Home

Ghafir

غافر

Translation by Sheikh Abdul Razak Matovu

Surah 40

بِسْمِ اللَّهِ الرَّحْمَٰنِ الرَّحِيمِ

Verse 1

حمٓ

Ha Miim

Verse 2

تَنزِيلُ ٱلۡكِتَٰبِ مِنَ ٱللَّهِ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡعَلِيمِ

Okussa ekitabo (kino Kur’ani) kuva wa Katonda nantakubwa ku mukono, omumanyi ennyo

Verse 3

غَافِرِ ٱلذَّنۢبِ وَقَابِلِ ٱلتَّوۡبِ شَدِيدِ ٱلۡعِقَابِ ذِي ٱلطَّوۡلِۖ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۖ إِلَيۡهِ ٱلۡمَصِيرُ

Omusonyiyi we byonoono, era akkiriza okwenenya, nannyini bibonerezo ebikakali, nannyini kugaba, tewali kisinzibwa okugyako yye, obuddo buli gyali

Verse 4

مَا يُجَٰدِلُ فِيٓ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ إِلَّا ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فَلَا يَغۡرُرۡكَ تَقَلُّبُهُمۡ فِي ٱلۡبِلَٰدِ

Tewali awakana ku bigambo bya Katonda okugyako abo abaakafuwala, kale okwejalabattira kwabwe mu nsi tekukuyigula ttama

Verse 5

كَذَّبَتۡ قَبۡلَهُمۡ قَوۡمُ نُوحٖ وَٱلۡأَحۡزَابُ مِنۢ بَعۡدِهِمۡۖ وَهَمَّتۡ كُلُّ أُمَّةِۭ بِرَسُولِهِمۡ لِيَأۡخُذُوهُۖ وَجَٰدَلُواْ بِٱلۡبَٰطِلِ لِيُدۡحِضُواْ بِهِ ٱلۡحَقَّ فَأَخَذۡتُهُمۡۖ فَكَيۡفَ كَانَ عِقَابِ

Oluberyeberye lwabwe abantu ba Nuhu baalimbisa, n'ebibinja ebyajja oluvanyuma lwabwe (nabyo byalimbisa), buli bantu baayagala okutuusa ku mubaka waabwe akabi, baakozesa obukyamu mu kuwakana, bamenyewo amazima, awo nno nembakwata naye okubonereza kwange (olaba) kwali kutya

Verse 6

وَكَذَٰلِكَ حَقَّتۡ كَلِمَتُ رَبِّكَ عَلَى ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَنَّهُمۡ أَصۡحَٰبُ ٱلنَّارِ

Nabwekityo, kyakakata ekigambo kya Mukama omulabirizi wo kwabo abaakafuwala nti mazima bo bantu ba mu muliro

Verse 7

ٱلَّذِينَ يَحۡمِلُونَ ٱلۡعَرۡشَ وَمَنۡ حَوۡلَهُۥ يُسَبِّحُونَ بِحَمۡدِ رَبِّهِمۡ وَيُؤۡمِنُونَ بِهِۦ وَيَسۡتَغۡفِرُونَ لِلَّذِينَ ءَامَنُواْۖ رَبَّنَا وَسِعۡتَ كُلَّ شَيۡءٖ رَّحۡمَةٗ وَعِلۡمٗا فَٱغۡفِرۡ لِلَّذِينَ تَابُواْ وَٱتَّبَعُواْ سَبِيلَكَ وَقِهِمۡ عَذَابَ ٱلۡجَحِيمِ

(Ba Malayika) abo abasitudde Arish, naabo abagibugiriza, batendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi waabwe, era ba mukkiriza era basaba (Katonda) ekisonyiwo eri abo abakkiriza (nga bagamba nti) ayi Mukama omulabirizi waffe mu kusaasira ne mukumanya wamalayo buli kintu kyonna, kale sonyiwa abo abeenenya nebagoberera ekkubo lyo era obawonye ebibonerezo by'omuliro Jahiim

Verse 8

رَبَّنَا وَأَدۡخِلۡهُمۡ جَنَّـٰتِ عَدۡنٍ ٱلَّتِي وَعَدتَّهُمۡ وَمَن صَلَحَ مِنۡ ءَابَآئِهِمۡ وَأَزۡوَٰجِهِمۡ وَذُرِّيَّـٰتِهِمۡۚ إِنَّكَ أَنتَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ

Ayi Mukama omulabirizi waffe era bayingize e jjana ez’emirembe zewabalagaanyisa (era zewalagaanyisa) abo abaalongooka mu bakadde baabwe ne be bafumbiriganwa nabo ne zadde lyabwe. Mazima ggwe nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga

Verse 9

وَقِهِمُ ٱلسَّيِّـَٔاتِۚ وَمَن تَقِ ٱلسَّيِّـَٔاتِ يَوۡمَئِذٖ فَقَدۡ رَحِمۡتَهُۥۚ وَذَٰلِكَ هُوَ ٱلۡفَوۡزُ ٱلۡعَظِيمُ

Era obesambye ebyonoono era oyo yenna gw'olyesambya ebibi ku lunaku olwo mazima oliba omusaasidde, era ekyo kwo, kwe kwesiima okusuffu

Verse 10

إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ يُنَادَوۡنَ لَمَقۡتُ ٱللَّهِ أَكۡبَرُ مِن مَّقۡتِكُمۡ أَنفُسَكُمۡ إِذۡ تُدۡعَوۡنَ إِلَى ٱلۡإِيمَٰنِ فَتَكۡفُرُونَ

Mazima abo abaakafuwala balikowoolwa (nga bali mu muliro nti) mazima obusungu bwa Katonda busuffu okusinga okwesunguwalira kwa mmwe, bwe mwakowolwanga okujja eri obukkiriza (wabula ate mmwe) nemuwakanya

