Home

Sad

ص

Translation by Sheikh Abdul Razak Matovu

Surah 38

بِسْمِ اللَّهِ الرَّحْمَٰنِ الرَّحِيمِ

Verse 1

صٓۚ وَٱلۡقُرۡءَانِ ذِي ٱلذِّكۡرِ

Swad. Ndayidde Kur’ani ejjudde okujjukiza

Verse 2

بَلِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فِي عِزَّةٖ وَشِقَاقٖ

Wabula abaakaafuwala bali mu kwekuza na kuwalaaza mpaka

Verse 3

كَمۡ أَهۡلَكۡنَا مِن قَبۡلِهِم مِّن قَرۡنٖ فَنَادَواْ وَّلَاتَ حِينَ مَنَاصٖ

Emirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwabwe, abaatuuka okukuba ebiwoobe (nga banoonya okutaasibwa), naye nga tewakyali buwonero

Verse 4

وَعَجِبُوٓاْ أَن جَآءَهُم مُّنذِرٞ مِّنۡهُمۡۖ وَقَالَ ٱلۡكَٰفِرُونَ هَٰذَا سَٰحِرٞ كَذَّابٌ

Nebeewuunya okuba nga omutiisa abajjira ng'ava mu bo, era abakaafiiri ne bagamba nti ono mulogo omulimba (awedde emirimu)

Verse 5

أَجَعَلَ ٱلۡأٓلِهَةَ إِلَٰهٗا وَٰحِدًاۖ إِنَّ هَٰذَا لَشَيۡءٌ عُجَابٞ

Abaffe abasinzibwa abangi abafudde omu! mazima ekyo kintu ekyewunyisa ennyo

Verse 6

وَٱنطَلَقَ ٱلۡمَلَأُ مِنۡهُمۡ أَنِ ٱمۡشُواْ وَٱصۡبِرُواْ عَلَىٰٓ ءَالِهَتِكُمۡۖ إِنَّ هَٰذَا لَشَيۡءٞ يُرَادُ

Ekibinja kya bakungu mu bo nekigenda (nga kikunga abantu) nti: mugende mu maaso era mugumiikirize mulemere ku ba katonda ba mmwe

Verse 7

مَا سَمِعۡنَا بِهَٰذَا فِي ٱلۡمِلَّةِ ٱلۡأٓخِرَةِ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا ٱخۡتِلَٰقٌ

Mazima kino (eky'okubaggya ku ba katonda ba mmwe) kkobaane (Muhammad mwayagalira okuyita abaggye ku nsinza yammwe), kino tetukiwulirangako mu nzikiriza (ey'abagoberezi ba Issa) eyasembayo, kino tekiri okugyako kiyiiye (buyiiya)

Verse 8

أَءُنزِلَ عَلَيۡهِ ٱلذِّكۡرُ مِنۢ بَيۡنِنَاۚ بَلۡ هُمۡ فِي شَكّٖ مِّن ذِكۡرِيۚ بَل لَّمَّا يَذُوقُواْ عَذَابِ

Muffe fenna yye (Muhammad) yassiddwaako obubaka! wabula (ekibaleetera obuzibu) lwa kuba bo bali mu kubuusabuusa okubuulirira kwange wabula (bakola ekyo) lwa kuba tebannakomba ku bibonerezo byange

Verse 9

أَمۡ عِندَهُمۡ خَزَآئِنُ رَحۡمَةِ رَبِّكَ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡوَهَّابِ

Oba (kyebava beeyisa bwe batyo) lwakuba balina amawanika g'okusaasira kwa Mukama omulabirizi wo, nantakubwa ku mukono, omugabi

Verse 10

أَمۡ لَهُم مُّلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَاۖ فَلۡيَرۡتَقُواْ فِي ٱلۡأَسۡبَٰبِ

Oba bo balina obufuzi bw'eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi, bwe kiba bwekityo, kale baleke bakozese kyonna kyebasobola bafuneyo byebaagala

