Home

Al-Jathiyah

الجاثية

Translation by Sheikh Abdul Razak Matovu

Surah 45

بِسْمِ اللَّهِ الرَّحْمَٰنِ الرَّحِيمِ

Verse 1

حمٓ

Ha Mim

Verse 2

تَنزِيلُ ٱلۡكِتَٰبِ مِنَ ٱللَّهِ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡحَكِيمِ

Okussa kwe kitabo (Kur’ani) kyava wa Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga

Verse 3

إِنَّ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ لَأٓيَٰتٖ لِّلۡمُؤۡمِنِينَ

Mazima mu (ggulu omusanvu n'ensi mulimu obubonero obwenkukunala (obulaga obuyinza bwa Katonda) eri abakkiriza

Verse 4

وَفِي خَلۡقِكُمۡ وَمَا يَبُثُّ مِن دَآبَّةٍ ءَايَٰتٞ لِّقَوۡمٖ يُوقِنُونَ

Era ne mu kutondebwa kwa mmwe, neebyo byasasaanya mu bitambulira (ku nsi) bubonero eri abantu abakakasa (okubeerawo kwa Katonda n’obuyinza bwe)

Verse 5

وَٱخۡتِلَٰفِ ٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِ وَمَآ أَنزَلَ ٱللَّهُ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مِن رِّزۡقٖ فَأَحۡيَا بِهِ ٱلۡأَرۡضَ بَعۡدَ مَوۡتِهَا وَتَصۡرِيفِ ٱلرِّيَٰحِ ءَايَٰتٞ لِّقَوۡمٖ يَعۡقِلُونَ

N’okwawukana kw'ekiro n’emisana nebyo Katonda byassa okuva waggulu (enkuba) mu bigabwabye naalamusa nabyo ensi olubvannyuma lw'okufa kwayo, n'okutambuza empewo bubonero eri abantu abategeera

Verse 6

تِلۡكَ ءَايَٰتُ ٱللَّهِ نَتۡلُوهَا عَلَيۡكَ بِٱلۡحَقِّۖ فَبِأَيِّ حَدِيثِۭ بَعۡدَ ٱللَّهِ وَءَايَٰتِهِۦ يُؤۡمِنُونَ

Ebigambo bya Katonda ebyo (ebiraga obubonero bwe) tubikusomera mu butuufu, olwo bigambo ki oluvanyuma lwo kuwakanya Katonda n’ebigambo bye bye balikkiriza

Verse 7

وَيۡلٞ لِّكُلِّ أَفَّاكٍ أَثِيمٖ

Okubonabona kuli ku buli omuyitirivu w’okulimba omwonoonyi

Verse 8

يَسۡمَعُ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِ ثُمَّ يُصِرُّ مُسۡتَكۡبِرٗا كَأَن لَّمۡ يَسۡمَعۡهَاۖ فَبَشِّرۡهُ بِعَذَابٍ أَلِيمٖ

Awulira ebigambo bya Katonda nga bimusomerwa oluvanyuma naakalambira nga yeekuluntaza ng'alinga atabiwulidde, kale musanyuse nga (omuwa amawulire) g’ebibonerezo ebiruma ennyo

Verse 9

وَإِذَا عَلِمَ مِنۡ ءَايَٰتِنَا شَيۡـًٔا ٱتَّخَذَهَا هُزُوًاۚ أُوْلَـٰٓئِكَ لَهُمۡ عَذَابٞ مُّهِينٞ

Bwamanya ekintu kyonna mu bigambo byaffe akifuula kya kujeeja, abo balina ebibonerezo ebinyoomesa

Verse 10

مِّن وَرَآئِهِمۡ جَهَنَّمُۖ وَلَا يُغۡنِي عَنۡهُم مَّا كَسَبُواْ شَيۡـٔٗا وَلَا مَا ٱتَّخَذُواْ مِن دُونِ ٱللَّهِ أَوۡلِيَآءَۖ وَلَهُمۡ عَذَابٌ عَظِيمٌ

Mumaaso gaabwe omuliro Jahannama gubalinze era bye bakola tebigenda kubagasa kintu kyonna wadde ab’emikwano bebeteerawo nebava ku Katonda era balina ebibonerezo ebisuffu

Verse 11

هَٰذَا هُدٗىۖ وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِـَٔايَٰتِ رَبِّهِمۡ لَهُمۡ عَذَابٞ مِّن رِّجۡزٍ أَلِيمٌ

(Kur’ani) eno, kyakulungamya. era abo abawakanya ebigambo bya Mukama omulabirizi waabwe balina ebibonerezo ebimu kwebyo ebikambwe ebiruma ennyo

