Home

Ad-Dukhan

الدخان

Translation by Sheikh Abdul Razak Matovu

Surah 44

بِسْمِ اللَّهِ الرَّحْمَٰنِ الرَّحِيمِ

Verse 1

حمٓ

Ha Miim

Verse 2

وَٱلۡكِتَٰبِ ٱلۡمُبِينِ

Ndayidde ekitabo (Kur’ani) ekinnyonnyofu

Verse 3

إِنَّآ أَنزَلۡنَٰهُ فِي لَيۡلَةٖ مُّبَٰرَكَةٍۚ إِنَّا كُنَّا مُنذِرِينَ

Mazima ffe twakissa mu kiro ekyomukisa (anti) mazima ffe twali tulina okutiisa (abantu)

Verse 4

فِيهَا يُفۡرَقُ كُلُّ أَمۡرٍ حَكِيمٍ

Mu kyo (ekiro) mwekigerekerwa buli kigambo ekiba kisaliddwawo

Verse 5

أَمۡرٗا مِّنۡ عِندِنَآۚ إِنَّا كُنَّا مُرۡسِلِينَ

Nga kwo kusalawo okuva gye tuli (anti) mazima ffe twali tuteekwa okutuma ababaka

Verse 6

رَحۡمَةٗ مِّن رَّبِّكَۚ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ

(Ekyokutuma ababaka) kusaasira okuva ewa Mukama omulabirizi wo (anti) mazima yye yawulira ennyo amanyi ennyo

Verse 7

رَبِّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَآۖ إِن كُنتُم مُّوقِنِينَ

(Yye Katonda) ye Mukama omulabirizi we ggulu omusanvu ne nsi nebyo ebiri wakati wa byombi, bwe muba muli bakkiriza abannamaddala

Verse 8

لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ يُحۡيِۦ وَيُمِيتُۖ رَبُّكُمۡ وَرَبُّ ءَابَآئِكُمُ ٱلۡأَوَّلِينَ

Tewali kirina kusinzibwa okugyako yye, awa obulamu era yabujjawo. Mukama omulabirizi wa mmwe era omulabirizi wa bakadde ba mmwe abasooka

Verse 9

بَلۡ هُمۡ فِي شَكّٖ يَلۡعَبُونَ

Wabula bo (abatakkiriza) bali mu kubuusabuusa, bazannya

Verse 10

فَٱرۡتَقِبۡ يَوۡمَ تَأۡتِي ٱلسَّمَآءُ بِدُخَانٖ مُّبِينٖ

Kale lindirira olunaku eggulu lweririreeta omukka omweyolefu (ogulabwa buli omu)

Verse 11

يَغۡشَى ٱلنَّاسَۖ هَٰذَا عَذَابٌ أَلِيمٞ

Gugenda kubikka abantu ekyo kiriba kibonerezo ekiruma ennyo

Verse 12

رَّبَّنَا ٱكۡشِفۡ عَنَّا ٱلۡعَذَابَ إِنَّا مُؤۡمِنُونَ

(Baligamba nti) ayi Mukama omulabirizi waffe tugyeko ekibonerezo, mazima ffe tukkirizza

Verse 13

أَنَّىٰ لَهُمُ ٱلذِّكۡرَىٰ وَقَدۡ جَآءَهُمۡ رَسُولٞ مُّبِينٞ

Naye wwa gye baliggya okujjukira (batuuke okwebuulirira) ate nga mazima omubaka annyonnyola obulungi yabajjira

Verse 14

ثُمَّ تَوَلَّوۡاْ عَنۡهُ وَقَالُواْ مُعَلَّمٞ مَّجۡنُونٌ

Oluvannnyuma ate ne bamuvaako, era nebagamba nti (Muhmmad) ayigirizibwa buyigirizibwa era mulalu

