Home

Al-'Alaq

العلق

Translation by Sheikh Abdul Razak Matovu

Surah 96

بِسْمِ اللَّهِ الرَّحْمَٰنِ الرَّحِيمِ

1

ٱقۡرَأۡ بِٱسۡمِ رَبِّكَ ٱلَّذِي خَلَقَ

Soma ng'otandika ne linnya lya mukamawo oyo eyatonda (buli kintu)

2

خَلَقَ ٱلۡإِنسَٰنَ مِنۡ عَلَقٍ

Yatonda omuntu nga amuggya mu kisaayisaayi

3

ٱقۡرَأۡ وَرَبُّكَ ٱلۡأَكۡرَمُ

Soma, kuba Omulezi wo (Katonda) ye mugabi asinga

4

ٱلَّذِي عَلَّمَ بِٱلۡقَلَمِ

Oyo eyayigiriza omuntu okuwandiika n'ekkalaamu

5

عَلَّمَ ٱلۡإِنسَٰنَ مَا لَمۡ يَعۡلَمۡ

Yayigiriza omuntu ebyo (omuntu) bye yali tamanyi

6

كَلَّآ إِنَّ ٱلۡإِنسَٰنَ لَيَطۡغَىٰٓ

Nedda, mazima omuntu agenda neyewaggula

7

أَن رَّءَاهُ ٱسۡتَغۡنَىٰٓ

Olw’okweraba nti yeemalirira (olw’ebyo by’aba alina)

8

إِنَّ إِلَىٰ رَبِّكَ ٱلرُّجۡعَىٰٓ

Ng’ate Mazima ddala eri Omuleziwo (Katonda) y’eri obuddo

9

أَرَءَيۡتَ ٱلَّذِي يَنۡهَىٰ

Olabye omuntu agaana

10

عَبۡدًا إِذَا صَلَّىٰٓ

(Agaana) omuddu wa Katonda bw’aba ng'asaala

11

أَرَءَيۡتَ إِن كَانَ عَلَى ٱلۡهُدَىٰٓ

Tolaba nti gwebagaana ky'akola kya bulungamu

12

أَوۡ أَمَرَ بِٱلتَّقۡوَىٰٓ

Oba bwaba alagidde abantu okutya Katonda

13

أَرَءَيۡتَ إِن كَذَّبَ وَتَوَلَّىٰٓ

Olaba oyo (agaana asaala) bw'alimbisa n'akyuka okuva ku mazima

14

أَلَمۡ يَعۡلَم بِأَنَّ ٱللَّهَ يَرَىٰ

Abaffe tamanyi (oyo alimbisa) nti Mazima Katonda alaba ebyo (by’akola)

15

كَلَّا لَئِن لَّمۡ يَنتَهِ لَنَسۡفَعَۢا بِٱلنَّاصِيَةِ

Nedda bw’anaaba teyeekomyeko (ku bikolwa ebyo) tujja kumuwalula nga tumukutte ku kawompo

16

نَاصِيَةٖ كَٰذِبَةٍ خَاطِئَةٖ

Akawompo ako akajjudde obulimba n’obusobya

17

فَلۡيَدۡعُ نَادِيَهُۥ

Kale ayitanga abali mu kinywi kye (eky’obujeemu bamutaase)

18

سَنَدۡعُ ٱلزَّبَانِيَةَ

Naffe tujja kukoowoola ba Malayika abakambwe abakuumi b’omuliro (abatuusa ebibonerezo ku bajeemu)

19

كَلَّا لَا تُطِعۡهُ وَٱسۡجُدۡۤ وَٱقۡتَرِب۩

Nedda (Owange Nabbi Muhammad) togonderanga omuntu ng’oyo. Vunnama (ng'osinza) Katonda era weeyongere okusembera gy'ali