Verse 11

قَالُواْ رَبَّنَآ أَمَتَّنَا ٱثۡنَتَيۡنِ وَأَحۡيَيۡتَنَا ٱثۡنَتَيۡنِ فَٱعۡتَرَفۡنَا بِذُنُوبِنَا فَهَلۡ إِلَىٰ خُرُوجٖ مِّن سَبِيلٖ

Baligamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe watutta emirundi ebiri notuwa obulamu emirundi ebiri, kaakano tukkirizza ebyonoono byaffe (bitusaanidde), abaffe waliwo ekkubo lyonna eritufulumya mu muliro

Verse 12

ذَٰلِكُم بِأَنَّهُۥٓ إِذَا دُعِيَ ٱللَّهُ وَحۡدَهُۥ كَفَرۡتُمۡ وَإِن يُشۡرَكۡ بِهِۦ تُؤۡمِنُواْۚ فَٱلۡحُكۡمُ لِلَّهِ ٱلۡعَلِيِّ ٱلۡكَبِيرِ

(Baligambwa nti) ekyo mmwe (kye mulimu) buli Katonda lweyasabwanga yekka nga muwakanya, ate buli lwe yagattibwangako ekintu ekirala olwo nga mukkiriza, kale nno okulamula (olwaleero) kwa Katonda (yekka) owa waggulu owekitiibwa

Verse 13

هُوَ ٱلَّذِي يُرِيكُمۡ ءَايَٰتِهِۦ وَيُنَزِّلُ لَكُم مِّنَ ٱلسَّمَآءِ رِزۡقٗاۚ وَمَا يَتَذَكَّرُ إِلَّا مَن يُنِيبُ

Yye yooyo abalaga obubonero bwe era abassiza amazzi okuva waggulu nga riziki (gye muli) naye teyebulirira (nabyo) okugyako oyo adda eri (Katonda)

Verse 14

فَٱدۡعُواْ ٱللَّهَ مُخۡلِصِينَ لَهُ ٱلدِّينَ وَلَوۡ كَرِهَ ٱلۡكَٰفِرُونَ

Kale musabe Katonda ng’eddiini mugikola ku lulwe yekka newakubadde nga abakafiiri bakitamwa

Verse 15

رَفِيعُ ٱلدَّرَجَٰتِ ذُو ٱلۡعَرۡشِ يُلۡقِي ٱلرُّوحَ مِنۡ أَمۡرِهِۦ عَلَىٰ مَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦ لِيُنذِرَ يَوۡمَ ٱلتَّلَاقِ

(Katonda oyo) ow'ebitiibwa ebya waggulu nannyini Arish, assa obubaka okusinziira ku kiragiro kye kwoyo gwaba ayagadde mu baddu be, abe nga atiisa (abantu ebiribaawo ku) lunaku lw'okusisinkana

Verse 16

يَوۡمَ هُم بَٰرِزُونَۖ لَا يَخۡفَىٰ عَلَى ٱللَّهِ مِنۡهُمۡ شَيۡءٞۚ لِّمَنِ ٱلۡمُلۡكُ ٱلۡيَوۡمَۖ لِلَّهِ ٱلۡوَٰحِدِ ٱلۡقَهَّارِ

Olunaku bo (abantu) bonna lwe balyeyoleka )mu maaso ga Katonda) tewali kintu kyonna kyava mu bo kiryekweka Katonda, (balibuuzibwa nti) obufuzi bwani olwaleero? (olwo nno nebategezebwa nti) bwa Katonda ali omu nantalemwa

Verse 17

ٱلۡيَوۡمَ تُجۡزَىٰ كُلُّ نَفۡسِۭ بِمَا كَسَبَتۡۚ لَا ظُلۡمَ ٱلۡيَوۡمَۚ إِنَّ ٱللَّهَ سَرِيعُ ٱلۡحِسَابِ

Olwaleero buli mwoyo gugenda kusasulwa olwebyo bye gwakola tewali kulyazamanya olwaleero, mazima Katonda mwangu wa kubala

Verse 18

وَأَنذِرۡهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡأٓزِفَةِ إِذِ ٱلۡقُلُوبُ لَدَى ٱلۡحَنَاجِرِ كَٰظِمِينَۚ مَا لِلظَّـٰلِمِينَ مِنۡ حَمِيمٖ وَلَا شَفِيعٖ يُطَاعُ

Batiise (gwe nabbi Muhammad) olunaku olusembedde, ekiseera emitima lwegiribeera mu malokooli (olw'entiisa) nga banyikaavu, abeeyisa obubi tebagenda kuba na ffa nfe, wadde muwolereza ayinza okuwulirizibwa

Verse 19

يَعۡلَمُ خَآئِنَةَ ٱلۡأَعۡيُنِ وَمَا تُخۡفِي ٱلصُّدُورُ

(Anti) Katonda amanyi amaaso agatali meesimbu era nga bwamanyi ebyo ebifuba bye bikweka

Verse 20

وَٱللَّهُ يَقۡضِي بِٱلۡحَقِّۖ وَٱلَّذِينَ يَدۡعُونَ مِن دُونِهِۦ لَا يَقۡضُونَ بِشَيۡءٍۗ إِنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡبَصِيرُ

Era Katonda alamula mazima, bo abo abasaba ebintu ebirala nebaleka Katonda, tebalina kintu kyonna kye balamula (nekiba kyo). Mazima Katonda ye yaawulira ennyo alaba

Verse 21

۞أَوَلَمۡ يَسِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَيَنظُرُواْ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلَّذِينَ كَانُواْ مِن قَبۡلِهِمۡۚ كَانُواْ هُمۡ أَشَدَّ مِنۡهُمۡ قُوَّةٗ وَءَاثَارٗا فِي ٱلۡأَرۡضِ فَأَخَذَهُمُ ٱللَّهُ بِذُنُوبِهِمۡ وَمَا كَانَ لَهُم مِّنَ ٱللَّهِ مِن وَاقٖ

