Home

Al-A'la

الأعلى

Translation by Sheikh Abdul Razak Matovu

Surah 87

بِسْمِ اللَّهِ الرَّحْمَٰنِ الرَّحِيمِ

Verse 1

سَبِّحِ ٱسۡمَ رَبِّكَ ٱلۡأَعۡلَى

Tendereza erinnya ly’omulabiriziwo owa waggulu

Verse 2

ٱلَّذِي خَلَقَ فَسَوَّىٰ

Oyo eyatonda n'atereeza

Verse 3

وَٱلَّذِي قَدَّرَ فَهَدَىٰ

Era eyateekateeka buli kintu n'akyenkanyankanya

Verse 4

وَٱلَّذِيٓ أَخۡرَجَ ٱلۡمَرۡعَىٰ

Era oyo ameza omuddo oguliibwa e bisolo

Verse 5

فَجَعَلَهُۥ غُثَآءً أَحۡوَىٰ

Oluvanyuma agufuula omukalu

Verse 6

سَنُقۡرِئُكَ فَلَا تَنسَىٰٓ

Tujja kukusomesa (Kur'ani) obeere nga teweerabira

Verse 7

إِلَّا مَا شَآءَ ٱللَّهُۚ إِنَّهُۥ يَعۡلَمُ ٱلۡجَهۡرَ وَمَا يَخۡفَىٰ

Okugyako ebyo Katonda by’anaaba ayagadde okukwerabiza. Katonda y’amanyi ebyogerwa mu lwatu ne mu kyama

Verse 8

وَنُيَسِّرُكَ لِلۡيُسۡرَىٰ

Tujja kukwanguyiza amateeka gabeere mangu

Verse 9

فَذَكِّرۡ إِن نَّفَعَتِ ٱلذِّكۡرَىٰ

Kale buulirira, okubuulirira bwe kuba nga kunaagasa

Verse 10

سَيَذَّكَّرُ مَن يَخۡشَىٰ

Anaaganyulwa oyo atya Katonda

Verse 11

وَيَتَجَنَّبُهَا ٱلۡأَشۡقَى

Omwonoonyi ajja ku kwesamba (okubuulirira okwo)

Verse 12

ٱلَّذِي يَصۡلَى ٱلنَّارَ ٱلۡكُبۡرَىٰ

Oyo alyesogga omuliro ogwamaanyi

Verse 13

ثُمَّ لَا يَمُوتُ فِيهَا وَلَا يَحۡيَىٰ

Ng’amaze (okusonsekebwa mu muliro ogwo), tagenda kufa wadde okufuna obulamu (obwesiimisa)

Verse 14

قَدۡ أَفۡلَحَ مَن تَزَكَّىٰ

Mazima yeesiimye omuntu e yeetukuza

Verse 15

وَذَكَرَ ٱسۡمَ رَبِّهِۦ فَصَلَّىٰ

N’ayogera ku linnya ly’omuleziwe olwo nno n’asaala

Verse 16

بَلۡ تُؤۡثِرُونَ ٱلۡحَيَوٰةَ ٱلدُّنۡيَا

Wabula mmwe musukkulumya obulamu obw’ensi

Verse 17

وَٱلۡأٓخِرَةُ خَيۡرٞ وَأَبۡقَىٰٓ

So nga obulamu obw'enkomerero bwe businga obulungi era bwe bwo kusigalawo

Verse 18

إِنَّ هَٰذَا لَفِي ٱلصُّحُفِ ٱلۡأُولَىٰ

Mazima bino biri mu biwandiiko ebyasooka

Verse 19

صُحُفِ إِبۡرَٰهِيمَ وَمُوسَىٰ

Ebiwandiiko bya Ibrahim ne Musa

Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! •