Home
An-Nasr
النصر
Translation by Sheikh Abdul Razak Matovu
بِسْمِ اللَّهِ الرَّحْمَٰنِ الرَّحِيمِ
1
إِذَا جَآءَ نَصۡرُ ٱللَّهِ وَٱلۡفَتۡحُ
Okutaasa kwa Katonda n’obuwanguzi bwe bijjanga
2
وَرَأَيۡتَ ٱلنَّاسَ يَدۡخُلُونَ فِي دِينِ ٱللَّهِ أَفۡوَاجٗا
N’olaba abantu nga bayingira e ddiini ya Katonda mu bibinja
3
فَسَبِّحۡ بِحَمۡدِ رَبِّكَ وَٱسۡتَغۡفِرۡهُۚ إِنَّهُۥ كَانَ تَوَّابَۢا
Otenderezanga Mukama Katondawo n’ebitendobye, era omwetondere, mazima yye akkiriza okwenenya