Verse 11

جُندٞ مَّا هُنَالِكَ مَهۡزُومٞ مِّنَ ٱلۡأَحۡزَابِ

Bo, ggye eriri awo lya kuwangulwa, libalibwa mu bibinja (ebyawangulwa)

Verse 12

كَذَّبَتۡ قَبۡلَهُمۡ قَوۡمُ نُوحٖ وَعَادٞ وَفِرۡعَوۡنُ ذُو ٱلۡأَوۡتَادِ

Mazima oluberyeberye lwabwe abantu ba Nuhu ne A-adi ne Farawo nannyini nkondo baalimbisa

Verse 13

وَثَمُودُ وَقَوۡمُ لُوطٖ وَأَصۡحَٰبُ لۡـَٔيۡكَةِۚ أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلۡأَحۡزَابُ

Ne ba Thamud n’abantu ba Luut n’abantu b’omukibira, ebyonno bye bibinja (ebyogeddwaako mu Aya)

Verse 14

إِن كُلٌّ إِلَّا كَذَّبَ ٱلرُّسُلَ فَحَقَّ عِقَابِ

Tewali muntu yenna mwabo okugyako nga yalimbisa ababaka, olwo nno ebibonerezo byange nebikakata (ku bo)

Verse 15

وَمَا يَنظُرُ هَـٰٓؤُلَآءِ إِلَّا صَيۡحَةٗ وَٰحِدَةٗ مَّا لَهَا مِن فَوَاقٖ

Era abo tebalindirira okugyako lubwatuka lumu (oluliba olw'amaanyi) nga telwetaaga kuddibwamu mulundi mulala

Verse 16

وَقَالُواْ رَبَّنَا عَجِّل لَّنَا قِطَّنَا قَبۡلَ يَوۡمِ ٱلۡحِسَابِ

Era (abatakkiriza) bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe twanguyirize omugabo gwaffe (ogw'ebibonerezo) ng'olunaku lw'okubalibwa terunnatuuka

Verse 17

ٱصۡبِرۡ عَلَىٰ مَا يَقُولُونَ وَٱذۡكُرۡ عَبۡدَنَا دَاوُۥدَ ذَا ٱلۡأَيۡدِۖ إِنَّهُۥٓ أَوَّابٌ

(Katonda agamba Nabbi Muhammad nti:) gumikiiriza ku bye boogera ojjukire omuddu waffe Dauda eyalina amaanyi amasuffu (awamu n'ekyo) yali adda nnyo eri Katonda

Verse 18

إِنَّا سَخَّرۡنَا ٱلۡجِبَالَ مَعَهُۥ يُسَبِّحۡنَ بِٱلۡعَشِيِّ وَٱلۡإِشۡرَاقِ

Mazima ffe twagonza ensozi neziba nga zitendereza awamu naye olweggulo n’obudde nga busaasaana

Verse 19

وَٱلطَّيۡرَ مَحۡشُورَةٗۖ كُلّٞ لَّهُۥٓ أَوَّابٞ

Era twagonza n’ebinyonyi nga biri mu bibinja (byabyo) buli kimu ku byo nga kigondera Dauda (nebitendereza nga bwatendereza)

Verse 20

وَشَدَدۡنَا مُلۡكَهُۥ وَءَاتَيۡنَٰهُ ٱلۡحِكۡمَةَ وَفَصۡلَ ٱلۡخِطَابِ

Era twanyweza obufuzibwe era netumuwa okumanya ensonga n’okusalawo ekituufu ku bigambo ebiba byogeddwa

Verse 21

۞وَهَلۡ أَتَىٰكَ نَبَؤُاْ ٱلۡخَصۡمِ إِذۡ تَسَوَّرُواْ ٱلۡمِحۡرَابَ

Abaffe amawulire g’abaakaayana bwe baawalampa ekisenge (Dauda mweyasinzizanga) gaakutuukako