Abaffe tebatambulako mu nsi ne balala enkomerero yaabo ababasooka nga bwe yali, bo be baali babasinga amaanyi n'ebintu bye baaleka mu nsi Katonda yabakwata olwebyonoono byabwe tewaaliwo abawonya ku Katonda

Verse 22

ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ كَانَت تَّأۡتِيهِمۡ رُسُلُهُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِ فَكَفَرُواْ فَأَخَذَهُمُ ٱللَّهُۚ إِنَّهُۥ قَوِيّٞ شَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ

Ekyo (kyali bwekityo) lwakuba nti mazima bo ababaka baabwe babajjiranga n'obunnyonnyofu nebajeema, olwo nno Katonda nabakwata, mazima ye wamaanyi muyitirivu wa kubonereza

Verse 23

وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا مُوسَىٰ بِـَٔايَٰتِنَا وَسُلۡطَٰنٖ مُّبِينٍ

Era Mazima twatuma Musa ne bya magero byaffe n’obusobozi bwokulambika ensonga

Verse 24

إِلَىٰ فِرۡعَوۡنَ وَهَٰمَٰنَ وَقَٰرُونَ فَقَالُواْ سَٰحِرٞ كَذَّابٞ

Eri Falawo ne Hamaana ne Karuna nebagamba nti (Musa) mulogo mulimba

Verse 25

فَلَمَّا جَآءَهُم بِٱلۡحَقِّ مِنۡ عِندِنَا قَالُواْ ٱقۡتُلُوٓاْ أَبۡنَآءَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ مَعَهُۥ وَٱسۡتَحۡيُواْ نِسَآءَهُمۡۚ وَمَا كَيۡدُ ٱلۡكَٰفِرِينَ إِلَّا فِي ضَلَٰلٖ

Bweyabaleetera amazima okuva gyetuli baagamba nti mutte abaana abalenzi abaabo abakkiriza abali naye, naye bawala baabwe mubaleke nga balamu, bulijjo enkwe za bakafiiri teziba okugyako mu bubuze

Verse 26

وَقَالَ فِرۡعَوۡنُ ذَرُونِيٓ أَقۡتُلۡ مُوسَىٰ وَلۡيَدۡعُ رَبَّهُۥٓۖ إِنِّيٓ أَخَافُ أَن يُبَدِّلَ دِينَكُمۡ أَوۡ أَن يُظۡهِرَ فِي ٱلۡأَرۡضِ ٱلۡفَسَادَ

Filaawo naagamba nti mundeke nzite Musa kale ayite Mukama omulabirizi we (anti) mazima nze ntidde nti ayinza okukyusa eddiini yammwe, oba ssi ekyo, ayinza okussa mu nsi obwononefu

Verse 27

وَقَالَ مُوسَىٰٓ إِنِّي عُذۡتُ بِرَبِّي وَرَبِّكُم مِّن كُلِّ مُتَكَبِّرٖ لَّا يُؤۡمِنُ بِيَوۡمِ ٱلۡحِسَابِ

Musa naagamba nti mazima nze nsaba Mukama omulabirizi wange era omulabirizi wa mmwe amponye (obubi) bwa buli mwekuza atakkiriza lunaku lwa kubalibwa

Verse 28

وَقَالَ رَجُلٞ مُّؤۡمِنٞ مِّنۡ ءَالِ فِرۡعَوۡنَ يَكۡتُمُ إِيمَٰنَهُۥٓ أَتَقۡتُلُونَ رَجُلًا أَن يَقُولَ رَبِّيَ ٱللَّهُ وَقَدۡ جَآءَكُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِ مِن رَّبِّكُمۡۖ وَإِن يَكُ كَٰذِبٗا فَعَلَيۡهِ كَذِبُهُۥۖ وَإِن يَكُ صَادِقٗا يُصِبۡكُم بَعۡضُ ٱلَّذِي يَعِدُكُمۡۖ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَهۡدِي مَنۡ هُوَ مُسۡرِفٞ كَذَّابٞ

Omusajja omukkiriza mu bantu ba Filaawo (naye nga) yali akweka obukkiriza bwe, yagamba nti mutta omusajja olwokuba agamba nti Katonda ye Mukama omulabirizi wange, ate nga abaleetedde obujulizi obuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, bwaba nga alimba okulimba kwe kuli gyali, naye bwaba nga ayogera mazima ebimu ku byabalaganyisa bijja kubatuukako mazima Katonda talungamya oyo ye eyegalabanja, omulimba

Verse 29

يَٰقَوۡمِ لَكُمُ ٱلۡمُلۡكُ ٱلۡيَوۡمَ ظَٰهِرِينَ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَمَن يَنصُرُنَا مِنۢ بَأۡسِ ٱللَّهِ إِن جَآءَنَاۚ قَالَ فِرۡعَوۡنُ مَآ أُرِيكُمۡ إِلَّا مَآ أَرَىٰ وَمَآ أَهۡدِيكُمۡ إِلَّا سَبِيلَ ٱلرَّشَادِ

Abange mmwe bantu bange olwaleero mmwe mulina obufuzi era nga mumanyiddwa mu nsi, olwo ani anatutaasa ku bibonerezo bya Katonda singa bituggira (olw'obutakkiriza Musa byagamba) Falawo nagamba nti siraba nti mwandisazeewo okugyako kye ndaba (ekyo kutta Musa), ate si balagirira okugyako ekkubo ettuufu

Verse 30

وَقَالَ ٱلَّذِيٓ ءَامَنَ يَٰقَوۡمِ إِنِّيٓ أَخَافُ عَلَيۡكُم مِّثۡلَ يَوۡمِ ٱلۡأَحۡزَابِ

Oyo eyakkiriza naagamba nti abange bantu bange (mwegendereze) mazima nze ntya mmwe okutuukibwako nga ebyo ebyatuuka ku bibiina ebyakulembera (ebyekobaana okuyisa obubi ba Nabbi babyo)

