Home

Al-Waqi'ah

الواقعة

Translation by Sheikh Abdul Razak Matovu

Surah 56

بِسْمِ اللَّهِ الرَّحْمَٰنِ الرَّحِيمِ

Verse 1

إِذَا وَقَعَتِ ٱلۡوَاقِعَةُ

Ekiseera ekitaliimu kubuusabuusa bwe kirituuka

Verse 2

لَيۡسَ لِوَقۡعَتِهَا كَاذِبَةٌ

Okutuuka kwakyo tekuliimu kubuusabuusa

Verse 3

خَافِضَةٞ رَّافِعَةٌ

Kirikakkanya (abeeyisa obubi era) kirisitula (abeeyisa obulungi)

Verse 4

إِذَا رُجَّتِ ٱلۡأَرۡضُ رَجّٗا

Ensi bwe rikankanyizibwa olukankana

Verse 5

وَبُسَّتِ ٱلۡجِبَالُ بَسّٗا

N'ensozi nezimerengulwa olumerengulwa

Verse 6

فَكَانَتۡ هَبَآءٗ مُّنۢبَثّٗا

Olwo nno nezifuuka enfuufu efumuuka

Verse 7

وَكُنتُمۡ أَزۡوَٰجٗا ثَلَٰثَةٗ

Era mmwe nemuba emitendera esatu

Verse 8

فَأَصۡحَٰبُ ٱلۡمَيۡمَنَةِ مَآ أَصۡحَٰبُ ٱلۡمَيۡمَنَةِ

Olwo nno newabaawo ogwa ba nannyini mukono ogwa ddyo, yye omanyi okubeera ku mukono ogwaddyo kye kitegeeza

Verse 9

وَأَصۡحَٰبُ ٱلۡمَشۡـَٔمَةِ مَآ أَصۡحَٰبُ ٱلۡمَشۡـَٔمَةِ

Era newabaawo n’ogwa ba nannyini mukono ogwa kkono, yye omanyi okubeera ku mukono ogwa kkono kye kitegeeza

Verse 10

وَٱلسَّـٰبِقُونَ ٱلسَّـٰبِقُونَ

Newabaawo n’ogwabo abaakulembera, abalikulembera mu buli kimu

Verse 11

أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلۡمُقَرَّبُونَ

Abo be bo kusembezebwa (ewa Katonda)

Verse 12

فِي جَنَّـٰتِ ٱلنَّعِيمِ

Nga bali mu jjana ez'ebyengera

Verse 13

ثُلَّةٞ مِّنَ ٱلۡأَوَّلِينَ

Bangi mu bibiina ebyasooka

Verse 14

وَقَلِيلٞ مِّنَ ٱلۡأٓخِرِينَ

Nabatono mu kibiina kya bantu abenkomerero (abekibiina kya Nabbi Muhammad)

Verse 15

عَلَىٰ سُرُرٖ مَّوۡضُونَةٖ

(Balibeera) ku bitanda ebyakolebwa mu zzaabu n'amayinja amalala agomuwendo

Verse 16

مُّتَّكِـِٔينَ عَلَيۡهَا مُتَقَٰبِلِينَ

Baliba bagalamidde ku byo nga boolekaganye (nga banyumya)

