Home

An-Nazi'at

النازعات

Translation by Sheikh Abdul Razak Matovu

Surah 79

بِسْمِ اللَّهِ الرَّحْمَٰنِ الرَّحِيمِ

Verse 1

وَٱلنَّـٰزِعَٰتِ غَرۡقٗا

Ndayira Malayika ezisikambula emyoyo gy’abajeemu mu bukambwe

Verse 2

وَٱلنَّـٰشِطَٰتِ نَشۡطٗا

Era ndayira Malayika ezisowola emyoyo gy’abakkiriza obusowozi

Verse 3

وَٱلسَّـٰبِحَٰتِ سَبۡحٗا

Era ndayira Malayika eziwugira mu bbanga oluwuga

Verse 4

فَٱلسَّـٰبِقَٰتِ سَبۡقٗا

Era ndayira Malayika ezivuganya oluvuganya nga zitwala emyoyo gy’abakkiriza mu jjana

Verse 5

فَٱلۡمُدَبِّرَٰتِ أَمۡرٗا

Ne ndayira ne Malayika ezissa mu nkola ebiragiro (Byange)

Verse 6

يَوۡمَ تَرۡجُفُ ٱلرَّاجِفَةُ

(Mukimanye nti ebitonde byonna bigenda kuzikirira) ku lunaku buli kintu kyonna lwe kirikankana nga engombe efuuyiddwa

Verse 7

تَتۡبَعُهَا ٱلرَّادِفَةُ

Luligobererwa olufuuwa olw'okubiri (olw'okuzuukira)

Verse 8

قُلُوبٞ يَوۡمَئِذٖ وَاجِفَةٌ

E mitima gy’abatakkiriza ku lunaku olwo giribeera mu kutya

Verse 9

أَبۡصَٰرُهَا خَٰشِعَةٞ

Amaaso gaabwe nga makkakkamu

Verse 10

يَقُولُونَ أَءِنَّا لَمَرۡدُودُونَ فِي ٱلۡحَافِرَةِ

Bagamba (nga bajerega), nti "Mazima ddala tulizzibwawo mu bulamu nga bwetulimu kati

Verse 11

أَءِذَا كُنَّا عِظَٰمٗا نَّخِرَةٗ

Bwe tuliba tumaze okufuuka amagumba amamerengufu

Verse 12

قَالُواْ تِلۡكَ إِذٗا كَرَّةٌ خَاسِرَةٞ

Bongerako ne bagamba nti (okwonno bwekiriba bwekityo) kuliba kudda kwa kufaafaaganirwa

Verse 13

فَإِنَّمَا هِيَ زَجۡرَةٞ وَٰحِدَةٞ

Mazima okuzuukira lugenda kubeera olukanga lumu lwokka

Verse 14

فَإِذَا هُم بِٱلسَّاهِرَةِ

Baligenda okulaba nga bali ku ngulu ku nsi

Verse 15

هَلۡ أَتَىٰكَ حَدِيثُ مُوسَىٰٓ

Abaffe wamanya ku kyafaayo kya Nabbi Musa

Verse 16

إِذۡ نَادَىٰهُ رَبُّهُۥ بِٱلۡوَادِ ٱلۡمُقَدَّسِ طُوًى

Awo Katonda we yakoowoolera Musa nga (Musa) ali mu lusenyi olutukuvu 'Tuwa

Verse 17

ٱذۡهَبۡ إِلَىٰ فِرۡعَوۡنَ إِنَّهُۥ طَغَىٰ

N'amugamba nti genda eri Firaawo kubanga ye asusse mu bujeemu ne mu buwakanyi

Verse 18

فَقُلۡ هَل لَّكَ إِلَىٰٓ أَن تَزَكَّىٰ

Omugambe nti, Abaffe waalyetaaze okwetukuza (n'okkiriza mukama Katonda wo)

Verse 19

وَأَهۡدِيَكَ إِلَىٰ رَبِّكَ فَتَخۡشَىٰ

Ndyoke mbe nga nkulungamya eri Katonda wo obeere nga omutya

Verse 20

فَأَرَىٰهُ ٱلۡأٓيَةَ ٱلۡكُبۡرَىٰ

(Nabbi Musa) n’alaga Firaawo obujulizi obwenkukunala

Verse 21

فَكَذَّبَ وَعَصَىٰ

(Firaawo) naalimbisa era n’ajeema

Verse 22

ثُمَّ أَدۡبَرَ يَسۡعَىٰ

Bwe yamala n'abikuba amabega era n’akola kaweefube w'okubirwanyisa

Verse 23

فَحَشَرَ فَنَادَىٰ

N’akungaanya (amagye ge, abakungu be, n’abalogo) n’alangirira

Verse 24

فَقَالَ أَنَا۠ رَبُّكُمُ ٱلۡأَعۡلَىٰ

Ng’agamba nti nze Katonda wa mmwe owa waggulu

Verse 25

فَأَخَذَهُ ٱللَّهُ نَكَالَ ٱلۡأٓخِرَةِ وَٱلۡأُولَىٰٓ

Katonda n’amubonereza n’okumuzikiriza olw’ekisobyo ekyasembayo n’ekyasooka

Verse 26

إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَعِبۡرَةٗ لِّمَن يَخۡشَىٰٓ

Mazima mu ekyo (eky’okuzikiriza Firaawo) mulimu eky’okulabirako eri oyo atya Katonda

