Home

Al-Muddaththir

المدثر

Translation by Sheikh Abdul Razak Matovu

Surah 74

بِسْمِ اللَّهِ الرَّحْمَٰنِ الرَّحِيمِ

1

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلۡمُدَّثِّرُ

Owange ggwe eyeebikiridde (olwokutya Malayika Jiburilu lwe yakuleetera obubaka okuva eri Katonda)

2

قُمۡ فَأَنذِرۡ

Golokoka otiise abantu ebibonerezo bya Katonda

3

وَرَبَّكَ فَكَبِّرۡ

Ne Mukama Katondawo yekka gwoba ogulumiza

4

وَثِيَابَكَ فَطَهِّرۡ

N'engoyezo zitukuze

5

وَٱلرُّجۡزَ فَٱهۡجُرۡ

Amasanamu geewalire ddala

6

وَلَا تَمۡنُن تَسۡتَكۡثِرُ

Tokoleranga abantu obulungi ng'ogenderera kufunamu bulungi kuno ku nsi

7

وَلِرَبِّكَ فَٱصۡبِرۡ

Beeranga mugumikiriza osobole okufuna okusiima kwa Mukama Katondawo

8

فَإِذَا نُقِرَ فِي ٱلنَّاقُورِ

Engombe bwerifuuyibwa (kulwokuzuukira)

9

فَذَٰلِكَ يَوۡمَئِذٖ يَوۡمٌ عَسِيرٌ

Olunaku olwo lugenda kuba lunaku luzito

10

عَلَى ٱلۡكَٰفِرِينَ غَيۡرُ يَسِيرٖ

Terugenda kuba lwangu eri abakafiiri

11

ذَرۡنِي وَمَنۡ خَلَقۡتُ وَحِيدٗا

(Owange ggwe Nabbi Muhammad) ndeka nooyo gwe nnetondera

12

وَجَعَلۡتُ لَهُۥ مَالٗا مَّمۡدُودٗا

Nemuwa ebyobugagga ebiyitirivu

13

وَبَنِينَ شُهُودٗا

Nemuwa nabaana abatutumufu

14

وَمَهَّدتُّ لَهُۥ تَمۡهِيدٗا

Ne mugaziyiriza olugaziya (e byenfuna obukulembeze n'ekitiibwa)

15

ثُمَّ يَطۡمَعُ أَنۡ أَزِيدَ

Oluvanyuma alulunkanira okumwongera okusingako awo

16

كَلَّآۖ إِنَّهُۥ كَانَ لِأٓيَٰتِنَا عَنِيدٗا

Nedda sijja kumwongera kuba yawakanya ebigambo byaffe (Kur'ani)

17

سَأُرۡهِقُهُۥ صَعُودًا

Nja kumussaako e bibonerezo e bizito

18

إِنَّهُۥ فَكَّرَ وَقَدَّرَ

Anti mazima yye (Al Walid bin Mugiira) yalowooza era naasalawo okuvvoola Kur'ani

19

فَقُتِلَ كَيۡفَ قَدَّرَ

Nakolimirwa okusinziira ku ngeri gyeyasalawo

20

ثُمَّ قُتِلَ كَيۡفَ قَدَّرَ

Era ddala yakolimirwa ku ngeri gyeyasalawo

21

ثُمَّ نَظَرَ

Oluvanyuma yakirowozaako

22

ثُمَّ عَبَسَ وَبَسَرَ

Olwo nno ne yeekaba najja emitaafu

23

ثُمَّ أَدۡبَرَ وَٱسۡتَكۡبَرَ

Ne kyaddirira ebituufu yabivaako neyekuluntaza

24

فَقَالَ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا سِحۡرٞ يُؤۡثَرُ

Olwo nno n'alangirira nti e bigambo bya Muhammad temuli wabula ddogo erijjibwa ku balogo abasooka

25

إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا قَوۡلُ ٱلۡبَشَرِ

Era byayogera tebisukka ku kuba bigambo bya muntu

26

سَأُصۡلِيهِ سَقَرَ

(Katonda naagamba nti:) nja kumuyingiza omuliro Sakara

27

وَمَآ أَدۡرَىٰكَ مَا سَقَرُ

Naye omanyi Sakara kyeki

28

لَا تُبۡقِي وَلَا تَذَرُ

Gwo muliro ogutagenda kulekawo kintu wadde okukitaliza

29

لَوَّاحَةٞ لِّلۡبَشَرِ

Gwokera ddala negusiriiza eddiba lyomuntu

30

عَلَيۡهَا تِسۡعَةَ عَشَرَ

Gukuumibwa ba Malayika kkumi na mwenda

31

وَمَا جَعَلۡنَآ أَصۡحَٰبَ ٱلنَّارِ إِلَّا مَلَـٰٓئِكَةٗۖ وَمَا جَعَلۡنَا عِدَّتَهُمۡ إِلَّا فِتۡنَةٗ لِّلَّذِينَ كَفَرُواْ لِيَسۡتَيۡقِنَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ وَيَزۡدَادَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِيمَٰنٗا وَلَا يَرۡتَابَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡمُؤۡمِنُونَ وَلِيَقُولَ ٱلَّذِينَ فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٞ وَٱلۡكَٰفِرُونَ مَاذَآ أَرَادَ ٱللَّهُ بِهَٰذَا مَثَلٗاۚ كَذَٰلِكَ يُضِلُّ ٱللَّهُ مَن يَشَآءُ وَيَهۡدِي مَن يَشَآءُۚ وَمَا يَعۡلَمُ جُنُودَ رَبِّكَ إِلَّا هُوَۚ وَمَا هِيَ إِلَّا ذِكۡرَىٰ لِلۡبَشَرِ