Verse 31

مِثۡلَ دَأۡبِ قَوۡمِ نُوحٖ وَعَادٖ وَثَمُودَ وَٱلَّذِينَ مِنۢ بَعۡدِهِمۡۚ وَمَا ٱللَّهُ يُرِيدُ ظُلۡمٗا لِّلۡعِبَادِ

Okugeza ng'enkola y'abantu ba Nuhu ne A-adi ne Thamud naabo abaaliwo oluvanyuma lwabwe, era bulijjo Katonda tayagaliza baddu be kuyisibwa bubi

Verse 32

وَيَٰقَوۡمِ إِنِّيٓ أَخَافُ عَلَيۡكُمۡ يَوۡمَ ٱلتَّنَادِ

Era abange mmwe bantu bange, mazima nze mbatiisa olunaku lw’enduulu

Verse 33

يَوۡمَ تُوَلُّونَ مُدۡبِرِينَ مَا لَكُم مِّنَ ٱللَّهِ مِنۡ عَاصِمٖۗ وَمَن يُضۡلِلِ ٱللَّهُ فَمَا لَهُۥ مِنۡ هَادٖ

Olunaku lwe mulikyuka mudduke naye nga temuliba n’abawonya yenna ku Katonda, oyo yenna Katonda gwabuza tayinza kufuna mulungamya

Verse 34

وَلَقَدۡ جَآءَكُمۡ يُوسُفُ مِن قَبۡلُ بِٱلۡبَيِّنَٰتِ فَمَا زِلۡتُمۡ فِي شَكّٖ مِّمَّا جَآءَكُم بِهِۦۖ حَتَّىٰٓ إِذَا هَلَكَ قُلۡتُمۡ لَن يَبۡعَثَ ٱللَّهُ مِنۢ بَعۡدِهِۦ رَسُولٗاۚ كَذَٰلِكَ يُضِلُّ ٱللَّهُ مَنۡ هُوَ مُسۡرِفٞ مُّرۡتَابٌ

Era mazima Yusuf yabajjira oluberyeberye n’obujulizi kyokka mwasigala muli mu kubuusabuusa kwebyo bye yabaleetera, okutuusa nga amaze okufa olwo nno nemugamba nti Katonda tagenda kutuma mubaka yenna luvannyuma lwe, bwatyo nno Katonda bwabuza buli oyo yenna yye eyegalabanja abuusabuusa

Verse 35

ٱلَّذِينَ يُجَٰدِلُونَ فِيٓ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ بِغَيۡرِ سُلۡطَٰنٍ أَتَىٰهُمۡۖ كَبُرَ مَقۡتًا عِندَ ٱللَّهِ وَعِندَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْۚ كَذَٰلِكَ يَطۡبَعُ ٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ قَلۡبِ مُتَكَبِّرٖ جَبَّارٖ

Abo abawakana ku bikwata ku bigambo bya Katonda awatali bujulizi bubajjidde (ekikolwa ekyo) kibi, kinene nnyo ewa Katonda, newaabo abakkiriza, bwatyo Katonda bwazibikira ku buli mutima gwo mwekuza, kiwagi

Verse 36

وَقَالَ فِرۡعَوۡنُ يَٰهَٰمَٰنُ ٱبۡنِ لِي صَرۡحٗا لَّعَلِّيٓ أَبۡلُغُ ٱلۡأَسۡبَٰبَ

Firawo nagamba nti owange Hamaana (katikkiro we) nzimbira omunaala oba olyawo naatuka ku makubo

Verse 37

أَسۡبَٰبَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ فَأَطَّلِعَ إِلَىٰٓ إِلَٰهِ مُوسَىٰ وَإِنِّي لَأَظُنُّهُۥ كَٰذِبٗاۚ وَكَذَٰلِكَ زُيِّنَ لِفِرۡعَوۡنَ سُوٓءُ عَمَلِهِۦ وَصُدَّ عَنِ ٱلسَّبِيلِۚ وَمَا كَيۡدُ فِرۡعَوۡنَ إِلَّا فِي تَبَابٖ

Amakubo g'eggulu omusanvu olwo nno mbe nga ndaba Katonda wa Musa, wabula mazima mmulowooza okuba nti mulimba, bwatyo Firawo emirimu gye emibi gyamulabisibwa nga mirungi, olwo nno naggibwa ku kkubo, era enkwe za Firawo tezaali okugyako mu kugootaana

Verse 38

وَقَالَ ٱلَّذِيٓ ءَامَنَ يَٰقَوۡمِ ٱتَّبِعُونِ أَهۡدِكُمۡ سَبِيلَ ٱلرَّشَادِ

Era oyo eyakkiriza yagamba nti mungoberere mbalagirire ekkubo lyo bulungamu

Verse 39

يَٰقَوۡمِ إِنَّمَا هَٰذِهِ ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَا مَتَٰعٞ وَإِنَّ ٱلۡأٓخِرَةَ هِيَ دَارُ ٱلۡقَرَارِ

Abange bantu bange mazima obulamu bwe nsi buno bwakiyita mu lujja, era mazima enkomerero, y’enyumba eyolubereera

Verse 40

مَنۡ عَمِلَ سَيِّئَةٗ فَلَا يُجۡزَىٰٓ إِلَّا مِثۡلَهَاۖ وَمَنۡ عَمِلَ صَٰلِحٗا مِّن ذَكَرٍ أَوۡ أُنثَىٰ وَهُوَ مُؤۡمِنٞ فَأُوْلَـٰٓئِكَ يَدۡخُلُونَ ٱلۡجَنَّةَ يُرۡزَقُونَ فِيهَا بِغَيۡرِ حِسَابٖ

Oyo yenna akola omulimu omubi tasasulwa okugyako ekigwenkana, ate oyo akola omulimu omulongoofu kaabe musajja oba mukazi (naagukola) nga mukkiriza, abo nno baliyingira e jjana baligabirirwa mu yo awatali kubalirira

