِذِبۡحٍ عَظِيمٖ

Era (Ismail) twamununula n'ensolo ensuffu eyasalibwa

108

وَتَرَكۡنَا عَلَيۡهِ فِي ٱلۡأٓخِرِينَ

Netumulekerawo okwogerwako okulungi mu balijja oluvanyuma

109

سَلَٰمٌ عَلَىٰٓ إِبۡرَٰهِيمَ

Emirembe gibeere ku Ibrahim

110

كَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلۡمُحۡسِنِينَ

Bwe tutyo bwe tusasula abalongoosa

111

إِنَّهُۥ مِنۡ عِبَادِنَا ٱلۡمُؤۡمِنِينَ

Mazima ye wa mu baddu baffe abakkiriza (abannamaddala)

112

وَبَشَّرۡنَٰهُ بِإِسۡحَٰقَ نَبِيّٗا مِّنَ ٱلصَّـٰلِحِينَ

Era twamusanyusa n’okumuwa Ishaak nga nabbi nga wa mu balongoofu

113

وَبَٰرَكۡنَا عَلَيۡهِ وَعَلَىٰٓ إِسۡحَٰقَۚ وَمِن ذُرِّيَّتِهِمَا مُحۡسِنٞ وَظَالِمٞ لِّنَفۡسِهِۦ مُبِينٞ

Era twamuwa omukisa netuguwa ne Ishaak era mu zadde lyabwe bombi mwalimu omulongoosa n'yeeyisa obubi ow'olwatu

114

وَلَقَدۡ مَنَنَّا عَلَىٰ مُوسَىٰ وَهَٰرُونَ

Mazima twabunduggula ebyengera ku Musa ne Haruna

115

وَنَجَّيۡنَٰهُمَا وَقَوۡمَهُمَا مِنَ ٱلۡكَرۡبِ ٱلۡعَظِيمِ

Netubawonya n’abantu baabwe bombi akabenje ak'amaanyi

116

وَنَصَرۡنَٰهُمۡ فَكَانُواْ هُمُ ٱلۡغَٰلِبِينَ

Netubataasa nebaba bbo nga bawanguzi

117

وَءَاتَيۡنَٰهُمَا ٱلۡكِتَٰبَ ٱلۡمُسۡتَبِينَ

Bombi twabawa ekitabo ekinnyonnyofu okutangaaza ekkubo

118

وَهَدَيۡنَٰهُمَا ٱلصِّرَٰطَ ٱلۡمُسۡتَقِيمَ

Era twabalungamya mu kkubo eggolokofu

119

وَتَرَكۡنَا عَلَيۡهِمَا فِي ٱلۡأٓخِرِينَ

Era bombi twabalekerawo okwogerwako okulungi mu balijja oluvanyuma

120

سَلَٰمٌ عَلَىٰ مُوسَىٰ وَهَٰرُونَ

Emirembe gibeere ku Musa ne Haruna

121

إِنَّا كَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلۡمُحۡسِنِينَ

Mazima ffe bwe tutyo bwe tusasula abalongoosa

122

إِنَّهُمَا مِنۡ عِبَادِنَا ٱلۡمُؤۡمِنِينَ

Mazima bombi ba mu baddu baffe abakkiriza (abannamaddala)

123

وَإِنَّ إِلۡيَاسَ لَمِنَ ٱلۡمُرۡسَلِينَ

Era mazima ddala Elias wa mu babaka

124

إِذۡ قَالَ لِقَوۡمِهِۦٓ أَلَا تَتَّقُونَ

Jjukira ekiseera bwe yagamba abantu be abaffe temutya (Katonda)

125

أَتَدۡعُونَ بَعۡلٗا وَتَذَرُونَ أَحۡسَنَ ٱلۡخَٰلِقِينَ

Musinza ekibumbe ne muleka (Katonda) omutonzi asinga abatonzi bonna

126

ٱللَّهَ رَبَّكُمۡ وَرَبَّ ءَابَآئِكُمُ ٱلۡأَوَّلِينَ

Katonda ye Mukama omulabirizi wa mmwe era ye Mukama omulabirizi wa bakadde ba mmwe abaasooka

127

فَكَذَّبُوهُ فَإِنَّهُمۡ لَمُحۡضَرُونَ

Ne bamulimbisa n’olwekyo mazima bo baakuleetebwa (babitebye)