Verse 12

۞ٱللَّهُ ٱلَّذِي سَخَّرَ لَكُمُ ٱلۡبَحۡرَ لِتَجۡرِيَ ٱلۡفُلۡكُ فِيهِ بِأَمۡرِهِۦ وَلِتَبۡتَغُواْ مِن فَضۡلِهِۦ وَلَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ

Katonda yooyo eyabagondeza ennyanja, amaato gabe nga gatambulira ku yo olwekiragiro kye, era mube nga musobola okunoonya mu bigabwa bye, era musobole okwebaza

Verse 13

وَسَخَّرَ لَكُم مَّا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِ جَمِيعٗا مِّنۡهُۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يَتَفَكَّرُونَ

Era yabagondeza ebyo ebiri mu ggulu omusanvu nebyo ebiri mu nsi, nga byonna biva gyali. Mazima mwekyo mulimu obubonero (obulaga okubaayo kwa Katonda n’obuyinza bwe) eri abantu abafumitiriza

Verse 14

قُل لِّلَّذِينَ ءَامَنُواْ يَغۡفِرُواْ لِلَّذِينَ لَا يَرۡجُونَ أَيَّامَ ٱللَّهِ لِيَجۡزِيَ قَوۡمَۢا بِمَا كَانُواْ يَكۡسِبُونَ

Gamba abo abakkiriza basonyiwe abo abatasuubira (kusisinkana) naku za Katonda, alyoke asasule abantu olwebyo bye bakola

Verse 15

مَنۡ عَمِلَ صَٰلِحٗا فَلِنَفۡسِهِۦۖ وَمَنۡ أَسَآءَ فَعَلَيۡهَاۖ ثُمَّ إِلَىٰ رَبِّكُمۡ تُرۡجَعُونَ

Oyo akola emirimu emirungi akolera mwoyo gwe, ate oyo ayonoona (akabi k'okwonoona kwe) kadda eri mwoyo gwe, oluvanyuma eri Mukama omulabiririz wa mmwe gye mulizzibwa

Verse 16

وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحُكۡمَ وَٱلنُّبُوَّةَ وَرَزَقۡنَٰهُم مِّنَ ٱلطَّيِّبَٰتِ وَفَضَّلۡنَٰهُمۡ عَلَى ٱلۡعَٰلَمِينَ

Mazima twawa abaana ba Israil ekitabo n’okulamula wakati wa bantu n’obwa Nabbi netubagabirira ebirungi era netubasukkulumya ku bantu abalala (abaaliwo ku mulembe gwabwe)

Verse 17

وَءَاتَيۡنَٰهُم بَيِّنَٰتٖ مِّنَ ٱلۡأَمۡرِۖ فَمَا ٱخۡتَلَفُوٓاْ إِلَّا مِنۢ بَعۡدِ مَا جَآءَهُمُ ٱلۡعِلۡمُ بَغۡيَۢا بَيۡنَهُمۡۚ إِنَّ رَبَّكَ يَقۡضِي بَيۡنَهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ فِيمَا كَانُواْ فِيهِ يَخۡتَلِفُونَ

Era twabawa obunnyonnyofu bwe kigambo (ekikwata ku kutumwa kwa Nabbi Muhammad) olwo nno tebayawukana okugyako luvannyuma lwa kumanya kubajjira (nga ekyo baakikola) olwo bukyayi obwali wakati waabwe, mazima Mukama omulabirizi wo agenda kulamula wakati waabwe ku lunaku lw’enkomerero mwebyo bye bayawukanangamu

Verse 18

ثُمَّ جَعَلۡنَٰكَ عَلَىٰ شَرِيعَةٖ مِّنَ ٱلۡأَمۡرِ فَٱتَّبِعۡهَا وَلَا تَتَّبِعۡ أَهۡوَآءَ ٱلَّذِينَ لَا يَعۡلَمُونَ

Oluvanyuma twakussa (ggwe Muhammad) ku nkola ennambulukufu ku kigambo kye (ddiini) kale gigoberere, era togoberera okwagala kwabo abatamanyi

Verse 19

إِنَّهُمۡ لَن يُغۡنُواْ عَنكَ مِنَ ٱللَّهِ شَيۡـٔٗاۚ وَإِنَّ ٱلظَّـٰلِمِينَ بَعۡضُهُمۡ أَوۡلِيَآءُ بَعۡضٖۖ وَٱللَّهُ وَلِيُّ ٱلۡمُتَّقِينَ

Anti mazima bo tebayinza kukuyamba kintu kyonna kukutaasa Katonda, era mazima abeeyisa obubi abamu mu bo banywanyi ba bannaabwe, naye Katonda ye munywanyi w'abamutya

