Home

Ash-Sharh

الشرح

Translation by Sheikh Abdul Razak Matovu

Surah 94

بِسْمِ اللَّهِ الرَّحْمَٰنِ الرَّحِيمِ

1

أَلَمۡ نَشۡرَحۡ لَكَ صَدۡرَكَ

Tetwakwanjululiza ekifubakyo (eri obwa Nabbi n’okumanya ebigambo eby’amagezi)

2

وَوَضَعۡنَا عَنكَ وِزۡرَكَ

Ne tukuwewulira obuzito obwakuliko

3

ٱلَّذِيٓ أَنقَضَ ظَهۡرَكَ

Obuzito obwo obwalibadde bukubendula omugongo

4

وَرَفَعۡنَا لَكَ ذِكۡرَكَ

Era ne tukuwa okwogerwako

5

فَإِنَّ مَعَ ٱلۡعُسۡرِ يُسۡرًا

(Kisaana kitegerekeke nti) mazima ddala buli awabeera obuzibu, wabaawo obwangu

6

إِنَّ مَعَ ٱلۡعُسۡرِ يُسۡرٗا

Mazima ddala buli awabeera obuzibu wabaawo obwangu

7

فَإِذَا فَرَغۡتَ فَٱنصَبۡ

Bwoba nga omaze okukola emirimu (egikuyimirizaawo ku nsi) olwo nno yimirira (osinze Katondawo)

8

وَإِلَىٰ رَبِّكَ فَٱرۡغَب

Era eri Omuleziwo Katonda, gy’oba oteeka e ssuubilyo lyonna