Ate omulimu gwokukuuma omuliro tetwaguwa okugyako ba Malayika, era omuwendo gwabwe tetwaguteekawo okugyako nga kikemo eri abatakkiriza Katonda, so nga abo abaweebwa ekitabo ekyo kibongera kukakasa (ebyo bye baalina), ate bo abakkiriza (abagoberezi ba Nabbi Muhammad) kyongera kunyweza bukkiriza bwabwe, era abaweebwa ekitabo n'abakkiriza babe nga tebasigalamu kakunkuna, wabula nga (abanafunsi) abalina obulwadde mu mitima gyabwe n'abatakkiriza bagamba nti Katonda kiki kyagenderera mu kifananyi kino, bwatyo nno Katonda abuza nalungamya oyo gwaba ayagadde, ate tewali amanyi ggye lya Mukama Katondawo okugyako yye, ebyo byonna ebyogeddwa tewali kibigendererwamu okugyako okubuulirira omuntu

32

كَلَّا وَٱلۡقَمَرِ

Nedda (tekiri ng'abantu abamu bwe balowooza), mazima ndayidde omwezi

33

وَٱلَّيۡلِ إِذۡ أَدۡبَرَ

Ne ndayira n'ekiro mu kiseera we kiggwerako

34

وَٱلصُّبۡحِ إِذَآ أَسۡفَرَ

Ne ndayira n'amakya ngabusasaana

35

إِنَّهَا لَإِحۡدَى ٱلۡكُبَرِ

Mazima ggwo (omuliro Sakara) kye kimu ku binene

36

نَذِيرٗا لِّلۡبَشَرِ

Ebyandibadde bibuulirira omuntu

37

لِمَن شَآءَ مِنكُمۡ أَن يَتَقَدَّمَ أَوۡ يَتَأَخَّرَ

Eri oyo aba ayagadde mu mmwe okudda eri Katondawe oba okumwesamba

38

كُلُّ نَفۡسِۭ بِمَا كَسَبَتۡ رَهِينَةٌ

Buli muntu agenda kubeera musingo gwa mirimugye

39

إِلَّآ أَصۡحَٰبَ ٱلۡيَمِينِ

Okugyako abo abalibeera ku mukono ogwaddyo

40

فِي جَنَّـٰتٖ يَتَسَآءَلُونَ

Bagenda kubeera mu jjana nga babuuza ebifa

41

عَنِ ٱلۡمُجۡرِمِينَ

Ku bonoonyi

42

مَا سَلَكَكُمۡ فِي سَقَرَ

Nga babagamba nti ki ekibayingizza omuliro

43

قَالُواْ لَمۡ نَكُ مِنَ ٱلۡمُصَلِّينَ

Baligamba nti tetubangako mu basaaze

44

وَلَمۡ نَكُ نُطۡعِمُ ٱلۡمِسۡكِينَ

Era tetwaliisanga banaku

45

وَكُنَّا نَخُوضُ مَعَ ٱلۡخَآئِضِينَ

Twabeeranga nabakubi bambekuulo

46

وَكُنَّا نُكَذِّبُ بِيَوۡمِ ٱلدِّينِ

Era twali tulimbisa olunaku lw'enkomerero

47

حَتَّىٰٓ أَتَىٰنَا ٱلۡيَقِينُ

Okutuusa okufa lw'ekwatutuukako

48

فَمَا تَنفَعُهُمۡ شَفَٰعَةُ ٱلشَّـٰفِعِينَ

Kale tebagenda kuganyulwa mu kuwolereza kwa bawolereza

49

فَمَا لَهُمۡ عَنِ ٱلتَّذۡكِرَةِ مُعۡرِضِينَ

Kakano kiki ekibaddusa okuva ku kubuulirira kwa (Kur'ani kuno)

50

كَأَنَّهُمۡ حُمُرٞ مُّسۡتَنفِرَةٞ

Nga balinga entulege ezigobeddwa

51

فَرَّتۡ مِن قَسۡوَرَةِۭ

Ezidduka e mpologoma

52

بَلۡ يُرِيدُ كُلُّ ٱمۡرِيٕٖ مِّنۡهُمۡ أَن يُؤۡتَىٰ صُحُفٗا مُّنَشَّرَةٗ

Wabula buli omu mubo ayagala aweebwe ebiwandiiko ebibikuddwa

53

كَلَّاۖ بَل لَّا يَخَافُونَ ٱلۡأٓخِرَةَ

Nedda ekituufu kiri nti bbo tebakkiriza nkomerero

54

كَلَّآ إِنَّهُۥ تَذۡكِرَةٞ

Mazima ddala yo (Kur'ani) kyakubuulirira

55

فَمَن شَآءَ ذَكَرَهُۥ

Oyo aba ayagadde yeebulirira nayo

56

وَمَا يَذۡكُرُونَ إِلَّآ أَن يَشَآءَ ٱللَّهُۚ هُوَ أَهۡلُ ٱلتَّقۡوَىٰ وَأَهۡلُ ٱلۡمَغۡفِرَةِ

Wabula tebayinza kwebuulirira okugyako nga Katonda ayagadde, yye ye nanyini kutiibwa era ye nanyini kusonyiwa