Verse 20

هَٰذَا بَصَـٰٓئِرُ لِلنَّاسِ وَهُدٗى وَرَحۡمَةٞ لِّقَوۡمٖ يُوقِنُونَ

Eno (Kur’ani) mumuli eri abantu, era bulungamu na kusaasira eri abantu abatya Katonda abannamaddala

Verse 21

أَمۡ حَسِبَ ٱلَّذِينَ ٱجۡتَرَحُواْ ٱلسَّيِّـَٔاتِ أَن نَّجۡعَلَهُمۡ كَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ سَوَآءٗ مَّحۡيَاهُمۡ وَمَمَاتُهُمۡۚ سَآءَ مَا يَحۡكُمُونَ

Abaffe oba abo abeewerebye ebibi basuubira nti tuyinza okubafuula nga abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu nga obulamu bwabwe n’okufa kwabwe bifaanana (nedda) okulamula kwabwe kubi

Verse 22

وَخَلَقَ ٱللَّهُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ بِٱلۡحَقِّ وَلِتُجۡزَىٰ كُلُّ نَفۡسِۭ بِمَا كَسَبَتۡ وَهُمۡ لَا يُظۡلَمُونَ

Era Katonda yakola eggulu ne nsi mu butuufu era buli mwoyo gulyoke gube nga gusasulwa olwebyo, bye gwakola era bo si bakulyazamanyizibwa

Verse 23

أَفَرَءَيۡتَ مَنِ ٱتَّخَذَ إِلَٰهَهُۥ هَوَىٰهُ وَأَضَلَّهُ ٱللَّهُ عَلَىٰ عِلۡمٖ وَخَتَمَ عَلَىٰ سَمۡعِهِۦ وَقَلۡبِهِۦ وَجَعَلَ عَلَىٰ بَصَرِهِۦ غِشَٰوَةٗ فَمَن يَهۡدِيهِ مِنۢ بَعۡدِ ٱللَّهِۚ أَفَلَا تَذَكَّرُونَ

Abaffe olabye oyo okwagalakwe nga kwafuula Katonda we, Katonda naamubuza awamu n’okuba nti (omuntu oyo) amanyi ekituufu era naazibikira amatuuge n'omutimagwe, era nassa ku maasoge ekibikka, olwo nno ate ani ayinza okumulungamya oluvanyuma lwa Katonda (okumutusa awo), abaffe temwebulirira

Verse 24

وَقَالُواْ مَا هِيَ إِلَّا حَيَاتُنَا ٱلدُّنۡيَا نَمُوتُ وَنَحۡيَا وَمَا يُهۡلِكُنَآ إِلَّا ٱلدَّهۡرُۚ وَمَا لَهُم بِذَٰلِكَ مِنۡ عِلۡمٍۖ إِنۡ هُمۡ إِلَّا يَظُنُّونَ

Era (abakafiiri) bagamba nti (obulamu) tebuli okugyako obulamu bwaffe obw'okunsi, tufa era netuba balamu, tewali kituggya mu bulamu okugyako myaka (gya muntu) kuggwako, naye nga tebalina kumanya kwonna ku kikwatako, tebali bo okugyako bateebereza buteebereza

Verse 25

وَإِذَا تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتُنَا بَيِّنَٰتٖ مَّا كَانَ حُجَّتَهُمۡ إِلَّآ أَن قَالُواْ ٱئۡتُواْ بِـَٔابَآئِنَآ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ

Ebigambo byaffe bwe bibasomerwa mu bunnyonnyofu (bwabyo), ekyekwaso kyabwe tekiba okugyako bagamba (bweba nga eriyo okuzuukira kale) mukomyewo bakadde baffe (abaafa) mwemuba mwogera mazima

Verse 26

قُلِ ٱللَّهُ يُحۡيِيكُمۡ ثُمَّ يُمِيتُكُمۡ ثُمَّ يَجۡمَعُكُمۡ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ لَا رَيۡبَ فِيهِ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَعۡلَمُونَ

Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti Katonda y'abawa obulamu oluvanyuma nabatta ate oluvanyuma agenda kubakungaanya nga batwala eri olunaku lw’enkomerero teruliimu kubuusabuusa naye abantu abasinga obungi tebamanyi

Verse 27

وَلِلَّهِ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ وَيَوۡمَ تَقُومُ ٱلسَّاعَةُ يَوۡمَئِذٖ يَخۡسَرُ ٱلۡمُبۡطِلُونَ

Bwa Katonda yekka obufuzi bwe ggulu omusanvu ne nsi, era era bubwe olunaku lw’enkomerero lwelituuka, olunaku olwo abonoonyi balifafaganirwa