Verse 17

يَطُوفُ عَلَيۡهِمۡ وِلۡدَٰنٞ مُّخَلَّدُونَ

Abaweereza abalenzi, abolubeerera baliba babayitamu

Verse 18

بِأَكۡوَابٖ وَأَبَارِيقَ وَكَأۡسٖ مِّن مَّعِينٖ

Nga balina ebikopo, amabinika ne giraasi ebijjudde omubisi oguva mu nsulo

Verse 19

لَّا يُصَدَّعُونَ عَنۡهَا وَلَا يُنزِفُونَ

Tebagenda kulumwa mutwe olwagwo era tebagenda kutamiira

Verse 20

وَفَٰكِهَةٖ مِّمَّا يَتَخَيَّرُونَ

N’ebibala (ebye njawulo) mwebyo bye baliba nga basazeewo

Verse 21

وَلَحۡمِ طَيۡرٖ مِّمَّا يَشۡتَهُونَ

Ne nnyama y’ebinyonyi eyo gye baliyagala

Verse 22

وَحُورٌ عِينٞ

N'abakyala abalungi abamaaso agatemagana

Verse 23

كَأَمۡثَٰلِ ٱللُّؤۡلُوِٕ ٱلۡمَكۡنُونِ

Nga balinga Luulu akuumibwa obutiribiri

Verse 24

جَزَآءَۢ بِمَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ

(Ebyo byonna) nga mpeera yeebyo bye baali bakola (ebirungi ku nsi)

Verse 25

لَا يَسۡمَعُونَ فِيهَا لَغۡوٗا وَلَا تَأۡثِيمًا

Tebagenda kuwulira mu yo luyogaano wadde ebigambo ebyesittaza

Verse 26

إِلَّا قِيلٗا سَلَٰمٗا سَلَٰمٗا

Okugyako okugamba nti mirembe, mirembe

Verse 27

وَأَصۡحَٰبُ ٱلۡيَمِينِ مَآ أَصۡحَٰبُ ٱلۡيَمِينِ

Abantu bo ku mukono ogwa ddyo, abaffe omanyi abantu bo ku mukono ogwa ddyo baliba batya

Verse 28

فِي سِدۡرٖ مَّخۡضُودٖ

Balituula (mu bittuluze) by'emiti gya Sidiri atemeddwako amaggwa

Verse 29

وَطَلۡحٖ مَّنضُودٖ

N'ensuku ezirimu amatooke agaliko ebiwagu ebiberekaganye

Verse 30

وَظِلّٖ مَّمۡدُودٖ

N'ebisikirize ebigazi

Verse 31

وَمَآءٖ مَّسۡكُوبٖ

N'amazzi agakulukuta awatali kusalako

Verse 32

وَفَٰكِهَةٖ كَثِيرَةٖ

N'ebibala ebingi

Verse 33

لَّا مَقۡطُوعَةٖ وَلَا مَمۡنُوعَةٖ

Ebitaggwawo ate ebitatekebwako kkomo

Verse 34

وَفُرُشٖ مَّرۡفُوعَةٍ

N'ebyaliiro ebisuffu ebya waggulu

Verse 35

إِنَّآ أَنشَأۡنَٰهُنَّ إِنشَآءٗ

Mazima ffe twatonda abakyala bo mu jjana olutonda

Verse 36

فَجَعَلۡنَٰهُنَّ أَبۡكَارًا

Olwo nno twabatonda nga mbeerera

Verse 37

عُرُبًا أَتۡرَابٗا

Nga bulijjo baganzi eri ba bbaabwe nga tebakakiddwa

Verse 38

لِّأَصۡحَٰبِ ٱلۡيَمِينِ

Nga bo ba bantu abalibeera ku mukono ogwa ddyo

Verse 39

ثُلَّةٞ مِّنَ ٱلۡأَوَّلِينَ

Bangi mu bibiina ebyasooka

Verse 40

وَثُلَّةٞ مِّنَ ٱلۡأٓخِرِينَ

Era bangi mu kibiina kya bantu ab'enkomerero (ab’ekibiina kya Nabbi Muhammad)

Verse 41

وَأَصۡحَٰبُ ٱلشِّمَالِ مَآ أَصۡحَٰبُ ٱلشِّمَالِ

Ate abantu bo ku mukono ogwa kkono, abaffe omanyi abantu bo ku mukono ogwa kkono baliba batya

