Home

Al-Qiyamah

القيامة

Translation by Sheikh Abdul Razak Matovu

Surah 75

بِسْمِ اللَّهِ الرَّحْمَٰنِ الرَّحِيمِ

Verse 1

لَآ أُقۡسِمُ بِيَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ

Tewali kingaana kulayira lunaku lwakuzuukira

Verse 2

وَلَآ أُقۡسِمُ بِٱلنَّفۡسِ ٱللَّوَّامَةِ

Era nga bwewatali kingaana kulayira omwoyo ogwejjusa

Verse 3

أَيَحۡسَبُ ٱلۡإِنسَٰنُ أَلَّن نَّجۡمَعَ عِظَامَهُۥ

Abaffe omuntu alowooza nti tetugenda kusobola kuzzaawo magumbage

Verse 4

بَلَىٰ قَٰدِرِينَ عَلَىٰٓ أَن نُّسَوِّيَ بَنَانَهُۥ

Nedda tukisobolera ddala nga bwetulisobola okuzzaawo ennwe zaabwe

Verse 5

بَلۡ يُرِيدُ ٱلۡإِنسَٰنُ لِيَفۡجُرَ أَمَامَهُۥ

Wabula omuntu emirundi egisinga ayagala nnyo okuwangaalira mu kwonoona

Verse 6

يَسۡـَٔلُ أَيَّانَ يَوۡمُ ٱلۡقِيَٰمَةِ

Ngabuuza (mu ngeri ey'okujerega n'okuwakanya) nti olunaku lwokuzuukira lulibaawo ddi

Verse 7

فَإِذَا بَرِقَ ٱلۡبَصَرُ

Ddala lugenga kubaawo nga n'amaaso g'abantu galiralambala olwokutya

Verse 8

وَخَسَفَ ٱلۡقَمَرُ

Ekitangala kyomwezi kigenda kuggwawo

Verse 9

وَجُمِعَ ٱلشَّمۡسُ وَٱلۡقَمَرُ

Enjuba n'omwezi birigattibwa (nga tewakyasobola kubaawo kiro namisana)

Verse 10

يَقُولُ ٱلۡإِنسَٰنُ يَوۡمَئِذٍ أَيۡنَ ٱلۡمَفَرُّ

Ku lunaku olwo omuntu agenda kwebuuza nti nzirukirewa

Verse 11

كَلَّا لَا وَزَرَ

Kyekyo ddala, tewagenda kubaawo muntu weyekweka

Verse 12

إِلَىٰ رَبِّكَ يَوۡمَئِذٍ ٱلۡمُسۡتَقَرُّ

Obuddo ku lunaku olwo bujja kuba eri Mukama Katondawo

Verse 13

يُنَبَّؤُاْ ٱلۡإِنسَٰنُ يَوۡمَئِذِۭ بِمَا قَدَّمَ وَأَخَّرَ

Ku lunaku olwo omuntu agenda kutegeezebwa ebyo byonna byeyakola nebyataakola

Verse 14

بَلِ ٱلۡإِنسَٰنُ عَلَىٰ نَفۡسِهِۦ بَصِيرَةٞ

Wabula ate ddala omuntu ye yennyini amanyi bye yakola ne byataakola (newakubadde nga aligezaako okwogera kino nakiri ngayeetonda)

Verse 15

وَلَوۡ أَلۡقَىٰ مَعَاذِيرَهُۥ

Newakubadde nga aligezaako okwogera kino nakiri ngayetonda

Verse 16

لَا تُحَرِّكۡ بِهِۦ لِسَانَكَ لِتَعۡجَلَ بِهِۦٓ

Bwoba osoma Kur'ani toyanguyiriza nga olowooza nti kyekinakuyamba okuginyweeza

Verse 17

إِنَّ عَلَيۡنَا جَمۡعَهُۥ وَقُرۡءَانَهُۥ

Anti okugikungaanya kuli kuffe nga era bwekiri kuffe okunywereza ku lulimi lwo ensoma ennungi

Verse 18

فَإِذَا قَرَأۡنَٰهُ فَٱتَّبِعۡ قُرۡءَانَهُۥ

Kale nno bwetumala okugikusomera (nga tugiyisa ku Jiburilu) goberera ensoma yaayo