Verse 22

إِذۡ دَخَلُواْ عَلَىٰ دَاوُۥدَ فَفَزِعَ مِنۡهُمۡۖ قَالُواْ لَا تَخَفۡۖ خَصۡمَانِ بَغَىٰ بَعۡضُنَا عَلَىٰ بَعۡضٖ فَٱحۡكُم بَيۡنَنَا بِٱلۡحَقِّ وَلَا تُشۡطِطۡ وَٱهۡدِنَآ إِلَىٰ سَوَآءِ ٱلصِّرَٰطِ

Bwe baayingira Dauda weyali naabekanga nebagamba nti: totya (ffe) tuli abakaayana ababiri ng'omu kuffe asobezza munne, kale lamula wakati waffe n’amazima teweekubiira era otulage enkola entuufu

Verse 23

إِنَّ هَٰذَآ أَخِي لَهُۥ تِسۡعٞ وَتِسۡعُونَ نَعۡجَةٗ وَلِيَ نَعۡجَةٞ وَٰحِدَةٞ فَقَالَ أَكۡفِلۡنِيهَا وَعَزَّنِي فِي ٱلۡخِطَابِ

Mazima muganda wange ono alina endiga kyenda mu mwenda ng’ate nze nnina endiga emu, ate angamba nti gimpe ngikulundire ate nga ansinga ebigambo

Verse 24

قَالَ لَقَدۡ ظَلَمَكَ بِسُؤَالِ نَعۡجَتِكَ إِلَىٰ نِعَاجِهِۦۖ وَإِنَّ كَثِيرٗا مِّنَ ٱلۡخُلَطَآءِ لَيَبۡغِي بَعۡضُهُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٍ إِلَّا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ وَقَلِيلٞ مَّا هُمۡۗ وَظَنَّ دَاوُۥدُ أَنَّمَا فَتَنَّـٰهُ فَٱسۡتَغۡفَرَ رَبَّهُۥ وَخَرَّۤ رَاكِعٗاۤ وَأَنَابَ۩

(Dauda) naagamba nti: mazima akuyisizza bubi bwakusabye endiga yo agigatte ku ndigaze, ate nga bangi mu bagatta emirimu basobya bannaabwe, okugyako abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu wabula ate abo batono, Dauda naamanya nti mazima tumugezesezza neyeegayirira Mukama omulabiriziwe naakutama ku maviivi neyeemenya era nadda eri Katonda

Verse 25

فَغَفَرۡنَا لَهُۥ ذَٰلِكَۖ وَإِنَّ لَهُۥ عِندَنَا لَزُلۡفَىٰ وَحُسۡنَ مَـَٔابٖ

Olwo nno ekyo netukimusonyiwa, era mazima alina gye tuli ekifo ekyo ku mwanjo n’obuddo obulungi

Verse 26

يَٰدَاوُۥدُ إِنَّا جَعَلۡنَٰكَ خَلِيفَةٗ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَٱحۡكُم بَيۡنَ ٱلنَّاسِ بِٱلۡحَقِّ وَلَا تَتَّبِعِ ٱلۡهَوَىٰ فَيُضِلَّكَ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِۚ إِنَّ ٱلَّذِينَ يَضِلُّونَ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ لَهُمۡ عَذَابٞ شَدِيدُۢ بِمَا نَسُواْ يَوۡمَ ٱلۡحِسَابِ

Owange Dauda mazima ffe twakufuula omusigire ku nsi, lamula wakati wa bantu mu mazima era togobereranga okwagala (kwo) nekukubuza okuva ku kkubo lya Katonda, mazima abo abaabula nebava ku kkubo lya Katonda, balifuna ebibonerezo ebikakali olw'ebyo ebyabeerabiza olunaku lw'okubalibwa

Verse 27

وَمَا خَلَقۡنَا ٱلسَّمَآءَ وَٱلۡأَرۡضَ وَمَا بَيۡنَهُمَا بَٰطِلٗاۚ ذَٰلِكَ ظَنُّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْۚ فَوَيۡلٞ لِّلَّذِينَ كَفَرُواْ مِنَ ٱلنَّارِ