Verse 28

وَتَرَىٰ كُلَّ أُمَّةٖ جَاثِيَةٗۚ كُلُّ أُمَّةٖ تُدۡعَىٰٓ إِلَىٰ كِتَٰبِهَا ٱلۡيَوۡمَ تُجۡزَوۡنَ مَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ

(Kwolwo) oliraba buli kibiina nga kifukamidde (olwokutya). Buli kibiina kiriyitibwa okugenda awali ekitabo kyakyo (ekyo ekirimu emirimu gyabwe era baligambibwa nti) olwaleero muli ba kusasulwa ebyo bye mwali mukola

Verse 29

هَٰذَا كِتَٰبُنَا يَنطِقُ عَلَيۡكُم بِٱلۡحَقِّۚ إِنَّا كُنَّا نَسۡتَنسِخُ مَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ

(Era baligambibwa nti) ekitabo kyaffe kino kiboogerako mu mazima (anti) mazima ffe twawandikanga buli kye mwakolanga

Verse 30

فَأَمَّا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ فَيُدۡخِلُهُمۡ رَبُّهُمۡ فِي رَحۡمَتِهِۦۚ ذَٰلِكَ هُوَ ٱلۡفَوۡزُ ٱلۡمُبِينُ

Olwo nno abaakola emirimu emirongoofu Mukama omulabirizi waabwe ali bayingiza mu kusaasira kwe (era) ekyo kwe kwesiima okweyolefu

Verse 31

وَأَمَّا ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَفَلَمۡ تَكُنۡ ءَايَٰتِي تُتۡلَىٰ عَلَيۡكُمۡ فَٱسۡتَكۡبَرۡتُمۡ وَكُنتُمۡ قَوۡمٗا مُّجۡرِمِينَ

Ate abo abakafuwala (Katonda alibagamba nti) abaffe ebigambo byange tebyabasomerwa ne mwekuluntaza ne mubeera abantu abonoonyi

Verse 32

وَإِذَا قِيلَ إِنَّ وَعۡدَ ٱللَّهِ حَقّٞ وَٱلسَّاعَةُ لَا رَيۡبَ فِيهَا قُلۡتُم مَّا نَدۡرِي مَا ٱلسَّاعَةُ إِن نَّظُنُّ إِلَّا ظَنّٗا وَمَا نَحۡنُ بِمُسۡتَيۡقِنِينَ

Era bwe mwagambwanga nti ddala endagaano ya Katonda ya mazima era nti ekiseera ekyenkomerero tekiriimu kubuusabuusa, mwagamba nti ekiseera ekyenkomerero tetumanyi kye ki. (Ebikikwatako) tuwammanta biwammante, era ffe tetukirinaako bukakafu

Verse 33

وَبَدَا لَهُمۡ سَيِّـَٔاتُ مَا عَمِلُواْ وَحَاقَ بِهِم مَّا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ

Era (awo) obubi bwebyo bye bakola buli beeyoleka era biribebungulula ebibonerezo byebyo bye baali bajeeja

Verse 34

وَقِيلَ ٱلۡيَوۡمَ نَنسَىٰكُمۡ كَمَا نَسِيتُمۡ لِقَآءَ يَوۡمِكُمۡ هَٰذَا وَمَأۡوَىٰكُمُ ٱلنَّارُ وَمَا لَكُم مِّن نَّـٰصِرِينَ

Era baligambibwa nti olwaleero tubeerabidde nga bwe mwerabira okusisinkana olunaku lwa mmwe luno, era omuliro bwe butuulo bwa mmwe era temugenda kufuna badduukirize

Verse 35

ذَٰلِكُم بِأَنَّكُمُ ٱتَّخَذۡتُمۡ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ هُزُوٗا وَغَرَّتۡكُمُ ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَاۚ فَٱلۡيَوۡمَ لَا يُخۡرَجُونَ مِنۡهَا وَلَا هُمۡ يُسۡتَعۡتَبُونَ

Ekyo nno mmwe (ekibatuusaako) lwakuba nti mazima mmwe ebigambo bya Katonda mwabifuula bya kujeeja era obulamu bwe nsi ne bubagayaaza, n’olwekyo olwaleero si bakugujjibwamu (omuliro) era tebagenda kugambibwa kwetonda

Verse 36

فَلِلَّهِ ٱلۡحَمۡدُ رَبِّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَرَبِّ ٱلۡأَرۡضِ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

Ebitendo byonna bya Katonda Mukama omulabirizi we ggulu omusanvu, era Mukama omulabirizi we nsi, Mukama omulabirizi w’ebitonde byonna

Verse 37

وَلَهُ ٱلۡكِبۡرِيَآءُ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ

Ebitiibwa byonna mu ggulu omusanvu ne nsi bibye yekka, era yye, ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga

Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! •