Verse 41

۞وَيَٰقَوۡمِ مَا لِيٓ أَدۡعُوكُمۡ إِلَى ٱلنَّجَوٰةِ وَتَدۡعُونَنِيٓ إِلَى ٱلنَّارِ

Abange bantu bange lwaki mbayita okujja eri okuwona nga mmwe mumpita kudda eri muliro

Verse 42

تَدۡعُونَنِي لِأَكۡفُرَ بِٱللَّهِ وَأُشۡرِكَ بِهِۦ مَا لَيۡسَ لِي بِهِۦ عِلۡمٞ وَأَنَا۠ أَدۡعُوكُمۡ إِلَى ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡغَفَّـٰرِ

Mumpita mpakanye Katonda era mugatteko ebyo bye ssirinaako kumanya! ate nga nze mbayita kudda eri Nantakubwa ku mukono, omusonyiyi ennyo

Verse 43

لَا جَرَمَ أَنَّمَا تَدۡعُونَنِيٓ إِلَيۡهِ لَيۡسَ لَهُۥ دَعۡوَةٞ فِي ٱلدُّنۡيَا وَلَا فِي ٱلۡأٓخِرَةِ وَأَنَّ مَرَدَّنَآ إِلَى ٱللَّهِ وَأَنَّ ٱلۡمُسۡرِفِينَ هُمۡ أَصۡحَٰبُ ٱلنَّارِ

Tewali kubuusabuusa mazima ekyo kye mumpitira tekirina buyinza ku nsi wadde ku nkomerero, ate nga mazima obuddo bwaffe buli eri Katonda era nga mazima abegalabanja bo be bantu bo mu muliro

Verse 44

فَسَتَذۡكُرُونَ مَآ أَقُولُ لَكُمۡۚ وَأُفَوِّضُ أَمۡرِيٓ إِلَى ٱللَّهِۚ إِنَّ ٱللَّهَ بَصِيرُۢ بِٱلۡعِبَادِ

Lumu mulijjukira bye mbagamba era ensonga yange ngikwasa Katonda, mazima Katonda alabira ddala ebifa ku baddu

Verse 45

فَوَقَىٰهُ ٱللَّهُ سَيِّـَٔاتِ مَا مَكَرُواْۖ وَحَاقَ بِـَٔالِ فِرۡعَوۡنَ سُوٓءُ ٱلۡعَذَابِ

Katonda naamuwonya obubi bwe nkwe zebasala, obubi bwe bibonorezo ne byetoloola abantu ba Falaawo

Verse 46

ٱلنَّارُ يُعۡرَضُونَ عَلَيۡهَا غُدُوّٗا وَعَشِيّٗاۚ وَيَوۡمَ تَقُومُ ٱلسَّاعَةُ أَدۡخِلُوٓاْ ءَالَ فِرۡعَوۡنَ أَشَدَّ ٱلۡعَذَابِ

Omuliro banjulwa gye guli (mu bufu bwabwe) enkya ne ggulo, ate olunaku lw’enkomerero lwe lulituuka walirangirirwa (nti) muyingize abantu ba Firaawo mu bibonerezo ebisinga obukakali

Verse 47

وَإِذۡ يَتَحَآجُّونَ فِي ٱلنَّارِ فَيَقُولُ ٱلضُّعَفَـٰٓؤُاْ لِلَّذِينَ ٱسۡتَكۡبَرُوٓاْ إِنَّا كُنَّا لَكُمۡ تَبَعٗا فَهَلۡ أَنتُم مُّغۡنُونَ عَنَّا نَصِيبٗا مِّنَ ٱلنَّارِ

Jjukira ekiseera lwe balikayana mu muliro, abanafu (abakulemberwa) bwe baligamba abo abeekuza (abaali abakulembeze nti) mazima ffe twali bagoberezi ba mmwe abaffe mmwe musobola okutukolera ekitundu (kye kibonerezo) kyo muliro

Verse 48

قَالَ ٱلَّذِينَ ٱسۡتَكۡبَرُوٓاْ إِنَّا كُلّٞ فِيهَآ إِنَّ ٱللَّهَ قَدۡ حَكَمَ بَيۡنَ ٱلۡعِبَادِ

Abo abeekuza baligamba nti, mazima ffe tugulimu fenna wamu, mazima Katonda yamaze okulamula wakati w'abaddu

Verse 49

وَقَالَ ٱلَّذِينَ فِي ٱلنَّارِ لِخَزَنَةِ جَهَنَّمَ ٱدۡعُواْ رَبَّكُمۡ يُخَفِّفۡ عَنَّا يَوۡمٗا مِّنَ ٱلۡعَذَابِ

Abaliba mu muliro baligamba abakuumi ba Jahannama nti musabe Mukama omulabirizi wa mmwe atukendeereze ku bibonerezo (waakiri) olunaku lumu

Verse 50

قَالُوٓاْ أَوَلَمۡ تَكُ تَأۡتِيكُمۡ رُسُلُكُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِۖ قَالُواْ بَلَىٰۚ قَالُواْ فَٱدۡعُواْۗ وَمَا دُعَـٰٓؤُاْ ٱلۡكَٰفِرِينَ إِلَّا فِي ضَلَٰلٍ

(Abakuumi bo muliro) baligamba nti abaffe ababaka ba mmwe tebabajjira n’obujulizi obwenkukunala, baligamba nti kituufu (baatujjira), bali bagambe nti kale musabe, wabula okusaba kwa bakafiiri tekuba okugyako mu bubuze

Verse 51

إِنَّا لَنَنصُرُ رُسُلَنَا وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا وَيَوۡمَ يَقُومُ ٱلۡأَشۡهَٰدُ