Eggulu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi, tetwabitonda nga bya lusaago, eyo ndowooza yaabo abaakaafuwala, kale nno okubonaabona okw'omuliro kuliba ku abo abaakaafuwala

Verse 28

أَمۡ نَجۡعَلُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ كَٱلۡمُفۡسِدِينَ فِي ٱلۡأَرۡضِ أَمۡ نَجۡعَلُ ٱلۡمُتَّقِينَ كَٱلۡفُجَّارِ

Oba (basuubira nti) abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu, tulibayisa nga aboonoona mu nsi, oba abatya Katonda betuliyisa nga aboonoonyi

Verse 29

كِتَٰبٌ أَنزَلۡنَٰهُ إِلَيۡكَ مُبَٰرَكٞ لِّيَدَّبَّرُوٓاْ ءَايَٰتِهِۦ وَلِيَتَذَكَّرَ أُوْلُواْ ٱلۡأَلۡبَٰبِ

(Kur’ani eno) kitabo twakissa gyoli nga kya mukisa babe nga beekenneenya ebigambo byakyo era ab'amagezi agakola babe nga beebuulirira

Verse 30

وَوَهَبۡنَا لِدَاوُۥدَ سُلَيۡمَٰنَۚ نِعۡمَ ٱلۡعَبۡدُ إِنَّهُۥٓ أَوَّابٌ

Era twagabira Dauda Sulaiman, yali muddu mulungi, (anti) mazima yye yali adda nnyo eri Katonda

Verse 31

إِذۡ عُرِضَ عَلَيۡهِ بِٱلۡعَشِيِّ ٱلصَّـٰفِنَٰتُ ٱلۡجِيَادُ

Jjukira bwe yayanjulirwa mu kiseera eky'olweggulo enfaraasi ezirabika obulungi nga ziyimiridde (ate) empenyusi (bwe ziba zidduse)

Verse 32

فَقَالَ إِنِّيٓ أَحۡبَبۡتُ حُبَّ ٱلۡخَيۡرِ عَن ذِكۡرِ رَبِّي حَتَّىٰ تَوَارَتۡ بِٱلۡحِجَابِ

Naagamba nti mazima nze nkulembezza okwagala ebirungi ku kutendereza Mukama omulabirizi wange (nenzira mu kutunuulira enfaraasi) okutuusa enjuba lwebuliddeyo

Verse 33

رُدُّوهَا عَلَيَّۖ فَطَفِقَ مَسۡحَۢا بِٱلسُّوقِ وَٱلۡأَعۡنَاقِ

(Oluvanyuma yagamba nti) muzinkomezeewo, olwo nno naatandika okuzisala amagulu n'ensingo (naasaddaaka ennyama yaazo)

Verse 34

وَلَقَدۡ فَتَنَّا سُلَيۡمَٰنَ وَأَلۡقَيۡنَا عَلَىٰ كُرۡسِيِّهِۦ جَسَدٗا ثُمَّ أَنَابَ

Era mazima twagezesa Sulaiman netuteeka omubiri (ogutaliimu bulamu) ku nnamulondo ye, (naye) oluvanyuma yeenenya

Verse 35

قَالَ رَبِّ ٱغۡفِرۡ لِي وَهَبۡ لِي مُلۡكٗا لَّا يَنۢبَغِي لِأَحَدٖ مِّنۢ بَعۡدِيٓۖ إِنَّكَ أَنتَ ٱلۡوَهَّابُ

Naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange nsonyiwa ongabire obwakabaka obutalisaanira mulala yenna oluvanyuma lwange, (anti) mazima ggwe mugabi

Verse 36

فَسَخَّرۡنَا لَهُ ٱلرِّيحَ تَجۡرِي بِأَمۡرِهِۦ رُخَآءً حَيۡثُ أَصَابَ

Olwo nno netumugondeza empewo nga etambula ku lw'ekiragirokye mu ngeri ya mirembe neegenda wonna waaba asazeewo