Verse 42

فِي سَمُومٖ وَحَمِيمٖ

Balibeera mu kibuyaga ayokya n’amazzi ageeseze

Verse 43

وَظِلّٖ مِّن يَحۡمُومٖ

Nga nebisikirize mwe balyewogoma, biriba bya mu mukka omuddugavu ogwokya

Verse 44

لَّا بَارِدٖ وَلَا كَرِيمٍ

Biriba tebinnyogoga era nga tebisanyusa

Verse 45

إِنَّهُمۡ كَانُواْ قَبۡلَ ذَٰلِكَ مُتۡرَفِينَ

Anti mazima bo oluberyeberye lwa kino baali baamalibwawo ebyo kwe jalabya

Verse 46

وَكَانُواْ يُصِرُّونَ عَلَى ٱلۡحِنثِ ٱلۡعَظِيمِ

Era baalemeranga ku kibi ekinene (bwe baalayiranga nti tewali kuzuukira)

Verse 47

وَكَانُواْ يَقُولُونَ أَئِذَا مِتۡنَا وَكُنَّا تُرَابٗا وَعِظَٰمًا أَءِنَّا لَمَبۡعُوثُونَ

Era baagamba nga nti bwetufa netufuuka ettaka, era netusigala ngumba gumba abaffe tulizuukizibwa

Verse 48

أَوَءَابَآؤُنَا ٱلۡأَوَّلُونَ

Ne bakadde baffe abasooka (nabo bwe batyo)

Verse 49

قُلۡ إِنَّ ٱلۡأَوَّلِينَ وَٱلۡأٓخِرِينَ

Bagambe ggwe (Nabbi Muhammad) nti mazima abasooka n'aboluvanyuma

Verse 50

لَمَجۡمُوعُونَ إِلَىٰ مِيقَٰتِ يَوۡمٖ مَّعۡلُومٖ

Ddala ba kukunganyizibwa ku lunaku olwasalibwawo olumanyiddwa

Verse 51

ثُمَّ إِنَّكُمۡ أَيُّهَا ٱلضَّآلُّونَ ٱلۡمُكَذِّبُونَ

Oluvanyuma mazima mmwe, abange mmwe ababuze abalimbisa

Verse 52

لَأٓكِلُونَ مِن شَجَرٖ مِّن زَقُّومٖ

Ddala mugenda kulya ku muti gwa zakkumu

Verse 53

فَمَالِـُٔونَ مِنۡهَا ٱلۡبُطُونَ

Nulijjuza nagwo embuto (gujjuze embuto zammwe)

Verse 54

فَشَٰرِبُونَ عَلَيۡهِ مِنَ ٱلۡحَمِيمِ

Olwo nno munywereko amazzi ageeseze

Verse 55

فَشَٰرِبُونَ شُرۡبَ ٱلۡهِيمِ

Mugenda kunywa ng'ennywa ye ngamiya erina ennyonta

Verse 56

هَٰذَا نُزُلُهُمۡ يَوۡمَ ٱلدِّينِ

Obwo bwe buliba obugenyi bwabwe ku lunaku lwo kusasula

Verse 57

نَحۡنُ خَلَقۡنَٰكُمۡ فَلَوۡلَا تُصَدِّقُونَ

Ffe twabatonda, kale singa mukkiriza (okusinziira kwekyo)

Verse 58

أَفَرَءَيۡتُم مَّا تُمۡنُونَ

Abaffe mulaba amazzi (agazaala) ge muteeka mu nnabaana

Verse 59

ءَأَنتُمۡ تَخۡلُقُونَهُۥٓ أَمۡ نَحۡنُ ٱلۡخَٰلِقُونَ

Abaffe mmwe mugatonda oba ffe batonzi

Verse 60

نَحۡنُ قَدَّرۡنَا بَيۡنَكُمُ ٱلۡمَوۡتَ وَمَا نَحۡنُ بِمَسۡبُوقِينَ

Ffe twagera netussa wakati wa mmwe okufa, (netubakakasaako okufa) era tetuli ffe ba kulemesebwa