Verse 15

إِنَّا كَاشِفُواْ ٱلۡعَذَابِ قَلِيلًاۚ إِنَّكُمۡ عَآئِدُونَ

Mazima ffe tujja kuggyawo ekibonerezo katono (wabula) mazima mmwe mujja kuddayo (mu butakkiriza bwa mmwe)

Verse 16

يَوۡمَ نَبۡطِشُ ٱلۡبَطۡشَةَ ٱلۡكُبۡرَىٰٓ إِنَّا مُنتَقِمُونَ

(Wabula bajjukize) olunaku lwe tulikwata olukwata olwamaanyi (anti) mazima ffe tuli ba kubonereza

Verse 17

۞وَلَقَدۡ فَتَنَّا قَبۡلَهُمۡ قَوۡمَ فِرۡعَوۡنَ وَجَآءَهُمۡ رَسُولٞ كَرِيمٌ

Era mazima twageseza oluberyeberye lwabwe abantu ba Firawo, era nga yabajjira omubaka owekitiibwa

Verse 18

أَنۡ أَدُّوٓاْ إِلَيَّ عِبَادَ ٱللَّهِۖ إِنِّي لَكُمۡ رَسُولٌ أَمِينٞ

(Naagamba nti) munzirize abaddu ba Katonda (anti) mazima nze ndi mubaka omwesigwa

Verse 19

وَأَن لَّا تَعۡلُواْ عَلَى ٱللَّهِۖ إِنِّيٓ ءَاتِيكُم بِسُلۡطَٰنٖ مُّبِينٖ

Era (ekyokubiri) mu be nga temwekuluntaza ku Katonda, mazima nze mbaleetedde obujulizi obwolwatu

Verse 20

وَإِنِّي عُذۡتُ بِرَبِّي وَرَبِّكُمۡ أَن تَرۡجُمُونِ

Era mazima nze nsaba obukuumi ewa Mukama omulabirizi wange era Mukama omulabirizi wa mmwe muleme kunkuba mayinja

Verse 21

وَإِن لَّمۡ تُؤۡمِنُواْ لِي فَٱعۡتَزِلُونِ

Bwe munaaba temukkiriza byengamba kale mundeke (temuntusaako kabi)

Verse 22

فَدَعَا رَبَّهُۥٓ أَنَّ هَـٰٓؤُلَآءِ قَوۡمٞ مُّجۡرِمُونَ

(Wabula bamukijjanya) olwo nno nakowoola Mukama omulabirizi we nti mazima abo bantu bonoonyi

Verse 23

فَأَسۡرِ بِعِبَادِي لَيۡلًا إِنَّكُم مُّتَّبَعُونَ

(Katonda naamulagira nti) tambula ekiro na baddu bange anti mazima mmwe mujja kuwonderwa

Verse 24

وَٱتۡرُكِ ٱلۡبَحۡرَ رَهۡوًاۖ إِنَّهُمۡ جُندٞ مُّغۡرَقُونَ

(Bwomala okusomoka ggwe ne booli nabo) ennyanja gireke ng’erimu ekkubo (anti) mazima bbo, ggye lyakuzikirizibwa

Verse 25

كَمۡ تَرَكُواْ مِن جَنَّـٰتٖ وَعُيُونٖ

Amalimiro ne nsulo z’amazzi bimeka bye baaleka

Verse 26

وَزُرُوعٖ وَمَقَامٖ كَرِيمٖ

N’ebimera, n’ebifo ebye bitiibwa

Verse 27

وَنَعۡمَةٖ كَانُواْ فِيهَا فَٰكِهِينَ

Nebyengera ebirala bingi bye baali beyagaliramu

Verse 28

كَذَٰلِكَۖ وَأَوۡرَثۡنَٰهَا قَوۡمًا ءَاخَرِينَ

Bwekityo (bwekyali nebaggwawo) netubisikiza abantu abalala

Verse 29

فَمَا بَكَتۡ عَلَيۡهِمُ ٱلسَّمَآءُ وَٱلۡأَرۡضُ وَمَا كَانُواْ مُنظَرِينَ

Eggulu ne nsi tebyabakaabira era tebaali ba kulindirizibwa (nti baweebwe akaseera beenenye)