Verse 37

وَٱلشَّيَٰطِينَ كُلَّ بَنَّآءٖ وَغَوَّاصٖ

Era twamugondeza Sitane (nga mu zo mwalimu) enkugu mu kuzimba n'endala nga zibbira mu nnyanja

Verse 38

وَءَاخَرِينَ مُقَرَّنِينَ فِي ٱلۡأَصۡفَادِ

Era nga ne (Sitane) endala zisibiddwa ku njegere (anti zo zaagaana okukola)

Verse 39

هَٰذَا عَطَآؤُنَا فَٱمۡنُنۡ أَوۡ أَمۡسِكۡ بِغَيۡرِ حِسَابٖ

Netumugamba (nti) okwo kwe kugaba kwaffe, kale gabako oba omme (nga bwolaba) awatali kubuuzibwa

Verse 40

وَإِنَّ لَهُۥ عِندَنَا لَزُلۡفَىٰ وَحُسۡنَ مَـَٔابٖ

Era mazima (Sulaiman) alina gye tuli ekifo kya ku mwanjo n’obuddo obulungi

Verse 41

وَٱذۡكُرۡ عَبۡدَنَآ أَيُّوبَ إِذۡ نَادَىٰ رَبَّهُۥٓ أَنِّي مَسَّنِيَ ٱلشَّيۡطَٰنُ بِنُصۡبٖ وَعَذَابٍ

Era jjukira omuddu waffe Ayub bwe yakoowoola Mukama omulabirizi we (naagamba nti) mazima nze Sitane andeEtedde ennaku n’obuzibu (Ayi Mukama nkusaba omponye)

Verse 42

ٱرۡكُضۡ بِرِجۡلِكَۖ هَٰذَا مُغۡتَسَلُۢ بَارِدٞ وَشَرَابٞ

(Katonda naamugamba nti) samba ettaka n'ekigerekyo awo amazzi negafukula era ne bamugamba nti amazzi gano mannyogovu g'a kunaaba na kunywa (lye ddagala erikuweereddwa)

Verse 43

وَوَهَبۡنَا لَهُۥٓ أَهۡلَهُۥ وَمِثۡلَهُم مَّعَهُمۡ رَحۡمَةٗ مِّنَّا وَذِكۡرَىٰ لِأُوْلِي ٱلۡأَلۡبَٰبِ

Era netumuwa (nga tuzzaawo) abantu be era awamu nabo (netumuwa) abalinga bo (ebyo byonna) nga kusaasira okuva gyetuli era nga kubuulirira eri abo abalina amagezi

Verse 44

وَخُذۡ بِيَدِكَ ضِغۡثٗا فَٱضۡرِب بِّهِۦ وَلَا تَحۡنَثۡۗ إِنَّا وَجَدۡنَٰهُ صَابِرٗاۚ نِّعۡمَ ٱلۡعَبۡدُ إِنَّهُۥٓ أَوَّابٞ

Era (n'alagirwa nti) kwata ekisaaganda ky'obuti olwo nno okimukubise (mukyalawo) anti bwotyo bwe walayira obenga tomenye kilayiro kyo, mazima ffe twamusanga (Ayub) nga mugumiikiriza (yye) muddu mulungi, anti mazima yye adda nnyo eri Katonda

Verse 45

وَٱذۡكُرۡ عِبَٰدَنَآ إِبۡرَٰهِيمَ وَإِسۡحَٰقَ وَيَعۡقُوبَ أُوْلِي ٱلۡأَيۡدِي وَٱلۡأَبۡصَٰرِ

Era jjukira abaddu baffe Ibrahim ne Ishaak ne Yakub abaalina amaanyi n’okulengera ewala

Verse 46

إِنَّآ أَخۡلَصۡنَٰهُم بِخَالِصَةٖ ذِكۡرَى ٱلدَّارِ

Mazima ffe twabaawula n'enkizo ey’okujjukira e nyumba ey’olubeerera (enkomerero)