Verse 61

عَلَىٰٓ أَن نُّبَدِّلَ أَمۡثَٰلَكُمۡ وَنُنشِئَكُمۡ فِي مَا لَا تَعۡلَمُونَ

Okuba nga tuwaanyisa abalinga mmwe (mu mmwe) olwo nno mmwe, netubakolamu ebirala bye mutamanyi

Verse 62

وَلَقَدۡ عَلِمۡتُمُ ٱلنَّشۡأَةَ ٱلۡأُولَىٰ فَلَوۡلَا تَذَكَّرُونَ

Ate nga ddala mwamanya entandikwa eyasooka (engeri Katonda gye yabatondamu) kale singa mwebulirira

Verse 63

أَفَرَءَيۡتُم مَّا تَحۡرُثُونَ

Abaffe mulaba ebyo bye mulima

Verse 64

ءَأَنتُمۡ تَزۡرَعُونَهُۥٓ أَمۡ نَحۡنُ ٱلزَّـٰرِعُونَ

Abaffe mmwe mubimeza oba ffe tumeza

Verse 65

لَوۡ نَشَآءُ لَجَعَلۡنَٰهُ حُطَٰمٗا فَظَلۡتُمۡ تَفَكَّهُونَ

Singa twagadde tusobola okubifuula ebikaze nemusigala nga mwewunaganya

Verse 66

إِنَّا لَمُغۡرَمُونَ

(Nga mugamba nti) mazima ffe tetufunye ate nga tubanjibwa

Verse 67

بَلۡ نَحۡنُ مَحۡرُومُونَ

(Si kye kyokka) wabula ffe tummiddwa

Verse 68

أَفَرَءَيۡتُمُ ٱلۡمَآءَ ٱلَّذِي تَشۡرَبُونَ

Abaffe mulaba amazzi ago gemunywa

Verse 69

ءَأَنتُمۡ أَنزَلۡتُمُوهُ مِنَ ٱلۡمُزۡنِ أَمۡ نَحۡنُ ٱلۡمُنزِلُونَ

Mwe mugassa okuva mu bire oba ffe tugassa

Verse 70

لَوۡ نَشَآءُ جَعَلۡنَٰهُ أُجَاجٗا فَلَوۡلَا تَشۡكُرُونَ

Singa twagadde twaligafudde olukalabule kale singa mwebaza (Katonda olwo kugafuula amalungi)

Verse 71

أَفَرَءَيۡتُمُ ٱلنَّارَ ٱلَّتِي تُورُونَ

Abaffe mulaba omuliro ogwo gwe mukuma

Verse 72

ءَأَنتُمۡ أَنشَأۡتُمۡ شَجَرَتَهَآ أَمۡ نَحۡنُ ٱلۡمُنشِـُٔونَ

Abaffe mmwe mwatandikawo omuti gwagwo, oba ffe twagutandika

Verse 73

نَحۡنُ جَعَلۡنَٰهَا تَذۡكِرَةٗ وَمَتَٰعٗا لِّلۡمُقۡوِينَ

Ffe twagufuula kya kujjukiza, era nga gwa mugaso eri abatambuze (abataba na byoto bibakumira muliro)

Verse 74

فَسَبِّحۡ بِٱسۡمِ رَبِّكَ ٱلۡعَظِيمِ

Kale tendereza erinnya lya Mukama omulabirizi wo owekitiibwa

Verse 75

۞فَلَآ أُقۡسِمُ بِمَوَٰقِعِ ٱلنُّجُومِ

Tewali kingaana kulayira bifo bya munyeenye

Verse 76

وَإِنَّهُۥ لَقَسَمٞ لَّوۡ تَعۡلَمُونَ عَظِيمٌ

Era mazima kwo ddala kulayira kunene singa mubadde mumanyi

Verse 77

إِنَّهُۥ لَقُرۡءَانٞ كَرِيمٞ

Okuba nti ddala yo Kur’ani yakitiibwa

Verse 78

فِي كِتَٰبٖ مَّكۡنُونٖ

Eri mu kitabo ekikuumibwa obutiribiri (ku Lawuhu al mahfudhu)

