Home

Nuh

نوح

Translation by Sheikh Abdul Razak Matovu

Surah 71

بِسْمِ اللَّهِ الرَّحْمَٰنِ الرَّحِيمِ

1

إِنَّآ أَرۡسَلۡنَا نُوحًا إِلَىٰ قَوۡمِهِۦٓ أَنۡ أَنذِرۡ قَوۡمَكَ مِن قَبۡلِ أَن يَأۡتِيَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ

Mazima ffe twatuma Nuhu eri abantu be. Nti tiisa abantubo nga ebibonerezo abiruma ennyo tebinabajjira

2

قَالَ يَٰقَوۡمِ إِنِّي لَكُمۡ نَذِيرٞ مُّبِينٌ

Naabagamba nti mazima nze ndi mutiisa omunnyonnyozi

3

أَنِ ٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ وَٱتَّقُوهُ وَأَطِيعُونِ

Nti musinze Katonda era mu mutye nange mungondere

4

يَغۡفِرۡ لَكُم مِّن ذُنُوبِكُمۡ وَيُؤَخِّرۡكُمۡ إِلَىٰٓ أَجَلٖ مُّسَمًّىۚ إِنَّ أَجَلَ ٱللَّهِ إِذَا جَآءَ لَا يُؤَخَّرُۚ لَوۡ كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ

Olwo nno ajja kubasonyiwa ebyonoono byammwe (bye mwakola nga temunnaba kukkiriza mubaka era alyoke abawonye okuzikirira n'ebibonerezo ebibamalawo olumu). Abalindirize abatuuse ku ntuuko ze yabagerera. Mazima entuuko za Katonda bweziba zituuse tezirindirizibwa singa muba mumanyi

5

قَالَ رَبِّ إِنِّي دَعَوۡتُ قَوۡمِي لَيۡلٗا وَنَهَارٗا

Awamu nekyo tebakkiriza", Nuhu naagamba nti ayi Katonda wange nkowodde abantu bange ekiro n'emisana

6

فَلَمۡ يَزِدۡهُمۡ دُعَآءِيٓ إِلَّا فِرَارٗا

Wabula okukowoola kwange tekubongedde okugyako okunnesamba

7

وَإِنِّي كُلَّمَا دَعَوۡتُهُمۡ لِتَغۡفِرَ لَهُمۡ جَعَلُوٓاْ أَصَٰبِعَهُمۡ فِيٓ ءَاذَانِهِمۡ وَٱسۡتَغۡشَوۡاْ ثِيَابَهُمۡ وَأَصَرُّواْ وَٱسۡتَكۡبَرُواْ ٱسۡتِكۡبَارٗا

Mazima buli lwembadde mbakowoola badde eri okusonyiwa kwo bassa ennwe zaabwe mu matu gaabwe, ne beebikka engoye zaabwe, ne bakalambira era ne beekuluntaza olw'ekuluntaza

8

ثُمَّ إِنِّي دَعَوۡتُهُمۡ جِهَارٗا

Ate era mazima mbakowodde mulwatu

9

ثُمَّ إِنِّيٓ أَعۡلَنتُ لَهُمۡ وَأَسۡرَرۡتُ لَهُمۡ إِسۡرَارٗا

Era njogedde nabo mu lujjudde nga bwenjogedde nabo kinnomu

10

فَقُلۡتُ ٱسۡتَغۡفِرُواْ رَبَّكُمۡ إِنَّهُۥ كَانَ غَفَّارٗا

Nembagamba nti mwegayirire Katonda wa mmwe anti mazima yye bulijjo musonyiyi

11

يُرۡسِلِ ٱلسَّمَآءَ عَلَيۡكُم مِّدۡرَارٗا

Olwonno ajja kubatonnyeseza enkuba ey'omuddiringanwa

12

وَيُمۡدِدۡكُم بِأَمۡوَٰلٖ وَبَنِينَ وَيَجۡعَل لَّكُمۡ جَنَّـٰتٖ وَيَجۡعَل لَّكُمۡ أَنۡهَٰرٗا