128

إِلَّا عِبَادَ ٱللَّهِ ٱلۡمُخۡلَصِينَ

Okugyako abaddu ba Katonda abalondemu

129

وَتَرَكۡنَا عَلَيۡهِ فِي ٱلۡأٓخِرِينَ

Era twamulekera okwogerwako obulungi mu balijja oluvanyuma

130

سَلَٰمٌ عَلَىٰٓ إِلۡ يَاسِينَ

Emirembe gibe ku bantu ba Elias

131

إِنَّا كَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلۡمُحۡسِنِينَ

Mazima ffe bwe tutyo bwe tusasula abalongoosa

132

إِنَّهُۥ مِنۡ عِبَادِنَا ٱلۡمُؤۡمِنِينَ

Mazima ye wa mu baddu baffe abakkiriza abannamaddala

133

وَإِنَّ لُوطٗا لَّمِنَ ٱلۡمُرۡسَلِينَ

Era mazima Luutu wa mu babaka

134

إِذۡ نَجَّيۡنَٰهُ وَأَهۡلَهُۥٓ أَجۡمَعِينَ

(Jjukira) bwe twamuwonya n’abantube bonna

135

إِلَّا عَجُوزٗا فِي ٱلۡغَٰبِرِينَ

Okugyako omukadde (Mukyalawe) eyali mu baasigala

136

ثُمَّ دَمَّرۡنَا ٱلۡأٓخَرِينَ

Oluvanyuma twazikiriza abaasigala

137

وَإِنَّكُمۡ لَتَمُرُّونَ عَلَيۡهِم مُّصۡبِحِينَ

Era mazima mmwe mubayitako (muyita ku matongo gaabwe) ku makya

138

وَبِٱلَّيۡلِۚ أَفَلَا تَعۡقِلُونَ

N'ekiro abaffe temutegeera

139

وَإِنَّ يُونُسَ لَمِنَ ٱلۡمُرۡسَلِينَ

Era mazima Yunus wa mu babaka

140

إِذۡ أَبَقَ إِلَى ٱلۡفُلۡكِ ٱلۡمَشۡحُونِ

Jjukira (bwe yasuulawo omulimu Katonda gwe yamukwasa) naalinnya eryato eryali limaze okutikka

141

فَسَاهَمَ فَكَانَ مِنَ ٱلۡمُدۡحَضِينَ

(Bwe lyasemberera okusaanawo olw'okuba lyali litisse nnyo), olwo nno (Yunus) yeetaba mu kalulu (ak'okusalawo ab'okukasukibwa mu nnyanja, akalulu kaagenda okuggwa) nga ali mu be kakutte (ne bamukasuka mu nnyanja)

142

فَٱلۡتَقَمَهُ ٱلۡحُوتُ وَهُوَ مُلِيمٞ

Olwo nno ekyennyanja kwe kumumira nga ye y'anenyezebwa

143

فَلَوۡلَآ أَنَّهُۥ كَانَ مِنَ ٱلۡمُسَبِّحِينَ

Singa mazima ddala teyali mu batendereza (Katonda)

144

لَلَبِثَ فِي بَطۡنِهِۦٓ إِلَىٰ يَوۡمِ يُبۡعَثُونَ

Yandibadde mu lubuto lwakyo okutuusa ku lunaku lwe balizuukizibwa

145

۞فَنَبَذۡنَٰهُ بِٱلۡعَرَآءِ وَهُوَ سَقِيمٞ

Wabula twamukasuka ku lukalu naye nga yali mulwadde

146

وَأَنۢبَتۡنَا عَلَيۡهِ شَجَرَةٗ مِّن يَقۡطِينٖ

Twamumereza ekimera eky'ekiryo (kimusiikirize kimugobeko n'ensowera)

147

وَأَرۡسَلۡنَٰهُ إِلَىٰ مِاْئَةِ أَلۡفٍ أَوۡ يَزِيدُونَ

Era twamutuma eri abantu emitwalo kkumi oba okusingawo

148

فَـَٔامَنُواْ فَمَتَّعۡنَٰهُمۡ إِلَىٰ حِينٖ

Bakkiriza, olwo nno netubeeyagaza okutuuka ebbanga eggere

149

فَٱسۡتَفۡتِهِمۡ أَلِرَبِّكَ ٱلۡبَنَاتُ وَلَهُمُ ٱلۡبَنُونَ

Kaakano ggwe babuuze (aba Kuraish) nti Mukama omulabiriziwo y'aba n'abawala bo nebaba n’abalenzi

150

أَمۡ خَلَقۡنَا ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةَ إِنَٰثٗا وَهُمۡ شَٰهِدُونَ

Oba abaffe bo baaliwo nga tutonda ba Malayika nga bakazi

151

أَلَآ إِنَّهُم مِّنۡ إِفۡكِهِمۡ لَيَقُولُونَ

Abange mazima mu kutemerera kwabwe batuuka n'okugamba nti

152

وَلَدَ ٱللَّهُ وَإِنَّهُمۡ لَكَٰذِبُونَ

Katonda yazaala nga ate ddala bo balimba

153

أَصۡطَفَى ٱلۡبَنَاتِ عَلَى ٱلۡبَنِينَ

(Katonda) asalawo okutwala abawala n'aleka abalenzi

154

مَا لَكُمۡ كَيۡفَ تَحۡكُمُونَ

Mwabaaki mulamula mutya (ebintu)

155

أَفَلَا تَذَكَّرُونَ

Abaffe temwebuulirira

156

أَمۡ لَكُمۡ سُلۡطَٰنٞ مُّبِينٞ

Oba mulina obujulizi obweyolefu (nga kye kibakozesa ekyo)

