Home

Al-Mursalat

المرسلات

Translation by Sheikh Abdul Razak Matovu

Surah 77

بِسْمِ اللَّهِ الرَّحْمَٰنِ الرَّحِيمِ

Verse 1

وَٱلۡمُرۡسَلَٰتِ عُرۡفٗا

Ndayidde empewo ekunta mu ngeri y'okugoberegana

Verse 2

فَٱلۡعَٰصِفَٰتِ عَصۡفٗا

Era ndayidde kibuyaga akunta mu ngeri ey'amaanyi eyakabi

Verse 3

وَٱلنَّـٰشِرَٰتِ نَشۡرٗا

Era ndayidde Malayika ezitambuza ebire olutambuza (olwokutonyesa enkuba)

Verse 4

فَٱلۡفَٰرِقَٰتِ فَرۡقٗا

Era ndayidde Malayika ezikka okuva ewa Katonda nga zireeta ebyawula wakati w'amazima n'obulimba

Verse 5

فَٱلۡمُلۡقِيَٰتِ ذِكۡرًا

Era ndayidde Malayika ezireeta ebitabo n'obubaka eri ba Nabbi ba Katonda nga byakujjukiza

Verse 6

عُذۡرًا أَوۡ نُذۡرًا

Mu ngeri yokuba nti bijjawo ebyokwekwaasa oba nga byakutiisa

Verse 7

إِنَّمَا تُوعَدُونَ لَوَٰقِعٞ

Mazima bye mulaganyisibwa ebikwata ku lunaku lw'enkomerero n'okusasulwa bya kubaawo

Verse 8

فَإِذَا ٱلنُّجُومُ طُمِسَتۡ

Emunyeenye lweziriggibwawo (newataba kitangaala kyaazo)

Verse 9

وَإِذَا ٱلسَّمَآءُ فُرِجَتۡ

Era eggulu bweririwumulwa (nerirabika nga emiryango)

Verse 10

وَإِذَا ٱلۡجِبَالُ نُسِفَتۡ

Era ensozi bwezirimerengulwa

Verse 11

وَإِذَا ٱلرُّسُلُ أُقِّتَتۡ

Era ababaka b'a Katonda bwebaliweebwa akadde k'okuwa obujulizi kwabo bebaatumwamu

Verse 12

لِأَيِّ يَوۡمٍ أُجِّلَتۡ

(Ebintu ebyo ebyentiisa) biribaawo ddi

Verse 13

لِيَوۡمِ ٱلۡفَصۡلِ

Bigenda kubaawo ku lunaku olwokusalawo n'okulamula wakati w'ebitonde

Verse 14

وَمَآ أَدۡرَىٰكَ مَا يَوۡمُ ٱلۡفَصۡلِ

Abaffe omanyi olunaku lw'okusalawo kyekki

Verse 15

وَيۡلٞ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُكَذِّبِينَ

Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kw'abo abalulimbisa

Verse 16

أَلَمۡ نُهۡلِكِ ٱلۡأَوَّلِينَ

Abaffe tetwazikiriza ababasokawo

Verse 17

ثُمَّ نُتۡبِعُهُمُ ٱلۡأٓخِرِينَ

Netubagoberezaako abalala

Verse 18

كَذَٰلِكَ نَفۡعَلُ بِٱلۡمُجۡرِمِينَ

Bwetutyo nno bwetukola mu kubonereza abonoonyi

Verse 19

وَيۡلٞ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُكَذِّبِينَ

Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa

Verse 20

أَلَمۡ نَخۡلُقكُّم مِّن مَّآءٖ مَّهِينٖ

Abaffe tetwabakola nga tubajja mu mazzi aganyomebwa

Verse 21

فَجَعَلۡنَٰهُ فِي قَرَارٖ مَّكِينٍ

Netugateeka mukifo ekigakuuma

Verse 22

إِلَىٰ قَدَرٖ مَّعۡلُومٖ

Okutuusa ebbanga eggere erimanyiddwa

Verse 23

فَقَدَرۡنَا فَنِعۡمَ ٱلۡقَٰدِرُونَ

Bwetutyo nno bwetwateekateeka okutondebwa kwabwe tuli bateesiteesi abasinga obulungi

Verse 24

وَيۡلٞ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُكَذِّبِينَ

Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa

Verse 25

أَلَمۡ نَجۡعَلِ ٱلۡأَرۡضَ كِفَاتًا

Abaffe ensi tetwagikola nga ekungaanya

Verse 26

أَحۡيَآءٗ وَأَمۡوَٰتٗا

Abalamu n'abafu (bonna ngabali muyo)