Era abawe mu bungi emmaali n'abaana abawe n'amasamba abateeremu n'emigga

13

مَّا لَكُمۡ لَا تَرۡجُونَ لِلَّهِ وَقَارٗا

Naye lwaki Katonda temumuwa kitiibwa

14

وَقَدۡ خَلَقَكُمۡ أَطۡوَارًا

Sso nga yabatonda ngabayisa mumitendera egyenjawulo

15

أَلَمۡ تَرَوۡاْ كَيۡفَ خَلَقَ ٱللَّهُ سَبۡعَ سَمَٰوَٰتٖ طِبَاقٗا

Abaffe temulaba engeri Katondawo gyeyakolamu eggulu omusanvu nga myaliiro

16

وَجَعَلَ ٱلۡقَمَرَ فِيهِنَّ نُورٗا وَجَعَلَ ٱلشَّمۡسَ سِرَاجٗا

Nassaamu omwezi nga kitangaala nga bweyassamu enjuba nga eyaka

17

وَٱللَّهُ أَنۢبَتَكُم مِّنَ ٱلۡأَرۡضِ نَبَاتٗا

Katonda yabatandika ng'abajja muttaka nemujja nga mukula nga ebimera bwe bikula

18

ثُمَّ يُعِيدُكُمۡ فِيهَا وَيُخۡرِجُكُمۡ إِخۡرَاجٗا

Oluvanyuma abazza mu ttaka nga era bwagenda okubazuukiza alibagyemu bulambalamba (nga temuyise mu mitendera nga ebimera)

19

وَٱللَّهُ جَعَلَ لَكُمُ ٱلۡأَرۡضَ بِسَاطٗا

Era Katonda yabateerawo ensi nga esoboka okuwangalirwako

20

لِّتَسۡلُكُواْ مِنۡهَا سُبُلٗا فِجَاجٗا

Mube nga musobola okutambulira muyo nga mukwata amakubo ge muba mwagadde

21

قَالَ نُوحٞ رَّبِّ إِنَّهُمۡ عَصَوۡنِي وَٱتَّبَعُواْ مَن لَّمۡ يَزِدۡهُ مَالُهُۥ وَوَلَدُهُۥٓ إِلَّا خَسَارٗا

Nuhu kwekugamba nti, ayi mukama wange mazima ddala abantu abo banjemedde nebasalawo okugoberera oyo yenna emmaali ye n'abaana be bebitayongera okugyako okufafaganirwa

22

وَمَكَرُواْ مَكۡرٗا كُبَّارٗا

Nebakola olukwe sinziggu (bwebagezaako okutta Nuhu)

23

وَقَالُواْ لَا تَذَرُنَّ ءَالِهَتَكُمۡ وَلَا تَذَرُنَّ وَدّٗا وَلَا سُوَاعٗا وَلَا يَغُوثَ وَيَعُوقَ وَنَسۡرٗا

Era nebagamba nti temugeza nemuva ku ba Katonda ba mmwe naddala Wadda ne Suwa'a ne Yagutha ne Yauka ne Nasira

24

وَقَدۡ أَضَلُّواْ كَثِيرٗاۖ وَلَا تَزِدِ ٱلظَّـٰلِمِينَ إِلَّا ضَلَٰلٗا

Olwekyo baabuza abantu bangi (Nange kyenva nkusaba nti) mukama Katonda abantu abeyisa obubi tobongera okugyako kubula

25

مِّمَّا خَطِيٓـَٰٔتِهِمۡ أُغۡرِقُواْ فَأُدۡخِلُواْ نَارٗا فَلَمۡ يَجِدُواْ لَهُم مِّن دُونِ ٱللَّهِ أَنصَارٗا

Olwobwonoonyi bwabwe baazikiziribwa nebayingizibwa omuliro baali tebayinza kufuna abataasa yenna

26

وَقَالَ نُوحٞ رَّبِّ لَا تَذَرۡ عَلَى ٱلۡأَرۡضِ مِنَ ٱلۡكَٰفِرِينَ دَيَّارًا

Ye Nuhu kwekugamba nti, ayi Katonda wange toleka kunsi mukafiiri yenna

27

إِنَّكَ إِن تَذَرۡهُمۡ يُضِلُّواْ عِبَادَكَ وَلَا يَلِدُوٓاْ إِلَّا فَاجِرٗا كَفَّارٗا

Anti singa obalekawo bajja kubuza abaddu bo era buli gwebanazaala ajja kuba mwononefu omukafiiri

28

رَّبِّ ٱغۡفِرۡ لِي وَلِوَٰلِدَيَّ وَلِمَن دَخَلَ بَيۡتِيَ مُؤۡمِنٗا وَلِلۡمُؤۡمِنِينَ وَٱلۡمُؤۡمِنَٰتِۖ وَلَا تَزِدِ ٱلظَّـٰلِمِينَ إِلَّا تَبَارَۢا

Ayi Mukama Katonda wange nsonyiwa ne bakadde bange na buli yenna anaayingira mu nju yange kavuna anaaba nga mukkiriza, era nkusaba osonyiwe abakkiriza abasajja n'abakkiriza abakazi, wabula bo abeeyisa obubi tobongera okugyako okuzikirira