157

فَأۡتُواْ بِكِتَٰبِكُمۡ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ

Kale muleete ekiwandiiko kyammwe bwe muba ab'amazima

158

وَجَعَلُواْ بَيۡنَهُۥ وَبَيۡنَ ٱلۡجِنَّةِ نَسَبٗاۚ وَلَقَدۡ عَلِمَتِ ٱلۡجِنَّةُ إِنَّهُمۡ لَمُحۡضَرُونَ

(Abatakkiriza) nebateeka oluganda wakati we (Katonda) n'amajinni, nga ate amajinni gamanyi nti mazima ggo gaakuleetebwa (mu maaso ga Katonda gabitebye)

159

سُبۡحَٰنَ ٱللَّهِ عَمَّا يَصِفُونَ

Katonda musukkulumu ku bye boogera

160

إِلَّا عِبَادَ ٱللَّهِ ٱلۡمُخۡلَصِينَ

Wabula abaddu ba Katonda abalondobemu (anti bbo tebagwa mu kiti kyabo abamwogerako eby'ensimattu)

161

فَإِنَّكُمۡ وَمَا تَعۡبُدُونَ

Kale nno mazima ddala mmwe n'ebyo bye musinza

162

مَآ أَنتُمۡ عَلَيۡهِ بِفَٰتِنِينَ

Temusobola mmwe kufiiriza Katonda (ne mumujjako abaddu be)

163

إِلَّا مَنۡ هُوَ صَالِ ٱلۡجَحِيمِ

Be ppo oyo y'ewokwesonseka omuliro Jahiimu (oyo musobola okumubuza)

164

وَمَامِنَّآ إِلَّا لَهُۥ مَقَامٞ مَّعۡلُومٞ

(Ba Malayika ne bagamba nti) era tewali n'omu ku ffe okugyako nga alina ekifo ekimanyiddwa

165

وَإِنَّا لَنَحۡنُ ٱلصَّآفُّونَ

Era mazima ffe (bulijjo) ffe tubeera mu nnyiriri (nga tusinza Katonda)

166

وَإِنَّا لَنَحۡنُ ٱلۡمُسَبِّحُونَ

Era mazima ffe ddala ffe abatendereza (Katonda)

167

وَإِن كَانُواْ لَيَقُولُونَ

Newaakubadde nga (abakaafiiri) ddala bagamba nti

168

لَوۡ أَنَّ عِندَنَا ذِكۡرٗا مِّنَ ٱلۡأَوَّلِينَ

Ddala singa twalina okujjukizibwa nga kuva eri abaasooka

169

لَكُنَّا عِبَادَ ٱللَّهِ ٱلۡمُخۡلَصِينَ

Twandibadde abaddu ba Katonda abalondobemu

170

فَكَفَرُواْ بِهِۦۖ فَسَوۡفَ يَعۡلَمُونَ

(Wabula kitalo byonna ebyo bwe byajja nga ne Nabbi Muhammad kwali) baabiwakanya, kale kyaddaaki balimanya

171

وَلَقَدۡ سَبَقَتۡ كَلِمَتُنَا لِعِبَادِنَا ٱلۡمُرۡسَلِينَ

Mazima kyakulembera ekigambo kyaffe eri abaddu baffe abaatumwa

172

إِنَّهُمۡ لَهُمُ ٱلۡمَنصُورُونَ

Nti mazima bbo ddala be b'okutaasibwa

173

وَإِنَّ جُندَنَا لَهُمُ ٱلۡغَٰلِبُونَ

Era mazima eggye lyaffe ddala bo be baba abawanguzi

174

فَتَوَلَّ عَنۡهُمۡ حَتَّىٰ حِينٖ

Kale baveeko okutuusa ekiseera ekigere

175

وَأَبۡصِرۡهُمۡ فَسَوۡفَ يُبۡصِرُونَ

Era batunuulire kyaddaaki baliraba

176

أَفَبِعَذَابِنَا يَسۡتَعۡجِلُونَ

Abaffe ebibonerezo byaffe bye basaba bibatuukeko mangu

177

فَإِذَا نَزَلَ بِسَاحَتِهِمۡ فَسَآءَ صَبَاحُ ٱلۡمُنذَرِينَ

Lwe birituuka mu lujja lwabwe galiba makya mabi eri abaaweebwa amawulire agabatiisa (omuliro ne batawulira)

178

وَتَوَلَّ عَنۡهُمۡ حَتَّىٰ حِينٖ

Era baveeko okutuusa ekiseera ekigere

179

وَأَبۡصِرۡ فَسَوۡفَ يُبۡصِرُونَ

Era tunula kyaddaaki baliraba

180

سُبۡحَٰنَ رَبِّكَ رَبِّ ٱلۡعِزَّةِ عَمَّا يَصِفُونَ

Mukama omulabirizi wo, nannyini buyinza musukkulumu Ku ebyo bye boogera

181

وَسَلَٰمٌ عَلَى ٱلۡمُرۡسَلِينَ

Era emirembe gibeere ku babaka (ba Katonda)

182

وَٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

Era buli kitendo kya Mukama omulabirizi w'ebitonde

Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! •