Verse 30

وَلَقَدۡ نَجَّيۡنَا بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ مِنَ ٱلۡعَذَابِ ٱلۡمُهِينِ

Era ddala twawonya abaana ba Israil ebibonyoobonyo ebinyoomesa

Verse 31

مِن فِرۡعَوۡنَۚ إِنَّهُۥ كَانَ عَالِيٗا مِّنَ ٱلۡمُسۡرِفِينَ

(Bwe twabawonya) Firawo anti mazima yye yali mwekuza era nga wa mu bonoonyi ennyo

Verse 32

وَلَقَدِ ٱخۡتَرۡنَٰهُمۡ عَلَىٰ عِلۡمٍ عَلَى ٱلۡعَٰلَمِينَ

Okusinziira ku kumanya (kwaffe) twabasukkulumya (abaana ba Israil) ku bitonde ebirala

Verse 33

وَءَاتَيۡنَٰهُم مِّنَ ٱلۡأٓيَٰتِ مَا فِيهِ بَلَـٰٓؤٞاْ مُّبِينٌ

Era netubawa ebya magero ebyo ebyalimu okugesezebwa okwolwatu

Verse 34

إِنَّ هَـٰٓؤُلَآءِ لَيَقُولُونَ

Mazima abo (abakafiiri bo mu Makkah) ddala bagamba nti

Verse 35

إِنۡ هِيَ إِلَّا مَوۡتَتُنَا ٱلۡأُولَىٰ وَمَا نَحۡنُ بِمُنشَرِينَ

Tewali kiriwo okugyako okufa kwaffe okusooka, era tetuli ba kuzuukizibwa

Verse 36

فَأۡتُواْ بِـَٔابَآئِنَآ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ

(Okuzuukira bwekuba nga gye kuli) kale muleete bakadde baffe bwe muba nga mwogera mazima

Verse 37

أَهُمۡ خَيۡرٌ أَمۡ قَوۡمُ تُبَّعٖ وَٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡ أَهۡلَكۡنَٰهُمۡۚ إِنَّهُمۡ كَانُواْ مُجۡرِمِينَ

Abaffe bo be basinga obulungi oba abantu ba Tubbai (bantu be Saba-a abafuzi be Yamani) n'abo abaaliwo oluberyeberye lwabwe (bonna) twabazikiriza (anti) mazima bo baali bonoonyi

Verse 38

وَمَا خَلَقۡنَا ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَمَا بَيۡنَهُمَا لَٰعِبِينَ

Tetwatonda eggulu omusanvu ne nsi nebyo ebiri wakati wa byombi nga tuzannya

Verse 39

مَا خَلَقۡنَٰهُمَآ إِلَّا بِٱلۡحَقِّ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ

Era tetwabitonda byombi wabula ku lwa nsonga, naye ddala abasinga obungi ku bo tebamanyi

Verse 40

إِنَّ يَوۡمَ ٱلۡفَصۡلِ مِيقَٰتُهُمۡ أَجۡمَعِينَ

Mazima olunaku lwokusalawo bonna kye kiseera kyabwe ekya balaganyisibwa

Verse 41

يَوۡمَ لَا يُغۡنِي مَوۡلًى عَن مَّوۡلٗى شَيۡـٔٗا وَلَا هُمۡ يُنصَرُونَ

Olunaku owomukwano lwa taligasa wa mukwano kintu kyonna, era bo tebagenda kudduukirirwa

Verse 42

إِلَّا مَن رَّحِمَ ٱللَّهُۚ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ

Okugyako oyo Katonda gwalisaasira anti mazima yye (Katonda) ye nantakubwa ku mukono omusaasizi ennyo

