Home

Al-Jinn

الجن

Translation by Sheikh Abdul Razak Matovu

Surah 72

بِسْمِ اللَّهِ الرَّحْمَٰنِ الرَّحِيمِ

1

قُلۡ أُوحِيَ إِلَيَّ أَنَّهُ ٱسۡتَمَعَ نَفَرٞ مِّنَ ٱلۡجِنِّ فَقَالُوٓاْ إِنَّا سَمِعۡنَا قُرۡءَانًا عَجَبٗا

Bagambe ggwe Nabbi Muhammad nti nafuna obubaka nga waliwo amajinni agamu agaawuliriza nga nsoma Kur'ani negagamba nti mazima Kur'ani tugiwulidde nga yewuunyisa

2

يَهۡدِيٓ إِلَى ٱلرُّشۡدِ فَـَٔامَنَّا بِهِۦۖ وَلَن نُّشۡرِكَ بِرَبِّنَآ أَحَدٗا

Ekowoola oyo agiwuliriza okudda eri obulungamu era naffe tugikkirizza, era tetugenda kuddayo kugatta ku Katonda kintu kirala

3

وَأَنَّهُۥ تَعَٰلَىٰ جَدُّ رَبِّنَا مَا ٱتَّخَذَ صَٰحِبَةٗ وَلَا وَلَدٗا

Era mazima ekitiibwa kya Mukama Katonda waffe kisukkulumu, tayinza kuba nti yeteerawo mukyala wadde omwana

4

وَأَنَّهُۥ كَانَ يَقُولُ سَفِيهُنَا عَلَى ٱللَّهِ شَطَطٗا

Era mazima ddala ababuyabuya muffe baayogera nga ku Katonda ebigambo ebitemerere

5

وَأَنَّا ظَنَنَّآ أَن لَّن تَقُولَ ٱلۡإِنسُ وَٱلۡجِنُّ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبٗا

Era mazima ddala ffe twalowoozanga nti abantu na majjini baali tebayinza kwogera ku Katonda byabulimba

6

وَأَنَّهُۥ كَانَ رِجَالٞ مِّنَ ٱلۡإِنسِ يَعُوذُونَ بِرِجَالٖ مِّنَ ٱلۡجِنِّ فَزَادُوهُمۡ رَهَقٗا

Waliwo abantu abamu abaasabanga obuyambi okuva eri amajinni ekyagongera okuwaganyala

7

وَأَنَّهُمۡ ظَنُّواْ كَمَا ظَنَنتُمۡ أَن لَّن يَبۡعَثَ ٱللَّهُ أَحَدٗا

Era mazima ddala amajinni gaalowooza nga bwemwalowooza nti Katonda yali tagenda kutuma mubaka yenna

8

وَأَنَّا لَمَسۡنَا ٱلسَّمَآءَ فَوَجَدۡنَٰهَا مُلِئَتۡ حَرَسٗا شَدِيدٗا وَشُهُبٗا

Era mazima ffe tubadde tugezaako okugenda ku ggulu netulisanga nga lijjudde abakuumi abakambwe nebitawuliro

9

وَأَنَّا كُنَّا نَقۡعُدُ مِنۡهَا مَقَٰعِدَ لِلسَّمۡعِۖ فَمَن يَسۡتَمِعِ ٱلۡأٓنَ يَجِدۡ لَهُۥ شِهَابٗا رَّصَدٗا

Era mazima ffe waliwo enfo zetwatulangamu netuwuliriza ebifaayo, naye kati agezaako okuwuliriza asanga ebitawuliro nga bimuteeze

10

وَأَنَّا لَا نَدۡرِيٓ أَشَرٌّ أُرِيدَ بِمَن فِي ٱلۡأَرۡضِ أَمۡ أَرَادَ بِهِمۡ رَبُّهُمۡ رَشَدٗا

Wabula tetumanyi mu kukola ekyo kwali kulumya bitonde ebiri ku nsi oba Mukama Katonda wabyo yabyagaliza bulungamu

11

وَأَنَّا مِنَّا ٱلصَّـٰلِحُونَ وَمِنَّا دُونَ ذَٰلِكَۖ كُنَّا طَرَآئِقَ قِدَدٗا

Mazima nemuffe mulimu abalongoofu n'abatali era tuli ebibiina ebyenjawulo

12

وَأَنَّا ظَنَنَّآ أَن لَّن نُّعۡجِزَ ٱللَّهَ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَن نُّعۡجِزَهُۥ هَرَبٗا

Era ffe tuli bakakafu nti tetuyinza kulemesa Katonda ku nsi era nga bwetutayinza kumulemesa ne tumuddukako

13

وَأَنَّا لَمَّا سَمِعۡنَا ٱلۡهُدَىٰٓ ءَامَنَّا بِهِۦۖ فَمَن يُؤۡمِنۢ بِرَبِّهِۦ فَلَا يَخَافُ بَخۡسٗا وَلَا رَهَقٗا

Era mazima ddala bwe twawulira obulungamu twabukkiriza, nga ate oyo yenna akkiriza Mukama Katonda we tayinza kutya butasasulwa oba okunyigirizibwa

14

وَأَنَّا مِنَّا ٱلۡمُسۡلِمُونَ وَمِنَّا ٱلۡقَٰسِطُونَۖ فَمَنۡ أَسۡلَمَ فَأُوْلَـٰٓئِكَ تَحَرَّوۡاْ رَشَدٗا

Mazima ddala muffe mulimu abasiramu nga bwemulimu abaabula. Oyo yenna asiramuka, abo nno bebaba banoonya amazima mu bwegendereza

