Home

Ash-Shu'ara

الشعراء

Translation by Sheikh Abdul Razak Matovu

Surah 26

بِسْمِ اللَّهِ الرَّحْمَٰنِ الرَّحِيمِ

1

طسٓمٓ

Twaa Siin Miim

2

تِلۡكَ ءَايَٰتُ ٱلۡكِتَٰبِ ٱلۡمُبِينِ

Ebyo bye bigambo by'ekitabo ekinnyonnyola

3

لَعَلَّكَ بَٰخِعٞ نَّفۡسَكَ أَلَّا يَكُونُواْ مُؤۡمِنِينَ

Olabika nga ayagala okwetta olw'okuba bagaanye okuba abakkiriza

4

إِن نَّشَأۡ نُنَزِّلۡ عَلَيۡهِم مِّنَ ٱلسَّمَآءِ ءَايَةٗ فَظَلَّتۡ أَعۡنَٰقُهُمۡ لَهَا خَٰضِعِينَ

Singa twagadde twandissizza ku bo okuva mu ggulu akabonero, ensingo zaabwe nezikugondera olubeerera

5

وَمَا يَأۡتِيهِم مِّن ذِكۡرٖ مِّنَ ٱلرَّحۡمَٰنِ مُحۡدَثٍ إِلَّا كَانُواْ عَنۡهُ مُعۡرِضِينَ

Tewali bubaka bwonna bupya kuva wa Katonda Omusaasizi ennyo wabula bo babuwakanya

6

فَقَدۡ كَذَّبُواْ فَسَيَأۡتِيهِمۡ أَنۢبَـٰٓؤُاْ مَا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ

Nebaba nga mazima balimbisa, bigenda kubajjira ebigambo ebyo bye baali bajeeja

7

أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ إِلَى ٱلۡأَرۡضِ كَمۡ أَنۢبَتۡنَا فِيهَا مِن كُلِّ زَوۡجٖ كَرِيمٍ

Abaffe tebatunuulira nsi ne balaba bimeka bye twameza mu yo mu buli mutindo oguvaamu emigaso

8

إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ

Mazima mu ekyo ddala mulimu akabonero (akalaga obuyinza bwaffe), wabula bangi mu bo tebakkiriza

9

وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ

Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi ennyo

10

وَإِذۡ نَادَىٰ رَبُّكَ مُوسَىٰٓ أَنِ ٱئۡتِ ٱلۡقَوۡمَ ٱلظَّـٰلِمِينَ

Era jjukira ekiseera Mukama omulabiriziwo bwe yakoowoola Musa (naamulagira) nti: genda eri abantu abeeyisa obubi

11

قَوۡمَ فِرۡعَوۡنَۚ أَلَا يَتَّقُونَ

Abantu ba Firaawo (obagambe nti) abaffe tebatya Katonda

12

قَالَ رَبِّ إِنِّيٓ أَخَافُ أَن يُكَذِّبُونِ

(Musa) naagamba nti: mazima nze ntya okuba nga bannimbisa

13

وَيَضِيقُ صَدۡرِي وَلَا يَنطَلِقُ لِسَانِي فَأَرۡسِلۡ إِلَىٰ هَٰرُونَ

Ekifuba kyange ne kifunda olulimi lwange ne rutayatula, n'olwekyo lagira Haruna (annyambeko)

14

وَلَهُمۡ عَلَيَّ ذَنۢبٞ فَأَخَافُ أَن يَقۡتُلُونِ

Ate banninako omusango, ntya nti bayinza okunzita

15

قَالَ كَلَّاۖ فَٱذۡهَبَا بِـَٔايَٰتِنَآۖ إِنَّا مَعَكُم مُّسۡتَمِعُونَ

(Katonda) naagamba nti nedda mugende n'obubonero bwaffe mazima ffe tuli wamu na mmwe tuwulira (tugoberera buli ekigenda mu maaso)

16

فَأۡتِيَا فِرۡعَوۡنَ فَقُولَآ إِنَّا رَسُولُ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

Mugende ewa Firaawo mumugambe nti mazima ffe tutumiddwa Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna

17

أَنۡ أَرۡسِلۡ مَعَنَا بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ

(Atugambye nti) tuwe abaana ba Israil tugende nabo

18

قَالَ أَلَمۡ نُرَبِّكَ فِينَا وَلِيدٗا وَلَبِثۡتَ فِينَا مِنۡ عُمُرِكَ سِنِينَ

(Firaawo) naagamba nti tetwakukuliza mu ffe okuva nga oli mwana muto, era nga wawangaalira mu ffe emyaka mingi ku buwangaazibwo

19

وَفَعَلۡتَ فَعۡلَتَكَ ٱلَّتِي فَعَلۡتَ وَأَنتَ مِنَ ٱلۡكَٰفِرِينَ

Era nookola ekikolwakyo ekyo kye wakola e kyakufuula okuba mu batasiima bye bakolerwa

20

قَالَ فَعَلۡتُهَآ إِذٗا وَأَنَا۠ مِنَ ٱلضَّآلِّينَ

(Musa) naagamba nti nnakikola bwe nnali nkyali mu babuze

21

فَفَرَرۡتُ مِنكُمۡ لَمَّا خِفۡتُكُمۡ فَوَهَبَ لِي رَبِّي حُكۡمٗا وَجَعَلَنِي مِنَ ٱلۡمُرۡسَلِينَ

Olwo nno nembadduka bwe nnabatya, awo Mukama omulabirizi wange nangabira okumanya e nsonga era nanteeka mu babaka

22

وَتِلۡكَ نِعۡمَةٞ تَمُنُّهَا عَلَيَّ أَنۡ عَبَّدتَّ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ

Ne'kyo e kyengera (eky'okundera n'okukulira mu mmwe) okindalaasaako naye nga ggwe abaana ba Israil wabafuula abaddu

23

قَالَ فِرۡعَوۡنُ وَمَا رَبُّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