Verse 27

ءَأَنتُمۡ أَشَدُّ خَلۡقًا أَمِ ٱلسَّمَآءُۚ بَنَىٰهَا

Abaffe, mmwe be mweraba mwe musinga obuzibu okutonda okusinga e ggulu? Yalitonda nno

Verse 28

رَفَعَ سَمۡكَهَا فَسَوَّىٰهَا

(Awamu n'obugevvu bwalyo) yaliwanika n'alitereeza

Verse 29

وَأَغۡطَشَ لَيۡلَهَا وَأَخۡرَجَ ضُحَىٰهَا

Aleeta enzikiza yaalyo n’aggyayo ekitangaala kyalyo

Verse 30

وَٱلۡأَرۡضَ بَعۡدَ ذَٰلِكَ دَحَىٰهَآ

N’ensi oluvanyuma lwebyo yagyaliira

Verse 31

أَخۡرَجَ مِنۡهَا مَآءَهَا وَمَرۡعَىٰهَا

Muyo mwennyini mweyajja amazzi gaayo namalundiro gaayo

Verse 32

وَٱلۡجِبَالَ أَرۡسَىٰهَا

N’ensozi yazisimba n'azinyweeza

Verse 33

مَتَٰعٗا لَّكُمۡ وَلِأَنۡعَٰمِكُمۡ

(Ebyo yabikola) lwa kugasa mmwe n'ensolo za mmwe

Verse 34

فَإِذَا جَآءَتِ ٱلطَّآمَّةُ ٱلۡكُبۡرَىٰ

Akabenje akanene bwe kalijja (olwo lwe luliba olunaku lw'enkomerero)

Verse 35

يَوۡمَ يَتَذَكَّرُ ٱلۡإِنسَٰنُ مَا سَعَىٰ

Olunaku lw’alijjukira omuntu ebyo byonna bye yakola

Verse 36

وَبُرِّزَتِ ٱلۡجَحِيمُ لِمَن يَرَىٰ

Omuliro Jahiimu negulagibwa eri yenna alaba

Verse 37

فَأَمَّا مَن طَغَىٰ

Oyo yenna eyasukka mu kujeema

Verse 38

وَءَاثَرَ ٱلۡحَيَوٰةَ ٱلدُّنۡيَا

N’asukkulumya obulamu bw’ensi (ku bw'enkomerero)

Verse 39

فَإِنَّ ٱلۡجَحِيمَ هِيَ ٱلۡمَأۡوَىٰ

Mazima omuliro Jahiimu bwe buddo bwe

Verse 40

وَأَمَّا مَنۡ خَافَ مَقَامَ رَبِّهِۦ وَنَهَى ٱلنَّفۡسَ عَنِ ٱلۡهَوَىٰ

Oyo aliba nga yatya okuyimirira mu maaso ga Mukama we (Katonda). N’aziyiza omwoyo gwe ku by’obwagazi

Verse 41

فَإِنَّ ٱلۡجَنَّةَ هِيَ ٱلۡمَأۡوَىٰ

Mazima e jjana, bwe buddo bwe

Verse 42

يَسۡـَٔلُونَكَ عَنِ ٱلسَّاعَةِ أَيَّانَ مُرۡسَىٰهَا

Bakubuuza gwe (Nabbi Muhammad) ebikwata ku lunaku lw’enkomerero, nti lulibaawo ddi

Verse 43

فِيمَ أَنتَ مِن ذِكۡرَىٰهَآ

Wa gy'onoggya okulwogerako

Verse 44

إِلَىٰ رَبِّكَ مُنتَهَىٰهَآ

Omulezi wo Katonda yekka ya manyi ebirukwatako

Verse 45

إِنَّمَآ أَنتَ مُنذِرُ مَن يَخۡشَىٰهَا

Mazima ggwe oli mutiisa eri oyo alutya

Verse 46

كَأَنَّهُمۡ يَوۡمَ يَرَوۡنَهَا لَمۡ يَلۡبَثُوٓاْ إِلَّا عَشِيَّةً أَوۡ ضُحَىٰهَا

Mazima bwe baliraba olunaku olwo balibanga abataatuula ku nsi okugyako ekiseera ky'olweggulo oba e kye nkya

Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! •