Mazima ffe ddala tutaasa ababaka baffe naabo abakkiriza mu bulamu obw'ensi ne ku lunaku abajulizi lwe baliyimirira (okuwa obujulizi nti ddala obubaka bwatusibwa ku bantu)

Verse 52

يَوۡمَ لَا يَنفَعُ ٱلظَّـٰلِمِينَ مَعۡذِرَتُهُمۡۖ وَلَهُمُ ٱللَّعۡنَةُ وَلَهُمۡ سُوٓءُ ٱلدَّارِ

Olunaku abeeyisa obubi okwetonda kwabwe lwe kutalibagasa, era balina ekikolimo nga bwebalina obutuulo obubi (omuliro)

Verse 53

وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا مُوسَى ٱلۡهُدَىٰ وَأَوۡرَثۡنَا بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ ٱلۡكِتَٰبَ

Mazima twawa Musa obulungamu era netusikiza abaana ba Israil ekitabo (ekyo)

Verse 54

هُدٗى وَذِكۡرَىٰ لِأُوْلِي ٱلۡأَلۡبَٰبِ

Nga bulungamu era nga kya kujjukiza eri abo abalina amagezi

Verse 55

فَٱصۡبِرۡ إِنَّ وَعۡدَ ٱللَّهِ حَقّٞ وَٱسۡتَغۡفِرۡ لِذَنۢبِكَ وَسَبِّحۡ بِحَمۡدِ رَبِّكَ بِٱلۡعَشِيِّ وَٱلۡإِبۡكَٰرِ

Kale gumikiriza (ggwe Nabbi Muhammad) mazima endagaano ya Katonda ya mazima era saba ekisonyiwo olw'ekibi kyo, era tendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi wo olweggulo ne kumakya

Verse 56

إِنَّ ٱلَّذِينَ يُجَٰدِلُونَ فِيٓ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ بِغَيۡرِ سُلۡطَٰنٍ أَتَىٰهُمۡ إِن فِي صُدُورِهِمۡ إِلَّا كِبۡرٞ مَّا هُم بِبَٰلِغِيهِۚ فَٱسۡتَعِذۡ بِٱللَّهِۖ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡبَصِيرُ

Mazima abo abawalaaza empaka ku bubonero bwa Katonda awatali bujulizi bubajjidde, mu bifuba byabwe temuli okugyako okwekuza ate nga tekuyinza kukibatuusaako (ekye kitiibwa n'obulungi Katonda bya gonnomola ku Nabbi we) kale nno saba obukuumi ewa Katonda (anti) mazima yye yemuwulizi omulabi enyo

Verse 57

لَخَلۡقُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ أَكۡبَرُ مِنۡ خَلۡقِ ٱلنَّاسِ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَعۡلَمُونَ

Ddala, okutonda eggulu omusanvu n'ensi kinene okusinga okutonda abantu, naye ddala abantu abasinga obungi tebamanyi

Verse 58

وَمَا يَسۡتَوِي ٱلۡأَعۡمَىٰ وَٱلۡبَصِيرُ وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ وَلَا ٱلۡمُسِيٓءُۚ قَلِيلٗا مَّا تَتَذَكَّرُونَ

Era muzibe n'alaba tebenkana nga bwe batenkana abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu nomwonoonyi (wabula) mujjukira kitono nnyo

Verse 59

إِنَّ ٱلسَّاعَةَ لَأٓتِيَةٞ لَّا رَيۡبَ فِيهَا وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يُؤۡمِنُونَ

Mazima olunaku lw’enkomerero lwa kutuuka teruliimu kubuusabuusa, naye ddala abantu abasinga obungi tebakkiriza

Verse 60

وَقَالَ رَبُّكُمُ ٱدۡعُونِيٓ أَسۡتَجِبۡ لَكُمۡۚ إِنَّ ٱلَّذِينَ يَسۡتَكۡبِرُونَ عَنۡ عِبَادَتِي سَيَدۡخُلُونَ جَهَنَّمَ دَاخِرِينَ

Mukama omulabirizi wa mmwe yagamba nti munsabe nja kubaanukula ,mazima abo abeekuza nebatansinza bagenda kuyingira omuliro Jahannama nga baswavu

Verse 61

ٱللَّهُ ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلَّيۡلَ لِتَسۡكُنُواْ فِيهِ وَٱلنَّهَارَ مُبۡصِرًاۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَذُو فَضۡلٍ عَلَى ٱلنَّاسِ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَشۡكُرُونَ

Katonda yooyo eyabateerawo obudde obwekiro muwummuliremu nabateerawo obudde obwemisana nga butangaala (musobole okukoleramu emirimu gya mmwe). Mazima Katonda akolera abantu ebirungi bingi, naye ddala abantu abasinga obungi tebeebaza

Verse 62

ذَٰلِكُمُ ٱللَّهُ رَبُّكُمۡ خَٰلِقُ كُلِّ شَيۡءٖ لَّآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۖ فَأَنَّىٰ تُؤۡفَكُونَ

Oyo nno mwe ye Katonda omulabirizi wa mmwe, omutonzi wa buli kintu, tewali kisinzibwa (mu butuufu) okugyako yye ate muwugulwa mutya

Verse 63

كَذَٰلِكَ يُؤۡفَكُ ٱلَّذِينَ كَانُواْ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ يَجۡحَدُونَ

(Nga bwe muwugulwa) bwe batyo bwe bwe baawugulwanga abo abaalinga bawakanya ebigambo bya Katonda

Verse 64

ٱللَّهُ ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلۡأَرۡضَ قَرَارٗا وَٱلسَّمَآءَ بِنَآءٗ وَصَوَّرَكُمۡ فَأَحۡسَنَ صُوَرَكُمۡ وَرَزَقَكُم مِّنَ ٱلطَّيِّبَٰتِۚ ذَٰلِكُمُ ٱللَّهُ رَبُّكُمۡۖ فَتَبَارَكَ ٱللَّهُ رَبُّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