Firaawo naagamba nti Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna gwoyogerako yaani

24

قَالَ رَبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَآۖ إِن كُنتُم مُّوقِنِينَ

Musa naagamba nti Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi n'ebiri wakati wa byombi bwe muba nga mwetegereza ebintu

25

قَالَ لِمَنۡ حَوۡلَهُۥٓ أَلَا تَسۡتَمِعُونَ

(Firaawo) kwe kugamba abaali naye awo nti: abaffe temuwulira (nga bwabijweteka)

26

قَالَ رَبُّكُمۡ وَرَبُّ ءَابَآئِكُمُ ٱلۡأَوَّلِينَ

(Musa) naagamba nti ye Mukama omulabirizi wa mmwe, era Mukama omulabirizi wa bakadde ba mmwe abaasooka

27

قَالَ إِنَّ رَسُولَكُمُ ٱلَّذِيٓ أُرۡسِلَ إِلَيۡكُمۡ لَمَجۡنُونٞ

(Firaawo) naagamba nti: mazima omubaka wa mmwe oyo eyatumiddwa gye muli mulalu

28

قَالَ رَبُّ ٱلۡمَشۡرِقِ وَٱلۡمَغۡرِبِ وَمَا بَيۡنَهُمَآۖ إِن كُنتُمۡ تَعۡقِلُونَ

(Musa) naagamba nti (ye) Mukama omulabirizi w'ebuvanjuba n'ebugwanjuba n'ebyo ebiri wakati wa byombi singa mubadde mutegeera

29

قَالَ لَئِنِ ٱتَّخَذۡتَ إِلَٰهًا غَيۡرِي لَأَجۡعَلَنَّكَ مِنَ ٱلۡمَسۡجُونِينَ

(Firaawo) naagamba nti mazima singa oteekawo Katonda omulala atali nze nja kukuteera ddala mu b'okusibwa

30

قَالَ أَوَلَوۡ جِئۡتُكَ بِشَيۡءٖ مُّبِينٖ

(Musa) naagamba nti ne bwennaaba nkuleetedde ekintu ekyeyolefu (ekiraga obutuufu bw'ebyo bye ngamba)

31

قَالَ فَأۡتِ بِهِۦٓ إِن كُنتَ مِنَ ٱلصَّـٰدِقِينَ

(Firaawo) naagamba nti kale kireete bwoba nga oli mu boogera amazima

32

فَأَلۡقَىٰ عَصَاهُ فَإِذَا هِيَ ثُعۡبَانٞ مُّبِينٞ

Awo nno Musa naasuula omuggogwe, okugenda okulaba nga musota omweyolefu

33

وَنَزَعَ يَدَهُۥ فَإِذَا هِيَ بَيۡضَآءُ لِلنَّـٰظِرِينَ

Era naggyayo omukonogwe okugenda okulaba nga ggwo gwakaayakanira abalabi

34

قَالَ لِلۡمَلَإِ حَوۡلَهُۥٓ إِنَّ هَٰذَا لَسَٰحِرٌ عَلِيمٞ

(Firaawo) naagamba abo abaali batudde waali nti mazima ono mulogo kafulu

35

يُرِيدُ أَن يُخۡرِجَكُم مِّنۡ أَرۡضِكُم بِسِحۡرِهِۦ فَمَاذَا تَأۡمُرُونَ

Ayagala kubaggya mu nsi yammwe ku lw'eddogolye kati mugamba ki

36

قَالُوٓاْ أَرۡجِهۡ وَأَخَاهُ وَٱبۡعَثۡ فِي ٱلۡمَدَآئِنِ حَٰشِرِينَ

Ne bagamba nti mulagaanyise ne Mugandawe (ddi na wwa) aw'okubasisinkana era otume mu bitundu eby'enjawulo abakungaanya abalogo

37

يَأۡتُوكَ بِكُلِّ سَحَّارٍ عَلِيمٖ

Bajja kukuleetera buli mulogo kakensa

38

فَجُمِعَ ٱلسَّحَرَةُ لِمِيقَٰتِ يَوۡمٖ مَّعۡلُومٖ

Olwo nno abalogo ne bakungaanyizibwa mu kiseera ekiragaane ku lunaku olumanyiddwa

39

وَقِيلَ لِلنَّاسِ هَلۡ أَنتُم مُّجۡتَمِعُونَ

Abantu baagambibwa nti abaffe mmwe munajja

40

لَعَلَّنَا نَتَّبِعُ ٱلسَّحَرَةَ إِن كَانُواْ هُمُ ٱلۡغَٰلِبِينَ

Sikulwa nga tunaagoberera abalogo bwe banaaba bo nga be bawangudde

41

فَلَمَّا جَآءَ ٱلسَّحَرَةُ قَالُواْ لِفِرۡعَوۡنَ أَئِنَّ لَنَا لَأَجۡرًا إِن كُنَّا نَحۡنُ ٱلۡغَٰلِبِينَ

Abalogo bwe bajja baagamba Firaawo nti mazima tuteekwa okuweebwa empeera bwe tunaaba nga ffe tuwangudde

42

قَالَ نَعَمۡ وَإِنَّكُمۡ إِذٗا لَّمِنَ ٱلۡمُقَرَّبِينَ

(Firaawo) naagamba nti weewaawo era mazima mmwe singa kinaaba bwe kityo mujja kubeera ba ku lusegere

43

قَالَ لَهُم مُّوسَىٰٓ أَلۡقُواْ مَآ أَنتُم مُّلۡقُونَ

Musa naabagamba nti kale mwanje kye mwanja

44

فَأَلۡقَوۡاْ حِبَالَهُمۡ وَعِصِيَّهُمۡ وَقَالُواْ بِعِزَّةِ فِرۡعَوۡنَ إِنَّا لَنَحۡنُ ٱلۡغَٰلِبُونَ

Nebasuula e miguwa gya bwe n'emiggo gya bwe era ne bagamba nti ku lw'ekitiibwa kya Firaawo mazima ffe tujja okuwangula