Verse 43

إِنَّ شَجَرَتَ ٱلزَّقُّومِ

Mazima omuti (oguyitibwa) Zakkuumi

Verse 44

طَعَامُ ٱلۡأَثِيمِ

Ye mmere ya bonoonyi

Verse 45

كَٱلۡمُهۡلِ يَغۡلِي فِي ٱلۡبُطُونِ

(Obubi bwagwo ng’omuntu agulidde) guli nga ekyuma ekisaanuuse, gulyeserera mu mbuto (z’abaligulya)

Verse 46

كَغَلۡيِ ٱلۡحَمِيمِ

Nga okwesera kwa mazzi agakyamuse

Verse 47

خُذُوهُ فَٱعۡتِلُوهُ إِلَىٰ سَوَآءِ ٱلۡجَحِيمِ

(Olwo nno Katonda aliragira ba Malayika nti) mumukwate (omwonoonyi) olwo nno mu muwalule mu mukasuke mu makkati g’omuliro Jahiimu

Verse 48

ثُمَّ صُبُّواْ فَوۡقَ رَأۡسِهِۦ مِنۡ عَذَابِ ٱلۡحَمِيمِ

Oluvanyuma mufukirire waggulu ku mutwegwe ekibonerezo eky’amazzi ageeseze (agogeddwako)

Verse 49

ذُقۡ إِنَّكَ أَنتَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡكَرِيمُ

(Bali mugamba) loza (ku kibonerezo anti) mazima ddala gwe gwe wamanyi owekitiibwa (nga bamukudaalira)

Verse 50

إِنَّ هَٰذَا مَا كُنتُم بِهِۦ تَمۡتَرُونَ

Mazima kino kyekyo kye mwali mutankana

Verse 51

إِنَّ ٱلۡمُتَّقِينَ فِي مَقَامٍ أَمِينٖ

Mazima abatya (Katonda) baliba mu kifo ekyeddembe

Verse 52

فِي جَنَّـٰتٖ وَعُيُونٖ

Baliba mu malimiro n’amazzi ag'ensulo

Verse 53

يَلۡبَسُونَ مِن سُندُسٖ وَإِسۡتَبۡرَقٖ مُّتَقَٰبِلِينَ

Baliyambala engoye ezaliiri omuwewufu n’omuzito, nga batudde batunuuliganye

Verse 54

كَذَٰلِكَ وَزَوَّجۡنَٰهُم بِحُورٍ عِينٖ

Bwekityo (bwe kiriba) era tuli bafumbiza ababeezi ab’amaaso amanene

Verse 55

يَدۡعُونَ فِيهَا بِكُلِّ فَٰكِهَةٍ ءَامِنِينَ

Balisaba nga bali mu yo buli kibala nga bali mirembe

Verse 56

لَا يَذُوقُونَ فِيهَا ٱلۡمَوۡتَ إِلَّا ٱلۡمَوۡتَةَ ٱلۡأُولَىٰۖ وَوَقَىٰهُمۡ عَذَابَ ٱلۡجَحِيمِ

Nga bali mu yo tebalikomba ku kufa nga ogyeko okufa okwasooka, era ali bawonya ebibonerezo ebyomuliro Jahiimu

Verse 57

فَضۡلٗا مِّن رَّبِّكَۚ ذَٰلِكَ هُوَ ٱلۡفَوۡزُ ٱلۡعَظِيمُ

(Byonna) nga bigabwa ebiva ewa Mukama omulabirizi wo, okwo kwe kwesiima okusuffu

Verse 58

فَإِنَّمَا يَسَّرۡنَٰهُ بِلِسَانِكَ لَعَلَّهُمۡ يَتَذَكَّرُونَ

Era ddala twagyanguya (Kur’ani) ku lulimi lwo babe nga bebuulira (nayo)

Verse 59

فَٱرۡتَقِبۡ إِنَّهُم مُّرۡتَقِبُونَ

Kale lindirira mazima ddala bo balindiridde

Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! •