Home

At-Tariq

الطارق

Translation by Sheikh Abdul Razak Matovu

Surah 86

بِسْمِ اللَّهِ الرَّحْمَٰنِ الرَّحِيمِ

Verse 1

وَٱلسَّمَآءِ وَٱلطَّارِقِ

Ndayira e ggulu ne munyeenye ezirabika e kiro

Verse 2

وَمَآ أَدۡرَىٰكَ مَا ٱلطَّارِقُ

Naye omanyi e munyeenye ezirabika ekiro kye ki

Verse 3

ٱلنَّجۡمُ ٱلثَّاقِبُ

Z’emunyeenye ezaaka ennyo ekitangaala kyazo ne kiyita mu nzikiza ne kituuka ku nsi

Verse 4

إِن كُلُّ نَفۡسٖ لَّمَّا عَلَيۡهَا حَافِظٞ

Buli muntu yenna aliko abakuumi (Ba Malayika)

Verse 5

فَلۡيَنظُرِ ٱلۡإِنسَٰنُ مِمَّ خُلِقَ

Kale nno omuntu yalibadde atunuulira kye yatondebwamu

Verse 6

خُلِقَ مِن مَّآءٖ دَافِقٖ

Yatondebwa ng’aggyibwa mu mazzi agasambattuka

Verse 7

يَخۡرُجُ مِنۢ بَيۡنِ ٱلصُّلۡبِ وَٱلتَّرَآئِبِ

Nga gava wakati w’omugongo gw'omusajja n’amasaabiro g'omukazi

Verse 8

إِنَّهُۥ عَلَىٰ رَجۡعِهِۦ لَقَادِرٞ

Mazima ddala oyo (Katonda) asobolera ddala okumuzzaawo

Verse 9

يَوۡمَ تُبۡلَى ٱلسَّرَآئِرُ

Ku lunaku ebyama byonna lwe biribikkulwa

Verse 10

فَمَا لَهُۥ مِن قُوَّةٖ وَلَا نَاصِرٖ

Omuntu tagenda kuba na maanyi gonna yadde omutaasa

Verse 11

وَٱلسَّمَآءِ ذَاتِ ٱلرَّجۡعِ

Era ndayira e ggulu ewava e nkuba etonnya nga e ddingana

Verse 12

وَٱلۡأَرۡضِ ذَاتِ ٱلصَّدۡعِ

Ne ndayira n’ettaka eryeyasa olw’okumeza e bimera

Verse 13

إِنَّهُۥ لَقَوۡلٞ فَصۡلٞ

Mazima ddala yo (Kur'ani) kigambo ekyawula wakati w’amazima n’obulimba

Verse 14

وَمَا هُوَ بِٱلۡهَزۡلِ

Kur'ani si ya lusaago

Verse 15

إِنَّهُمۡ يَكِيدُونَ كَيۡدٗا

Mazima abatakkiriza basala e nkwe

Verse 16

وَأَكِيدُ كَيۡدٗا

Nange nenkola enteekateeka (zange)

Verse 17

فَمَهِّلِ ٱلۡكَٰفِرِينَ أَمۡهِلۡهُمۡ رُوَيۡدَۢا

Abatakkiriza balindirize, nange mbawadde akaseera katono

Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! •