45

فَأَلۡقَىٰ مُوسَىٰ عَصَاهُ فَإِذَا هِيَ تَلۡقَفُ مَا يَأۡفِكُونَ

Olwo nno Musa naasuula omuggogwe okugenda okulaba nga gwo gumira buli kye baali bagunjizzaawo

46

فَأُلۡقِيَ ٱلسَّحَرَةُ سَٰجِدِينَ

Awo nno abalogo ne beeyala nga bavunnama

47

قَالُوٓاْ ءَامَنَّا بِرَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

Nebagamba nti tukkirizza Mukama Omulabirizi w'ebitonde

48

رَبِّ مُوسَىٰ وَهَٰرُونَ

Mukama omulabirizi wa Musa ne Haruna

49

قَالَ ءَامَنتُمۡ لَهُۥ قَبۡلَ أَنۡ ءَاذَنَ لَكُمۡۖ إِنَّهُۥ لَكَبِيرُكُمُ ٱلَّذِي عَلَّمَكُمُ ٱلسِّحۡرَ فَلَسَوۡفَ تَعۡلَمُونَۚ لَأُقَطِّعَنَّ أَيۡدِيَكُمۡ وَأَرۡجُلَكُم مِّنۡ خِلَٰفٖ وَلَأُصَلِّبَنَّكُمۡ أَجۡمَعِينَ

Firaawo naagamba nti: mukkirizza byagamba nga sinnaba kubawa lukusa, (kirabika) nti mazima yye ye mukulu wa mmwe oyo eyabayigiriza eddogo, kale nno mujja kukitegeera, nja ku bakutulako e mikono gya mmwe n'amagulu ga mmwe nga bwe nkuggyako okugulu okwa ddyo, omukono nkuggyako gwa kkono, era ddala mwenna nja ku bakomerera ku musaalaba

50

قَالُواْ لَا ضَيۡرَۖ إِنَّآ إِلَىٰ رَبِّنَا مُنقَلِبُونَ

Ne bagamba nti ekyo tekiriimu buzibu, (anti) mazima ffe tujja kuba tudda eri Mukama omulabirizi waffe

51

إِنَّا نَطۡمَعُ أَن يَغۡفِرَ لَنَا رَبُّنَا خَطَٰيَٰنَآ أَن كُنَّآ أَوَّلَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ

Mazima ffe tululunkanira okuba nga Mukama omulabirizi waffe atusonyiwa ebyonoono byaffe bwe tuba nga ffe abakkiriza abasooka

52

۞وَأَوۡحَيۡنَآ إِلَىٰ مُوسَىٰٓ أَنۡ أَسۡرِ بِعِبَادِيٓ إِنَّكُم مُّتَّبَعُونَ

Era netutumira Musa nti tambula ekiro n'abaddu bange, mazima mmwe mujja kulondoolwa

53

فَأَرۡسَلَ فِرۡعَوۡنُ فِي ٱلۡمَدَآئِنِ حَٰشِرِينَ

Firaawo naatuma mu bibuga abakungaanya (eggye era naagamba nti)

54

إِنَّ هَـٰٓؤُلَآءِ لَشِرۡذِمَةٞ قَلِيلُونَ

Mazima abo kabiina ka bantu batono

55

وَإِنَّهُمۡ لَنَا لَغَآئِظُونَ

Era mazima bbo batunyiizizza

56

وَإِنَّا لَجَمِيعٌ حَٰذِرُونَ

Era nga bulijjo mazima ffe nga tukolera wamu tuli abantu abeekengera

57

فَأَخۡرَجۡنَٰهُم مِّن جَنَّـٰتٖ وَعُيُونٖ

(Okusinziira ku nteekateeka zaabwe ne bye bakola ate) twabaggya mu malimiro ne nsulo ezikulukuta

58

وَكُنُوزٖ وَمَقَامٖ كَرِيمٖ

N'amawanika n'ebifo eby'ekitiibwa

59

كَذَٰلِكَۖ وَأَوۡرَثۡنَٰهَا بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ

Bwe tutyo nno ne tubisikiza abaana ba Israil

60

فَأَتۡبَعُوهُم مُّشۡرِقِينَ

Olwo nno nebabagoberera nga busaasaana

61

فَلَمَّا تَرَـٰٓءَا ٱلۡجَمۡعَانِ قَالَ أَصۡحَٰبُ مُوسَىٰٓ إِنَّا لَمُدۡرَكُونَ

Ebibinja byombi bwe byalengeragana abantu ba Musa baagamba nti mazima ffe bajja kutukwata (batutte)

62

قَالَ كَلَّآۖ إِنَّ مَعِيَ رَبِّي سَيَهۡدِينِ

(Musa) naagamba nti nedda mazima Mukama omulabirizi wange ali nange ajja kundaga eky'okukola

63

فَأَوۡحَيۡنَآ إِلَىٰ مُوسَىٰٓ أَنِ ٱضۡرِب بِّعَصَاكَ ٱلۡبَحۡرَۖ فَٱنفَلَقَ فَكَانَ كُلُّ فِرۡقٖ كَٱلطَّوۡدِ ٱلۡعَظِيمِ

Awo nno ne tutumira Musa nti kuba omuggogwo ku nnyanja, olwo neebajjukamu, buli kibajjo ne kiba nga olusozi olunene

64

وَأَزۡلَفۡنَا ثَمَّ ٱلۡأٓخَرِينَ

Netusembeza awo abalala (Firaawo ne ggyerye nabo ne bayingira e kkubo Musa lye yakuba ku nnyanja)

65

وَأَنجَيۡنَا مُوسَىٰ وَمَن مَّعَهُۥٓ أَجۡمَعِينَ

Netuwonya Musa n'abaali naye bonna

66

ثُمَّ أَغۡرَقۡنَا ٱلۡأٓخَرِينَ

Oluvanyuma ne tuzikiriza abasigadde

67

إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ

Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebaali bakkiriza

68

وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ

Era mazima Mukama omulabiriziwo yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi

69

وَٱتۡلُ عَلَيۡهِمۡ نَبَأَ إِبۡرَٰهِيمَ

Era basomere ebigambo ebikwata ku Ibrahim

70

إِذۡ قَالَ لِأَبِيهِ وَقَوۡمِهِۦ مَا تَعۡبُدُونَ

Bwe yagamba kitaawe n'abantu be nti musinza biki

71

قَالُواْ نَعۡبُدُ أَصۡنَامٗا فَنَظَلُّ لَهَا عَٰكِفِينَ

Nebagamba nti tusinza amasanamu tubeera we gali era ne tugawa ebiseera bingi mu kugasinza

72

قَالَ هَلۡ يَسۡمَعُونَكُمۡ إِذۡ تَدۡعُونَ

(Ibrahim) naagamba nti abaffe bwe musaba gabawulira

73

أَوۡ يَنفَعُونَكُمۡ أَوۡ يَضُرُّونَ

Oba gabagasa oba gasobola okubatuusaako akabi

74

قَالُواْ بَلۡ وَجَدۡنَآ ءَابَآءَنَا كَذَٰلِكَ يَفۡعَلُونَ

Nebagamba nti nedda wabula bwe tutyo bakadde baffe bye twasanga bakola

75

قَالَ أَفَرَءَيۡتُم مَّا كُنتُمۡ تَعۡبُدُونَ

Naagamba nti mulaba ebyo bye musinza

76

أَنتُمۡ وَءَابَآؤُكُمُ ٱلۡأَقۡدَمُونَ

Mmwe ne bakadde ba mmwe abaabakulembera

77

فَإِنَّهُمۡ عَدُوّٞ لِّيٓ إِلَّا رَبَّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

Mazima byo balabe bange, okugyako Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna

78

ٱلَّذِي خَلَقَنِي فَهُوَ يَهۡدِينِ

Oyo eyantonda, yye y'annungamya

79

وَٱلَّذِي هُوَ يُطۡعِمُنِي وَيَسۡقِينِ

Era yye yooyo andiisa nannyweesa

80

وَإِذَا مَرِضۡتُ فَهُوَ يَشۡفِينِ

Era bwe ndwala yye y'amponya

81

وَٱلَّذِي يُمِيتُنِي ثُمَّ يُحۡيِينِ

Era yooyo anzita ate nampa obulamu

82

وَٱلَّذِيٓ أَطۡمَعُ أَن يَغۡفِرَ لِي خَطِيٓـَٔتِي يَوۡمَ ٱلدِّينِ

Era yye gwe ndulunkanira abe nga ansonyiwa ebyonoono byange ku lunaku lw'okusasulwa

83

رَبِّ هَبۡ لِي حُكۡمٗا وَأَلۡحِقۡنِي بِٱلصَّـٰلِحِينَ

Ayi Mukama omulabirizi ngabira okumanya ensonga era onsisinkanye abalongoofu

84

وَٱجۡعَل لِّي لِسَانَ صِدۡقٖ فِي ٱلۡأٓخِرِينَ

Era onteerewo okwogerwako obulungi mu balijja oluvanyuma

85

وَٱجۡعَلۡنِي مِن وَرَثَةِ جَنَّةِ ٱلنَّعِيمِ

Era onteeke mu balisikira e jjana ey'ebyengera

86

وَٱغۡفِرۡ لِأَبِيٓ إِنَّهُۥ كَانَ مِنَ ٱلضَّآلِّينَ

Era sonyiwa Kitange mazima yye yali mu babuze

87

وَلَا تُخۡزِنِي يَوۡمَ يُبۡعَثُونَ

Era tonswazanga olunaku lwe balizuukizibwa

88

يَوۡمَ لَا يَنفَعُ مَالٞ وَلَا بَنُونَ

Olunaku emmaali n'abaana lwe bitaligasa

89

إِلَّا مَنۡ أَتَى ٱللَّهَ بِقَلۡبٖ سَلِيمٖ

Okugyako (aliganyulwa) yooyo alijja ewa Katonda n'omutima omuyonjo

90

وَأُزۡلِفَتِ ٱلۡجَنَّةُ لِلۡمُتَّقِينَ

E jjana erisembezebwa eri abatya Katonda

91

وَبُرِّزَتِ ٱلۡجَحِيمُ لِلۡغَاوِينَ

N'omuliro ne gulagibwa eri ababuze

92

وَقِيلَ لَهُمۡ أَيۡنَ مَا كُنتُمۡ تَعۡبُدُونَ

Era bagenda kugambibwa nti biriwa ebyo bye mwasinzanga

93

مِن دُونِ ٱللَّهِ هَلۡ يَنصُرُونَكُمۡ أَوۡ يَنتَصِرُونَ

Ne muleka Katonda, abaffe bisobola okubataasa oba byo bisobola okwetaasa

94

فَكُبۡكِبُواْ فِيهَا هُمۡ وَٱلۡغَاوُۥنَ

Olwo nno ne bakasukibwa mu gwo bo n'ababuze

95

وَجُنُودُ إِبۡلِيسَ أَجۡمَعُونَ

Na bonna abali muggye lya Ibuliisu

96

قَالُواْ وَهُمۡ فِيهَا يَخۡتَصِمُونَ

Baligamba nga bali mu gwo nga bakaayagana (nti)

97

تَٱللَّهِ إِن كُنَّا لَفِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٍ

Tulayira Katonda nti mazima ddala twali mu bubuze obw'olwatu

98

إِذۡ نُسَوِّيكُم بِرَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

Bwe twabenkanya (mmwe) ne Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna

99

وَمَآ أَضَلَّنَآ إِلَّا ٱلۡمُجۡرِمُونَ

Era tewali yatubuza okugyako aboonoonyi

100

فَمَا لَنَا مِن شَٰفِعِينَ

N'olwekyo tetulina bawolereza

101

وَلَا صَدِيقٍ حَمِيمٖ

Wadde ow'omukwano alumirwa

102

فَلَوۡ أَنَّ لَنَا كَرَّةٗ فَنَكُونَ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ

Naye singa tubadde tulina omukisa (okudda ku nsi) ne tuba mu bakkiriza

103

إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ

Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza

104

وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ

Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaazizi

105

كَذَّبَتۡ قَوۡمُ نُوحٍ ٱلۡمُرۡسَلِينَ

Abantu ba Nuhu baalimbisa ababaka

106

إِذۡ قَالَ لَهُمۡ أَخُوهُمۡ نُوحٌ أَلَا تَتَّقُونَ

Mu kiseera muganda waabwe Nuhu we yabagambira nti abaffe temutya (Katonda)

107

إِنِّي لَكُمۡ رَسُولٌ أَمِينٞ

Mazima nze gye muli ndi mubaka omwesigwa

108

فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ

Kale mutye Katonda era mungondere

109

وَمَآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ مِنۡ أَجۡرٍۖ إِنۡ أَجۡرِيَ إِلَّا عَلَىٰ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

Era sikibasabirako mpeera, empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna

110

فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ

Kale mutye Katonda era mungondere

111

۞قَالُوٓاْ أَنُؤۡمِنُ لَكَ وَٱتَّبَعَكَ ٱلۡأَرۡذَلُونَ

Nebagamba nti abaffe tukukkirize nga abakugoberedde be ba wansi

112

قَالَ وَمَا عِلۡمِي بِمَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ

Naagamba nti: mmanya ntya bye baali bakola

113

إِنۡ حِسَابُهُمۡ إِلَّا عَلَىٰ رَبِّيۖ لَوۡ تَشۡعُرُونَ

Okubalibwa kwa bwe tekuli okugyako kuli ku Mukama omulabirizi wange singa mubadde mumanyi

114

وَمَآ أَنَا۠ بِطَارِدِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ

Ate nze siri wa kugoba bakkiriza (olw'okuba ba wansi)

115

إِنۡ أَنَا۠ إِلَّا نَذِيرٞ مُّبِينٞ

Nze siri okugyako omutiisa ow'olwatu

116

قَالُواْ لَئِن لَّمۡ تَنتَهِ يَٰنُوحُ لَتَكُونَنَّ مِنَ ٱلۡمَرۡجُومِينَ

Nebagamba nti: owange Nuhu bwo teekomeko ojja kubeerera ddala mu b'okukubwa amayinja

117

قَالَ رَبِّ إِنَّ قَوۡمِي كَذَّبُونِ

Naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mazima abantu bange bannimbisizza

118

فَٱفۡتَحۡ بَيۡنِي وَبَيۡنَهُمۡ فَتۡحٗا وَنَجِّنِي وَمَن مَّعِيَ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ

Kale salawo wakati wange nabo olusalawo olwannamaddala, era omponye owonye n'abakkiriza bendi nabo

119

فَأَنجَيۡنَٰهُ وَمَن مَّعَهُۥ فِي ٱلۡفُلۡكِ ٱلۡمَشۡحُونِ

Ne tumuwonya n'abo abaali naye mu lyato eryali lijjudde

120

ثُمَّ أَغۡرَقۡنَا بَعۡدُ ٱلۡبَاقِينَ

Oluvanyuma twazikiriza abaasigala

121

إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ

Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza

122

وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ

Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi

123

كَذَّبَتۡ عَادٌ ٱلۡمُرۡسَلِينَ

Abantu ba A’di baalimbisa ababaka

124

إِذۡ قَالَ لَهُمۡ أَخُوهُمۡ هُودٌ أَلَا تَتَّقُونَ

Mu kiseera muganda waabwe Hudu lwe yabagamba nti abaffe temutya (Katonda)

125

إِنِّي لَكُمۡ رَسُولٌ أَمِينٞ

Mazima nze gye muli ndi mubaka omwesigwa

126

فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ

Kale mutye Katonda era mungondere

127

وَمَآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ مِنۡ أَجۡرٍۖ إِنۡ أَجۡرِيَ إِلَّا عَلَىٰ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

Era sikibasabirako mpeera empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna

128

أَتَبۡنُونَ بِكُلِّ رِيعٍ ءَايَةٗ تَعۡبَثُونَ

Abaffe muzimba ku buli katunnumba ekijjukizo nga muzannya buzannyi

129

وَتَتَّخِذُونَ مَصَانِعَ لَعَلَّكُمۡ تَخۡلُدُونَ

Era nemweteerawo amayumba amagundiivu nga mulinga abalibeerawo olubeerera

130

وَإِذَا بَطَشۡتُم بَطَشۡتُمۡ جَبَّارِينَ

Ate bwe mukwata (abalabe ba mmwe) mukwata enkwata eya ba kirimaanyi (abanyigiriza bannaabwe)

131

فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ

Kale mutye Katonda era mungondere

132

وَٱتَّقُواْ ٱلَّذِيٓ أَمَدَّكُم بِمَا تَعۡلَمُونَ

Era mutye oyo abagabirira ebyo bye mumanyi

133

أَمَدَّكُم بِأَنۡعَٰمٖ وَبَنِينَ

Abagabirira ebisolo ebirundibwa era n'abaana

134

وَجَنَّـٰتٖ وَعُيُونٍ

N'amalimiro n'emigga

135

إِنِّيٓ أَخَافُ عَلَيۡكُمۡ عَذَابَ يَوۡمٍ عَظِيمٖ

Mazima nze ku lwa mmwe ntya ebibonerezo by'olunaku oluzibu

136

قَالُواْ سَوَآءٌ عَلَيۡنَآ أَوَعَظۡتَ أَمۡ لَمۡ تَكُن مِّنَ ٱلۡوَٰعِظِينَ

Nebagamba nti kyekimu obuuliridde oba toli mu babuulirira

137

إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا خُلُقُ ٱلۡأَوَّلِينَ

Tekiri kino (eky'okubuulirira kwokola) okugyako nkola ya baasooka

138

وَمَا نَحۡنُ بِمُعَذَّبِينَ

Era ffe tetuli ba kubonerezebwa

139

فَكَذَّبُوهُ فَأَهۡلَكۡنَٰهُمۡۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ

Nebamulimbisa olwo nno ne tubazikiriza, mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza

140

وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ

Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi

141

كَذَّبَتۡ ثَمُودُ ٱلۡمُرۡسَلِينَ

Abantu ba Thamud baalimbisa ababaka

142

إِذۡ قَالَ لَهُمۡ أَخُوهُمۡ صَٰلِحٌ أَلَا تَتَّقُونَ

Mu kiseera muganda waabwe Swalehe we yabagambira nti abaffe temutya (Katonda)

143

إِنِّي لَكُمۡ رَسُولٌ أَمِينٞ

Mazima nze gye muli ndi mubaka mwesigwa

144

فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ

Kale mutye Katonda era mungondere

145

وَمَآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ مِنۡ أَجۡرٍۖ إِنۡ أَجۡرِيَ إِلَّا عَلَىٰ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

Era sikibasabirako mpeera empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna

146

أَتُتۡرَكُونَ فِي مَا هَٰهُنَآ ءَامِنِينَ

(Mulowooza nti) mujja kulekebwa mirembe mu bintu ebiri wano

147

فِي جَنَّـٰتٖ وَعُيُونٖ

(Nga muli) mu malimiro n'emigga

148

وَزُرُوعٖ وَنَخۡلٖ طَلۡعُهَا هَضِيمٞ

N'ebimera n'emitende egiweese enkota enzito

149

وَتَنۡحِتُونَ مِنَ ٱلۡجِبَالِ بُيُوتٗا فَٰرِهِينَ

Era nemukola amayumba mu nsozi mu ngeri y'ekikugu

150

فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ

Kale mutye Katonda era mungondere

151

وَلَا تُطِيعُوٓاْ أَمۡرَ ٱلۡمُسۡرِفِينَ

Era temugondera ekigambo ky'abasukka e nsalosalo za Katonda

152

ٱلَّذِينَ يُفۡسِدُونَ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَا يُصۡلِحُونَ

Abo aboonoona mu nsi nebatalongoosa

153

قَالُوٓاْ إِنَّمَآ أَنتَ مِنَ ٱلۡمُسَحَّرِينَ

Nebagamba nti mazima ggwe oli wa mu baloge

154

مَآ أَنتَ إِلَّا بَشَرٞ مِّثۡلُنَا فَأۡتِ بِـَٔايَةٍ إِن كُنتَ مِنَ ٱلصَّـٰدِقِينَ

Toli ggwe okugyako muntu nga ffe, kale leeta akabonero bwoba nga oli mu boogera amazima

155

قَالَ هَٰذِهِۦ نَاقَةٞ لَّهَا شِرۡبٞ وَلَكُمۡ شِرۡبُ يَوۡمٖ مَّعۡلُومٖ

Naagamba nti engamiya yiino, erina okunywa (ku lunaku lwayo) nammwe munywe ku lunaku olumanyiddwa

156

وَلَا تَمَسُّوهَا بِسُوٓءٖ فَيَأۡخُذَكُمۡ عَذَابُ يَوۡمٍ عَظِيمٖ

Temugituusangako kabi ne bibakwata e bibonerezo by'olunaku oluzito

157

فَعَقَرُوهَا فَأَصۡبَحُواْ نَٰدِمِينَ

Wabula baagifumita (neefa) olwo nno ne baba nga bejjusa

158

فَأَخَذَهُمُ ٱلۡعَذَابُۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ

Ebibonerezo ne bibatuukako mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga, naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza

159

وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ

Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi

160

كَذَّبَتۡ قَوۡمُ لُوطٍ ٱلۡمُرۡسَلِينَ

Abantu ba Luutu baalimbisa ababaka

161

إِذۡ قَالَ لَهُمۡ أَخُوهُمۡ لُوطٌ أَلَا تَتَّقُونَ

Mu kiseera Muganda waabwe Luutu we yabagambira nti abaffe temutya (Katonda)

162

إِنِّي لَكُمۡ رَسُولٌ أَمِينٞ

Mazima nze gye muli ndi mubaka omwesigwa

163

فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ

Kale mutye Katonda era mungondere

164

وَمَآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ مِنۡ أَجۡرٍۖ إِنۡ أَجۡرِيَ إِلَّا عَلَىٰ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

Era ssi kibasabirako mpeera empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna

165

أَتَأۡتُونَ ٱلذُّكۡرَانَ مِنَ ٱلۡعَٰلَمِينَ

Abaffe mu bitonde byonna ne mwagalamu basajja

166

وَتَذَرُونَ مَا خَلَقَ لَكُمۡ رَبُّكُم مِّنۡ أَزۡوَٰجِكُمۚ بَلۡ أَنتُمۡ قَوۡمٌ عَادُونَ

Ne muleka ekyo Mukama omulabirizi wa mmwe kye yabatondera mu abo be mwafumbiriganwa nabo, wabula mmwe muli bantu abasukka ebikomo

167

قَالُواْ لَئِن لَّمۡ تَنتَهِ يَٰلُوطُ لَتَكُونَنَّ مِنَ ٱلۡمُخۡرَجِينَ

Nebagamba nti owange Luutu bwoteekomeko ojja kubeerera ddala mu bafulumizibwa (ne bagobwa mu nsi eno)

168

قَالَ إِنِّي لِعَمَلِكُم مِّنَ ٱلۡقَالِينَ

Naagamba nti mazima ndi omu ku batamwa ekikolwa kya mmwe (eky'ebisiyaga)