Verse 79

لَّا يَمَسُّهُۥٓ إِلَّا ٱلۡمُطَهَّرُونَ

Takikwatako okugyako abaatukuzibwa (ba malayika abatalina bukyafu bwa mibiri oba obwe nzikiriza)

Verse 80

تَنزِيلٞ مِّن رَّبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

Essibwa okuva ewa Mukama omulabirizi w’ebitonde

Verse 81

أَفَبِهَٰذَا ٱلۡحَدِيثِ أَنتُم مُّدۡهِنُونَ

Abaffe ebigambo bino (ebya Kur’ani) mmwe bye mugayaalirira

Verse 82

وَتَجۡعَلُونَ رِزۡقَكُمۡ أَنَّكُمۡ تُكَذِّبُونَ

Okugirimbisa mmwe ne mukifuula okuba nga ye Riziki yammwe

Verse 83

فَلَوۡلَآ إِذَا بَلَغَتِ ٱلۡحُلۡقُومَ

Singa omwoyo wegutuukira mu ddokooli (musala amagezi nemugutaasa)

Verse 84

وَأَنتُمۡ حِينَئِذٖ تَنظُرُونَ

Ate nga mmwe mu kiseera ekyo mubaawo nga mutunula

Verse 85

وَنَحۡنُ أَقۡرَبُ إِلَيۡهِ مِنكُمۡ وَلَٰكِن لَّا تُبۡصِرُونَ

Era ffe tuba okumpi naye okusinga mmwe, naye temulaba

Verse 86

فَلَوۡلَآ إِن كُنتُمۡ غَيۡرَ مَدِينِينَ

Kale singa mwali temufugibwa (Katonda)

Verse 87

تَرۡجِعُونَهَآ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ

Muyinza okugamba nti mwandiguzizzaamu mu mubiri, bwe muba mwogera mazima

Verse 88

فَأَمَّآ إِن كَانَ مِنَ ٱلۡمُقَرَّبِينَ

Naye (omufu) bwaba mu bo kumpi (ne Katonda)

Verse 89

فَرَوۡحٞ وَرَيۡحَانٞ وَجَنَّتُ نَعِيمٖ

Aliba mu kwesiima na mirembe na jjana eye byengera

Verse 90

وَأَمَّآ إِن كَانَ مِنۡ أَصۡحَٰبِ ٱلۡيَمِينِ

Ate bwaba mu bantu bo ku mukono ogwa ddyo

Verse 91

فَسَلَٰمٞ لَّكَ مِنۡ أَصۡحَٰبِ ٱلۡيَمِينِ

(Aliyozebwayozebwa nti) emirembe gibeere ku ggwe, olwokuba oli mu bantu bo ku mukono ogwa ddyo

Verse 92

وَأَمَّآ إِن كَانَ مِنَ ٱلۡمُكَذِّبِينَ ٱلضَّآلِّينَ

Wabula bwabeera nga ali mu balimbisa ababuze

Verse 93

فَنُزُلٞ مِّنۡ حَمِيمٖ

(Oyo nno) obugenyi (bwe) bwalwegye lwa mazzi

Verse 94

وَتَصۡلِيَةُ جَحِيمٍ

Nakwesogga muliro Jahiimu

Verse 95

إِنَّ هَٰذَا لَهُوَ حَقُّ ٱلۡيَقِينِ

Mazima ebyo ge mazima agannamaddala

Verse 96

فَسَبِّحۡ بِٱسۡمِ رَبِّكَ ٱلۡعَظِيمِ

Kale nno tendereza erinnya lya Mukama omulabirizi wo owekitiibwa

Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! •