Katonda yooyo eyabateerawo ensi nga ntebenkevu, nabaterawo eggulu nga kasolya, era nabawa endabika ya mmwe, olwo nno nanyiriza endabika ya mmwe era nabagabirira ebintu ebirungi, oyo nno mmwe ye Katonda omulabirizi wa mmwe, kale nno musukkulumu Katonda, Mukama, omulabirizi w'ebitonde

Verse 65

هُوَ ٱلۡحَيُّ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ فَٱدۡعُوهُ مُخۡلِصِينَ لَهُ ٱلدِّينَۗ ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

Yye ye mulamu tewali kisinzibwa okugyako yye, kale mumusabe ng'eddiini yonna mugikolera yye yekka, (anti) ebitendo byonna bya Katonda omulabirizi webitonde

Verse 66

۞قُلۡ إِنِّي نُهِيتُ أَنۡ أَعۡبُدَ ٱلَّذِينَ تَدۡعُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ لَمَّا جَآءَنِيَ ٱلۡبَيِّنَٰتُ مِن رَّبِّي وَأُمِرۡتُ أَنۡ أُسۡلِمَ لِرَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad nti mazima nze bwe nnamala okufuna obunnyonnyofu okuva ewa Mukama omulabirizi wange) nagaanibwa okusinza ebyo bye musaba ne muleka Katonda, obunnyonnyofu bwe bwanzijira nga buva ewa Mukama omulabirizi wange, era nalagirwa okwewa ewa Mukama omulabirizi w'ebitonde

Verse 67

هُوَ ٱلَّذِي خَلَقَكُم مِّن تُرَابٖ ثُمَّ مِن نُّطۡفَةٖ ثُمَّ مِنۡ عَلَقَةٖ ثُمَّ يُخۡرِجُكُمۡ طِفۡلٗا ثُمَّ لِتَبۡلُغُوٓاْ أَشُدَّكُمۡ ثُمَّ لِتَكُونُواْ شُيُوخٗاۚ وَمِنكُم مَّن يُتَوَفَّىٰ مِن قَبۡلُۖ وَلِتَبۡلُغُوٓاْ أَجَلٗا مُّسَمّٗى وَلَعَلَّكُمۡ تَعۡقِلُونَ

(Anti) ye yooyo eyabatonda nga abaggya mu ttaka (omulundi ogwasooka nga atonda Adam), oluvanyuma (abatonda nga) abajja mu mazzzi agazaala, oluvanyuma abafuula ekisaayisaayi, oluvanyuma abafulumya nga muli baana, oluvanyuma (abalekawo) nemutuuka okubeera abajjuvu (mu mibiri ne mu kutegeera), oluvanyuma (abalekawo) nemutuuka okubeera abakadde, ate mu mmwe mulimu afa ng'akyali (naatamalaayo emitendera esatu egyogeddwa, (bwe kitaba ekyo abalekawo) mube nga mutuuka ekiseera ekigere (ekya buli omu) mube nga mutegeera (ebyo byonna ebibannyonnyoddwa)

Verse 68

هُوَ ٱلَّذِي يُحۡيِۦ وَيُمِيتُۖ فَإِذَا قَضَىٰٓ أَمۡرٗا فَإِنَّمَا يَقُولُ لَهُۥ كُن فَيَكُونُ

(Katonda) yye yooyo awa obulamu era yatta, kale nno bwaba asazeewo ekintu akigamba nti beera nekibeera

Verse 69

أَلَمۡ تَرَ إِلَى ٱلَّذِينَ يُجَٰدِلُونَ فِيٓ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ أَنَّىٰ يُصۡرَفُونَ

Abaffe tolaba abo abawalaaza empaka ku bigambo bya Katonda engeri gye bakyusibwamu (nebaleka amazima)

Verse 70

ٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ بِٱلۡكِتَٰبِ وَبِمَآ أَرۡسَلۡنَا بِهِۦ رُسُلَنَاۖ فَسَوۡفَ يَعۡلَمُونَ

Abo abaalimbisa ekitabo (Kur’ani) n'ebyo byetwatuma nabyo ababaka baffe kyaddaaki balimanya

Verse 71

إِذِ ٱلۡأَغۡلَٰلُ فِيٓ أَعۡنَٰقِهِمۡ وَٱلسَّلَٰسِلُ يُسۡحَبُونَ

(Balimanya) mu kiseera enkoligo bwezirissibwa mu nsingo zaabwe era nga basibiddwa ne njegere nga bawalulwa

Verse 72

فِي ٱلۡحَمِيمِ ثُمَّ فِي ٱلنَّارِ يُسۡجَرُونَ

Mu lweje oluvanyuma balisibirwa mu muliro

Verse 73

ثُمَّ قِيلَ لَهُمۡ أَيۡنَ مَا كُنتُمۡ تُشۡرِكُونَ

Oluvanyuma baligambwa nti biriwa bye mwagattanga (ku Katonda)

Verse 74

مِن دُونِ ٱللَّهِۖ قَالُواْ ضَلُّواْ عَنَّا بَل لَّمۡ نَكُن نَّدۡعُواْ مِن قَبۡلُ شَيۡـٔٗاۚ كَذَٰلِكَ يُضِلُّ ٱللَّهُ ٱلۡكَٰفِرِينَ

Nemuleka Katonda, baligamba nti batubuzeeko wabula (mu butuufu) bye twasabanga oluberyeberye temwali kantu. Bwatyo Katonda bwabuza abakafiiri

Verse 75

ذَٰلِكُم بِمَا كُنتُمۡ تَفۡرَحُونَ فِي ٱلۡأَرۡضِ بِغَيۡرِ ٱلۡحَقِّ وَبِمَا كُنتُمۡ تَمۡرَحُونَ

Ebyo nno mmwe (eby'omuliro gwe muyingidde) lwansonga lwebyo bye mwasanyuka nga mu nsi mu butali butuufu, era n'engeri y’obujeemu gye mweyisangamu