169

رَبِّ نَجِّنِي وَأَهۡلِي مِمَّا يَعۡمَلُونَ

Ayi Mukama omulabirizi wange mponya n'abantu bange mu ebyo bye bakola

170

فَنَجَّيۡنَٰهُ وَأَهۡلَهُۥٓ أَجۡمَعِينَ

Netumuwonya n'abantu be bonna

171

إِلَّا عَجُوزٗا فِي ٱلۡغَٰبِرِينَ

Okugyako omukazi omukadde omu eyali mu baasigala

172

ثُمَّ دَمَّرۡنَا ٱلۡأٓخَرِينَ

Oluvanyuma twazikiriza abalala (bonna)

173

وَأَمۡطَرۡنَا عَلَيۡهِم مَّطَرٗاۖ فَسَآءَ مَطَرُ ٱلۡمُنذَرِينَ

Netubatonnyesaako enkuba, mazima yali mbi nnyo enkuba y'abo abaalabulwa (ne bateebuulirira)

174

إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ

Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga kinene naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza

175

وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ

Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi

176

كَذَّبَ أَصۡحَٰبُ لۡـَٔيۡكَةِ ٱلۡمُرۡسَلِينَ

Abantu b'o mu kitundu eky'ekibira baalimbisa ababaka

177

إِذۡ قَالَ لَهُمۡ شُعَيۡبٌ أَلَا تَتَّقُونَ

Mu kiseera Swaibu bwe yabagamba nti abaffe temutya (Katonda)

178

إِنِّي لَكُمۡ رَسُولٌ أَمِينٞ

Mazima gye muli ndi Mubaka omwesigwa

179

فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ

Kale mutye Katonda era mungondere

180

وَمَآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ مِنۡ أَجۡرٍۖ إِنۡ أَجۡرِيَ إِلَّا عَلَىٰ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

Era sikibasabirako mpeera empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna

181

۞أَوۡفُواْ ٱلۡكَيۡلَ وَلَا تَكُونُواْ مِنَ ٱلۡمُخۡسِرِينَ

Era mutuukirizenga okupima temubeera mu abo abafiiriza abalala

182

وَزِنُواْ بِٱلۡقِسۡطَاسِ ٱلۡمُسۡتَقِيمِ

Mupimisenga ebipimo ebituufu

183

وَلَا تَبۡخَسُواْ ٱلنَّاسَ أَشۡيَآءَهُمۡ وَلَا تَعۡثَوۡاْ فِي ٱلۡأَرۡضِ مُفۡسِدِينَ

Temukendeerezanga abantu ebintu bya bwe, temukolanga ebibi mu nsi ne muba aboonoonyi

184

وَٱتَّقُواْ ٱلَّذِي خَلَقَكُمۡ وَٱلۡجِبِلَّةَ ٱلۡأَوَّلِينَ

Era mutye oyo eyabatonda n'atonda n'emirembe egyasooka

185

قَالُوٓاْ إِنَّمَآ أَنتَ مِنَ ٱلۡمُسَحَّرِينَ

Nebagamba nti mazima ggwe oli mu baloge

186

وَمَآ أَنتَ إِلَّا بَشَرٞ مِّثۡلُنَا وَإِن نَّظُنُّكَ لَمِنَ ٱلۡكَٰذِبِينَ

Toli ggwe okugyako muntu nga ffe, era tukulowooza okuba nti oli mu balimba

187

فَأَسۡقِطۡ عَلَيۡنَا كِسَفٗا مِّنَ ٱلسَّمَآءِ إِن كُنتَ مِنَ ٱلصَّـٰدِقِينَ

Kale nno tusuuleko ekibajjo okuva waggulu bwoba nga oli mu boogera amazima

188

قَالَ رَبِّيٓ أَعۡلَمُ بِمَا تَعۡمَلُونَ

Naagamba nti Mukama omulabirizi wange yaasinga okumanya ebyo bye mukola

189

فَكَذَّبُوهُ فَأَخَذَهُمۡ عَذَابُ يَوۡمِ ٱلظُّلَّةِۚ إِنَّهُۥ كَانَ عَذَابَ يَوۡمٍ عَظِيمٍ

Wabula baamulimbisa ne bibakwata ebibonerezo ku lunaku ekire lwe kyabasiikiriza. Mazima kyo kyali kibonerezo kya lunaku oluzito

190

إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ

Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza

191

وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ

Era mazima Mukama omulabiriziwo, ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi

192

وَإِنَّهُۥ لَتَنزِيلُ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

Era mazima yyo (Kur’ani) yassibwa Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna

193

نَزَلَ بِهِ ٱلرُّوحُ ٱلۡأَمِينُ

Yakka nayo mwoyo omwesigwa (Jiburilu)

194

عَلَىٰ قَلۡبِكَ لِتَكُونَ مِنَ ٱلۡمُنذِرِينَ

(Naagissa) ku mutima gwo olyoke obe mu batiisa (abantu okukola ebibi)

195

بِلِسَانٍ عَرَبِيّٖ مُّبِينٖ

Nga eri mu lulimi oluwarabu olutegeerekeka

196

وَإِنَّهُۥ لَفِي زُبُرِ ٱلۡأَوَّلِينَ

Era mazima yo eyogerwako mu bitabo eby'edda ebyasooka

197

أَوَلَمۡ يَكُن لَّهُمۡ ءَايَةً أَن يَعۡلَمَهُۥ عُلَمَـٰٓؤُاْ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ

Abaffe tekibamala kuba bujulizi okuba nti bagimanyi abayivu b'abaana ba Israil

198

وَلَوۡ نَزَّلۡنَٰهُ عَلَىٰ بَعۡضِ ٱلۡأَعۡجَمِينَ

Singa twagissa ku bamu mu batali bawarabu

199

فَقَرَأَهُۥ عَلَيۡهِم مَّا كَانُواْ بِهِۦ مُؤۡمِنِينَ

Olwo nno (omu kubo) naagibasomera tebandigikkirizza

200

كَذَٰلِكَ سَلَكۡنَٰهُ فِي قُلُوبِ ٱلۡمُجۡرِمِينَ

Bwe kityo twagiyingiza mu mitima gy'aboonoonyi

201

لَا يُؤۡمِنُونَ بِهِۦ حَتَّىٰ يَرَوُاْ ٱلۡعَذَابَ ٱلۡأَلِيمَ

Tebagenda kugikkiriza okutuusa lwe baliraba ebibonerezo ebiruma

202

فَيَأۡتِيَهُم بَغۡتَةٗ وَهُمۡ لَا يَشۡعُرُونَ

Ebiribajjira ekibwatukira nga bo tebategedde

203

فَيَقُولُواْ هَلۡ نَحۡنُ مُنظَرُونَ

Olwo nno bagambe nti abaffe tusobola okulindirizibwa

204

أَفَبِعَذَابِنَا يَسۡتَعۡجِلُونَ

Abaffe ebibonerezo byaffe bye basaba okubaleetera amangu

205

أَفَرَءَيۡتَ إِن مَّتَّعۡنَٰهُمۡ سِنِينَ

Okiraba nti singa tubawangaazizza emyaka (egiwera)

206

ثُمَّ جَآءَهُم مَّا كَانُواْ يُوعَدُونَ

Oluvanyuma ne bibajjira ebyo bye balagaanyisibwa

207

مَآ أَغۡنَىٰ عَنۡهُم مَّا كَانُواْ يُمَتَّعُونَ

Tebiyinza kubayamba ebyo bye baaweebwa okweyagaliramu

208

وَمَآ أَهۡلَكۡنَا مِن قَرۡيَةٍ إِلَّا لَهَا مُنذِرُونَ

Tewali kitundu kye twazikiriza okugyako nga kimaze kufuna batiisa (ba Nabbi)

209

ذِكۡرَىٰ وَمَا كُنَّا ظَٰلِمِينَ

(Kyabanga bwe kityo) lwa kubabuulirira, tetubangako balyazaamaanyi

210

وَمَا تَنَزَّلَتۡ بِهِ ٱلشَّيَٰطِينُ

Era Sitane ssi ze zaajissa (Kur’ani)

211

وَمَا يَنۢبَغِي لَهُمۡ وَمَا يَسۡتَطِيعُونَ

Era tekizisaanira era nga tezikisobola

212

إِنَّهُمۡ عَنِ ٱلسَّمۡعِ لَمَعۡزُولُونَ

(Ku lw'ensonga nti) mazima zaaziyizibwa okuwulira ebifa mu ggulu

213

فَلَا تَدۡعُ مَعَ ٱللَّهِ إِلَٰهًا ءَاخَرَ فَتَكُونَ مِنَ ٱلۡمُعَذَّبِينَ

(N'olwekyo) bwoba osinza Katonda tomugattako kintu kirala (anti bwokikola) obeera wa mu balibonerezebwa

214

وَأَنذِرۡ عَشِيرَتَكَ ٱلۡأَقۡرَبِينَ

Era tiisa ab'oluganda lwo ab'okumpi

215

وَٱخۡفِضۡ جَنَاحَكَ لِمَنِ ٱتَّبَعَكَ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ

Era kakkanya ekiwawaatiro kyo (weewombeke) eri oyo aba akugoberedde mu bakkiriza

216

فَإِنۡ عَصَوۡكَ فَقُلۡ إِنِّي بَرِيٓءٞ مِّمَّا تَعۡمَلُونَ

Wabula bwe bakujeemera gamba nti mazima nze nnesambye ebyo bye mukola

217

وَتَوَكَّلۡ عَلَى ٱلۡعَزِيزِ ٱلرَّحِيمِ

Era weekwate ku nantakubwa ku mukono omusaasizi

218

ٱلَّذِي يَرَىٰكَ حِينَ تَقُومُ

Oyo akulaba woobeerera nga oyimiridde (mu kusaala)

219

وَتَقَلُّبَكَ فِي ٱلسَّـٰجِدِينَ

Era n'alaba okwekyusakyusakwo mu bavunnama

220

إِنَّهُۥ هُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ

Mazima yye y'awulira ennyo omumanyi

221

هَلۡ أُنَبِّئُكُمۡ عَلَىٰ مَن تَنَزَّلُ ٱلشَّيَٰطِينُ

Abaffe mbategeeze Sitane zikka ku ani

222

تَنَزَّلُ عَلَىٰ كُلِّ أَفَّاكٍ أَثِيمٖ

Zikka ku buli musazi w'abigambo omwonoonyi

223

يُلۡقُونَ ٱلسَّمۡعَ وَأَكۡثَرُهُمۡ كَٰذِبُونَ

Abo abasaasaanya bye bawulira naye nga abasinga obungi mu bo balimba

224

وَٱلشُّعَرَآءُ يَتَّبِعُهُمُ ٱلۡغَاوُۥنَ

Era abatontomi, ababuze be babagoberera

225

أَلَمۡ تَرَ أَنَّهُمۡ فِي كُلِّ وَادٖ يَهِيمُونَ

Abaffe tolaba nti babulubuutira mu buli lusenyi

226

وَأَنَّهُمۡ يَقُولُونَ مَا لَا يَفۡعَلُونَ

Era nti mazima bbo boogera bye batakola

227

إِلَّا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ وَذَكَرُواْ ٱللَّهَ كَثِيرٗا وَٱنتَصَرُواْ مِنۢ بَعۡدِ مَا ظُلِمُواْۗ وَسَيَعۡلَمُ ٱلَّذِينَ ظَلَمُوٓاْ أَيَّ مُنقَلَبٖ يَنقَلِبُونَ

Okugyako abo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi ne boogera nnyo ku Katonda era ne baba nga beetaasa oluvanyuma lw'okuba nti bayisibwa bubi, era mazima abo abeeyisa obubi bagenda kumanya buddo ki gye balidda

Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! •