15

وَأَمَّا ٱلۡقَٰسِطُونَ فَكَانُواْ لِجَهَنَّمَ حَطَبٗا

Wabula bo abaabula be bagenda okubeera enku z'omuliro Jahannama

16

وَأَلَّوِ ٱسۡتَقَٰمُواْ عَلَى ٱلطَّرِيقَةِ لَأَسۡقَيۡنَٰهُم مَّآءً غَدَقٗا

Naye singa abantu banywerera ku kkubo ettuufu twalibawadde enkuba mu bungi

17

لِّنَفۡتِنَهُمۡ فِيهِۚ وَمَن يُعۡرِضۡ عَن ذِكۡرِ رَبِّهِۦ يَسۡلُكۡهُ عَذَابٗا صَعَدٗا

Tulyoke tubageseze ngeri ki gye be bazaamu e byengera, oyo yenna eyeesamba ebigambo bya Katondawe agenda kumubonereza n'ebibonerezo ebikambwe

18

وَأَنَّ ٱلۡمَسَٰجِدَ لِلَّهِ فَلَا تَدۡعُواْ مَعَ ٱللَّهِ أَحَدٗا

Mazima ddala emizigiti gya kusinzizamu Katonda yekka, kale nno temugatta ku Katonda ekintu kyonna

19

وَأَنَّهُۥ لَمَّا قَامَ عَبۡدُ ٱللَّهِ يَدۡعُوهُ كَادُواْ يَكُونُونَ عَلَيۡهِ لِبَدٗا

Era mazima ddala omuddu w'a Katonda (Nabbi Muhammad) bweyayimirira nga asaala amajinni gaasembera negamwetoloola kumpi kumwetuumako nga gali mu bibinja

20

قُلۡ إِنَّمَآ أَدۡعُواْ رَبِّي وَلَآ أُشۡرِكُ بِهِۦٓ أَحَدٗا

Bagambe (Gwe Nabbi Muhammad) nti mazima nze nsinza Katonda wange ate si mugattako kintu kirala kyonna

21

قُلۡ إِنِّي لَآ أَمۡلِكُ لَكُمۡ ضَرّٗا وَلَا رَشَدٗا

(Ggwe Nabbi Muhammad) bagambe nti tekiri mu mikono gyange okubaggyirawo obuzibu obuba bubatuuseeko nga bwe kitali mu busobozi bwange okubafunira obulungamu

22

قُلۡ إِنِّي لَن يُجِيرَنِي مِنَ ٱللَّهِ أَحَدٞ وَلَنۡ أَجِدَ مِن دُونِهِۦ مُلۡتَحَدًا

Era bagambe nti mazima nze tewali muntu yenna ayinza kumponya bibonerezo bya Katonda singa mba mujeemedde. Era sisobola kufuna buddukiro nga si bwa Katonda

23

إِلَّا بَلَٰغٗا مِّنَ ٱللَّهِ وَرِسَٰلَٰتِهِۦۚ وَمَن يَعۡصِ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ فَإِنَّ لَهُۥ نَارَ جَهَنَّمَ خَٰلِدِينَ فِيهَآ أَبَدًا

Nekiba nga ekisigadde kubatuusako bubaka obuva eri Katonda, naye abo bonna abajeemera Katonda n'omubakawe baakuyingira omuliro Jahannama, era nga b'akugubeeramu olubeerera

24

حَتَّىٰٓ إِذَا رَأَوۡاْ مَا يُوعَدُونَ فَسَيَعۡلَمُونَ مَنۡ أَضۡعَفُ نَاصِرٗا وَأَقَلُّ عَدَدٗا

Okutuusizza ddala bwe balibanga balabye ebyo ebyabalagaanyisibwa olwo nno lwe bajja okukakasa nti ani alina omutaasa omunafu neggye ettono

25

قُلۡ إِنۡ أَدۡرِيٓ أَقَرِيبٞ مَّا تُوعَدُونَ أَمۡ يَجۡعَلُ لَهُۥ رَبِّيٓ أَمَدًا

Bagambe ggwe Nabbi Muhammad nti mazima nze simanyi oba e bibonerezo bye mulaganyisibwa biri kumpi oba byakujja oluvanyuma lwebbanga eggwanvu

26

عَٰلِمُ ٱلۡغَيۡبِ فَلَا يُظۡهِرُ عَلَىٰ غَيۡبِهِۦٓ أَحَدًا

Ye yekka, Katonda yaamanyi ebitamanyiddwa ng'ate talina yenna gwabikkulira e byamabye

27

إِلَّا مَنِ ٱرۡتَضَىٰ مِن رَّسُولٖ فَإِنَّهُۥ يَسۡلُكُ مِنۢ بَيۡنِ يَدَيۡهِ وَمِنۡ خَلۡفِهِۦ رَصَدٗا

Okugyako oyo gwaba alonze okubeera omubaka (kale nno oyo amubikkulira ebimu ku byamabye) era amuteerawo obukuumi bwa Malayika nga bamwetolodde, Sitani obutasobola kumutuukako

28

لِّيَعۡلَمَ أَن قَدۡ أَبۡلَغُواْ رِسَٰلَٰتِ رَبِّهِمۡ وَأَحَاطَ بِمَا لَدَيۡهِمۡ وَأَحۡصَىٰ كُلَّ شَيۡءٍ عَدَدَۢا

Nabbi alyoke amanye nti mazima ba Nabbi baatuukiriza obubaka bwa Katonda waabwe (nga naye bwa butuukiriza) era bamanye nti Katonda amanyi ebyo byonna bye bakola nga era bwamanyi buli kintu kyonna

Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! •