Verse 27

وَجَعَلۡنَا فِيهَا رَوَٰسِيَ شَٰمِخَٰتٖ وَأَسۡقَيۡنَٰكُم مَّآءٗ فُرَاتٗا

Netugiteekamu e nsozi eziginyweza entumbiivu ne tubawa amazzi amalungi

Verse 28

وَيۡلٞ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُكَذِّبِينَ

Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa

Verse 29

ٱنطَلِقُوٓاْ إِلَىٰ مَا كُنتُم بِهِۦ تُكَذِّبُونَ

Ku lunaku lw'enkomerero abakafiiri baliragirwa nti mugende eri ebyo bye mwali mulimbisa

Verse 30

ٱنطَلِقُوٓاْ إِلَىٰ ظِلّٖ ذِي ثَلَٰثِ شُعَبٖ

Mugende eri ekisiikirize ekyomuliro ngakirimu ebitundu bisatu

Verse 31

لَّا ظَلِيلٖ وَلَا يُغۡنِي مِنَ ٱللَّهَبِ

Wabula tebaliba na kibasiikiriza wadde e kibataasa nnimi z'amuliro

Verse 32

إِنَّهَا تَرۡمِي بِشَرَرٖ كَٱلۡقَصۡرِ

Mazima omuliro ogwo gukasuka ebitawuliro nga biringa ebizimbe ebigulumivu

Verse 33

كَأَنَّهُۥ جِمَٰلَتٞ صُفۡرٞ

Ebitawuliro ebyo nga biringa engamiya ez'akyenvu

Verse 34

وَيۡلٞ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُكَذِّبِينَ

Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa

Verse 35

هَٰذَا يَوۡمُ لَا يَنطِقُونَ

Olwo lunaku lwebatagenda kwogera

Verse 36

وَلَا يُؤۡذَنُ لَهُمۡ فَيَعۡتَذِرُونَ

Wadde okukkirizibwa okwetonda

Verse 37

وَيۡلٞ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُكَذِّبِينَ

Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa

Verse 38

هَٰذَا يَوۡمُ ٱلۡفَصۡلِۖ جَمَعۡنَٰكُمۡ وَٱلۡأَوَّلِينَ

Luno lwe lunaku lw'okulamula tubakunganyizza mwenna n'aba bakulembera

Verse 39

فَإِن كَانَ لَكُمۡ كَيۡدٞ فَكِيدُونِ

Bwe muba mulina engeri gyemuyinza okwebulankanyamu kale munnebulankanyeko

Verse 40

وَيۡلٞ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُكَذِّبِينَ

Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa

Verse 41

إِنَّ ٱلۡمُتَّقِينَ فِي ظِلَٰلٖ وَعُيُونٖ

Naye mazima abatya Katonda bagenda kubeera mu bisiikirize n'emigga egikulukuta

Verse 42

وَفَوَٰكِهَ مِمَّا يَشۡتَهُونَ

N'ebibala byebaliba bagala

Verse 43

كُلُواْ وَٱشۡرَبُواْ هَنِيٓـَٔۢا بِمَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ

Nga bagambibwa nti mulye era munywe nga mweyagala

Verse 44

إِنَّا كَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلۡمُحۡسِنِينَ

Mazima ffe bwetutyo bwetusasula abakozi b'obulungi

Verse 45

وَيۡلٞ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُكَذِّبِينَ

Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa

Verse 46

كُلُواْ وَتَمَتَّعُواْ قَلِيلًا إِنَّكُم مُّجۡرِمُونَ

(Kuno ku nsi abakafiiri bagambwa nti) mulye, era mweyagale kitono, wabula mumanye nti muli bonoonyi (naye mukimanye nti waliyo enkomerero)

Verse 47

وَيۡلٞ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُكَذِّبِينَ

Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa

Verse 48

وَإِذَا قِيلَ لَهُمُ ٱرۡكَعُواْ لَا يَرۡكَعُونَ

Bwebalagirwa okusaala tebasaala

Verse 49

وَيۡلٞ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُكَذِّبِينَ

Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa

Verse 50

فَبِأَيِّ حَدِيثِۭ بَعۡدَهُۥ يُؤۡمِنُونَ

Olwo bigamboki ebitali Kur'ani byebagenda okukkiriza

Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! •