Verse 19

ثُمَّ إِنَّ عَلَيۡنَا بَيَانَهُۥ

Era mazima okuginnyonnyola kuli kuffe

Verse 20

كَلَّا بَلۡ تُحِبُّونَ ٱلۡعَاجِلَةَ

(Ebyo ebyogeddwa waggulu bimala omuntu okwebuulirira nabyo) wabula ebyembi mmwe mwagala ebyokufuna byensi ebyamangu

Verse 21

وَتَذَرُونَ ٱلۡأٓخِرَةَ

Nemuleka ebyolunaku lw’enkomerero

Verse 22

وُجُوهٞ يَوۡمَئِذٖ نَّاضِرَةٌ

Ebyenyi bya bantu abamu ku lunaku olwo bigenda kuba nga bitemagana

Verse 23

إِلَىٰ رَبِّهَا نَاظِرَةٞ

Bigenda kutunula ku Mukama Katonda waabyo

Verse 24

وَوُجُوهٞ يَوۡمَئِذِۭ بَاسِرَةٞ

Ate nga ebyenyi bya bantu abalala bigenda kuba binyikaavu

Verse 25

تَظُنُّ أَن يُفۡعَلَ بِهَا فَاقِرَةٞ

Nga bimanyidde ddala nti bigenda kutuukibwako akabi akanene akamenya nenkizi

Verse 26

كَلَّآ إِذَا بَلَغَتِ ٱلتَّرَاقِيَ

Naye omwoyo bwegutuuka mu ddokooli

Verse 27

وَقِيلَ مَنۡۜ رَاقٖ

Abantu webagambira nti ani alina eddagala eriyinza okumuwonya

Verse 28

وَظَنَّ أَنَّهُ ٱلۡفِرَاقُ

Wabula yye ngamaze okukakasa nti agenda kufa

Verse 29

وَٱلۡتَفَّتِ ٱلسَّاقُ بِٱلسَّاقِ

Entumbwe ne yeegatta ku ntumbwe

Verse 30

إِلَىٰ رَبِّكَ يَوۡمَئِذٍ ٱلۡمَسَاقُ

Olwo nno obuddo buba busigadde eri Katondawo

Verse 31

فَلَا صَدَّقَ وَلَا صَلَّىٰ

Naye nga omufu teyasaddaaka wadde okusaala

Verse 32

وَلَٰكِن كَذَّبَ وَتَوَلَّىٰ

Wabula yalimbisa ebigambo bya Katonda nabyesamba

Verse 33

ثُمَّ ذَهَبَ إِلَىٰٓ أَهۡلِهِۦ يَتَمَطَّىٰٓ

Olwo nno naatambula nadda eri abantu be nga yeeraga

Verse 34

أَوۡلَىٰ لَكَ فَأَوۡلَىٰ

(Aligambibwa nti ekyo) ekikutuuseeko kikugwanidde era ddala kikugwanidde (owange ggwe omwonoonyi)

Verse 35

ثُمَّ أَوۡلَىٰ لَكَ فَأَوۡلَىٰٓ

Ate era kikugwanidde ng'ate era ddala kikugwanidde

Verse 36

أَيَحۡسَبُ ٱلۡإِنسَٰنُ أَن يُتۡرَكَ سُدًى

Omuntu alowooza nti ayinza okulekwa neyeeyisa nga bwayagala

Verse 37

أَلَمۡ يَكُ نُطۡفَةٗ مِّن مَّنِيّٖ يُمۡنَىٰ

Tajjukira nti yasooka kuba tondo lyamazzi agazaala agateekebwa mu nabaana

Verse 38

ثُمَّ كَانَ عَلَقَةٗ فَخَلَقَ فَسَوَّىٰ

Oluvanyuma naafuuka ekisayisayi, olwo Katonda naamutonda namussaako byonna ebimufuula omuntu

Verse 39

فَجَعَلَ مِنۡهُ ٱلزَّوۡجَيۡنِ ٱلذَّكَرَ وَٱلۡأُنثَىٰٓ

Nga bwatyo bwakola emitendera ebiri, omusajja n'omukazi

Verse 40

أَلَيۡسَ ذَٰلِكَ بِقَٰدِرٍ عَلَىٰٓ أَن يُحۡـِۧيَ ٱلۡمَوۡتَىٰ

Abaffe oyo eyakola omuntu mu ngeri eyo tasobola kulamusa bafu

Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! •