Verse 76

ٱدۡخُلُوٓاْ أَبۡوَٰبَ جَهَنَّمَ خَٰلِدِينَ فِيهَاۖ فَبِئۡسَ مَثۡوَى ٱلۡمُتَكَبِّرِينَ

Muyingire emiryango gy’omuliro Jahannama nga muli ba kutuula mu gwo bugenderevu, bubi nnyo obutuulo bwa beekuza

Verse 77

فَٱصۡبِرۡ إِنَّ وَعۡدَ ٱللَّهِ حَقّٞۚ فَإِمَّا نُرِيَنَّكَ بَعۡضَ ٱلَّذِي نَعِدُهُمۡ أَوۡ نَتَوَفَّيَنَّكَ فَإِلَيۡنَا يُرۡجَعُونَ

Kale gumikiriza (ggwe Nabbi Muhammad) mazima endagaano ya Katonda ya mazima, kakibe nga ddala tukulaze ebimu kwebyo bye tubalaganyisa oba netukussaako okufa (nga tetubikulaze mu buli ngeri) bagenda kuzzibwa gyetuli

Verse 78

وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا رُسُلٗا مِّن قَبۡلِكَ مِنۡهُم مَّن قَصَصۡنَا عَلَيۡكَ وَمِنۡهُم مَّن لَّمۡ نَقۡصُصۡ عَلَيۡكَۗ وَمَا كَانَ لِرَسُولٍ أَن يَأۡتِيَ بِـَٔايَةٍ إِلَّا بِإِذۡنِ ٱللَّهِۚ فَإِذَا جَآءَ أَمۡرُ ٱللَّهِ قُضِيَ بِٱلۡحَقِّ وَخَسِرَ هُنَالِكَ ٱلۡمُبۡطِلُونَ

Mazima twatuma ababaka oluberyeberye lwo, mu bo mulimu betwakunyumizaako, era mu bo mulimu betutakunyumizaako, era Nabbi yenna yali tayinza kuleeta kya magero okugyako nga Katonda yasazeewo, kale nno ekigambo kya Katonda bwekirijja ensonga zirilamulwa mu mazima, era awo abonoonyi webalifafaganirwa

Verse 79

ٱللَّهُ ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلۡأَنۡعَٰمَ لِتَرۡكَبُواْ مِنۡهَا وَمِنۡهَا تَأۡكُلُونَ

Katonda ye yooyo eyabassizaawo ensolo ez’omumaka ezimu ku zo muzebagale era nga neezimu kwemulya

Verse 80

وَلَكُمۡ فِيهَا مَنَٰفِعُ وَلِتَبۡلُغُواْ عَلَيۡهَا حَاجَةٗ فِي صُدُورِكُمۡ وَعَلَيۡهَا وَعَلَى ٱلۡفُلۡكِ تُحۡمَلُونَ

Era mulina mu zo emigaso (emirala ng’ate mingi olwokuzikozesa), mutuukiriza ekyetaago kye mulina mu bifuba bya mmwe (ekyo kujjulula emigugu gya mmwe okuva ebunaayira), era nga musitulirwa ku zo ne ku maato

Verse 81

وَيُرِيكُمۡ ءَايَٰتِهِۦ فَأَيَّ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ تُنكِرُونَ

Era (bulijjo Katonda) abalaga obubonero bwe, kaakano bubonero ki obwa Katonda bwe muwakanya

Verse 82

أَفَلَمۡ يَسِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَيَنظُرُواْ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۚ كَانُوٓاْ أَكۡثَرَ مِنۡهُمۡ وَأَشَدَّ قُوَّةٗ وَءَاثَارٗا فِي ٱلۡأَرۡضِ فَمَآ أَغۡنَىٰ عَنۡهُم مَّا كَانُواْ يَكۡسِبُونَ

Abaffe tebatambulako mu nsi nebalala yali etya enkomerero yaabo ababakulembera, (abo) abaali babasinga obungi, nga babasinga amaanyi era nga be babasinza ne bye baaleka mu nsi, naye wabula tebyabagasa ebyo bye baakola

Verse 83

فَلَمَّا جَآءَتۡهُمۡ رُسُلُهُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِ فَرِحُواْ بِمَا عِندَهُم مِّنَ ٱلۡعِلۡمِ وَحَاقَ بِهِم مَّا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ

Anti ababaka baabwe bwe baabajjira n’obunnyonnyofu, baasigala basanyuka n’okumanya kwe baali balina ne bazingwako ebyo bye baali bajeeja

Verse 84

فَلَمَّا رَأَوۡاْ بَأۡسَنَا قَالُوٓاْ ءَامَنَّا بِٱللَّهِ وَحۡدَهُۥ وَكَفَرۡنَا بِمَا كُنَّا بِهِۦ مُشۡرِكِينَ

Bwe baalaba obukambwe bwe bibonerezo byaffe nebagamba nti tukkiriza Katonda yekka era netuwakanya ebyo byonna bye twali tumugattako

Verse 85

فَلَمۡ يَكُ يَنفَعُهُمۡ إِيمَٰنُهُمۡ لَمَّا رَأَوۡاْ بَأۡسَنَاۖ سُنَّتَ ٱللَّهِ ٱلَّتِي قَدۡ خَلَتۡ فِي عِبَادِهِۦۖ وَخَسِرَ هُنَالِكَ ٱلۡكَٰفِرُونَ

Okukkiriza kwabwe tekwali kwa kubagasa (okwo kwe balangirira), bwe baamala okulaba obukambwe bwe bibonerezo byaffe (era nga eyo) yenkola ya Katonda eyo ezze ekola mu baddu be, era (ebibonerezo bya Katonda bwe bitandika okussibwa mu nkola) abakafiiri awo wennyini baba bamaze okufafaaganirwa (ne bwekuba kwenenya kuba tekukyakkirizibwa)

Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! •