Verse 47

وَإِنَّهُمۡ عِندَنَا لَمِنَ ٱلۡمُصۡطَفَيۡنَ ٱلۡأَخۡيَارِ

Era mazima bo gye tuli ba mu baawule abalondemu

Verse 48

وَٱذۡكُرۡ إِسۡمَٰعِيلَ وَٱلۡيَسَعَ وَذَا ٱلۡكِفۡلِۖ وَكُلّٞ مِّنَ ٱلۡأَخۡيَارِ

Era jjukira Ismail ne Eliyasa-a ne Zul kifuli, nabuli omu kwabo wa mu balondemu

Verse 49

هَٰذَا ذِكۡرٞۚ وَإِنَّ لِلۡمُتَّقِينَ لَحُسۡنَ مَـَٔابٖ

Kuno kujjukiza, era mazima ddala abatya Katonda bagenda kufuna obuddo obulungi

Verse 50

جَنَّـٰتِ عَدۡنٖ مُّفَتَّحَةٗ لَّهُمُ ٱلۡأَبۡوَٰبُ

(Obuddo obwo buliba) Janna ez’emirembe, nga kulwabwe emiryango (gyazo) giriba miggule

Verse 51

مُتَّكِـِٔينَ فِيهَا يَدۡعُونَ فِيهَا بِفَٰكِهَةٖ كَثِيرَةٖ وَشَرَابٖ

Balibeera beesigamye nga bali mu zo, nga bwe batumya mu zo ebibala ebingi nga bya njawulo n'eby'okunywa

Verse 52

۞وَعِندَهُمۡ قَٰصِرَٰتُ ٱلطَّرۡفِ أَتۡرَابٌ

Era baliba balina abakyala abakkakkamu ab'amaaso ab'emyaka egyenkana

Verse 53

هَٰذَا مَا تُوعَدُونَ لِيَوۡمِ ٱلۡحِسَابِ

(Baligambibwa nti) kino (kye mutuseeko) kyekyo kye mwalagaanyisibwa okuweebwa ku lunaku lw'okubalibwa

Verse 54

إِنَّ هَٰذَا لَرِزۡقُنَا مَا لَهُۥ مِن نَّفَادٍ

Mazima ebyo kwe kugabiririra kwaffe tekuyinza kukalira

Verse 55

هَٰذَاۚ وَإِنَّ لِلطَّـٰغِينَ لَشَرَّ مَـَٔابٖ

Ekyo kyekyo, naye mazima abeewagguzi balifuna obuddo obubi

Verse 56

جَهَنَّمَ يَصۡلَوۡنَهَا فَبِئۡسَ ٱلۡمِهَادُ

Nga muliro Jahannama gwe balyesonseka naye buliba buliri bubi ddala

Verse 57

هَٰذَا فَلۡيَذُوقُوهُ حَمِيمٞ وَغَسَّاقٞ

Kino (kye balimu bye bibonerezo ebiruma ennyo) kale balibikombako nga nabyo mazzi agookya n'amasira ag'olusaayisaayi

Verse 58

وَءَاخَرُ مِن شَكۡلِهِۦٓ أَزۡوَٰجٌ

Ne (bibonerezo) ebirala ebiringa ebyo ebyengeri ez'ejawulo (nabyo biribatuukako)

Verse 59

هَٰذَا فَوۡجٞ مُّقۡتَحِمٞ مَّعَكُمۡ لَا مَرۡحَبَۢا بِهِمۡۚ إِنَّهُمۡ صَالُواْ ٱلنَّارِ

(Buli aboonoonyi abapya lwe banaaleetebwanga mu muliro, nga abasookayo bagambibwa nti:) kino kibinja kyesozze omuliro awamu nammwe (olwo abalisangwamu bagambe nti) abo tebaanirizibwa (tebalina mirembe) mazima bo beesozze muliro

Verse 60

قَالُواْ بَلۡ أَنتُمۡ لَا مَرۡحَبَۢا بِكُمۡۖ أَنتُمۡ قَدَّمۡتُمُوهُ لَنَاۖ فَبِئۡسَ ٱلۡقَرَارُ

(Abaagoberera) baligamba (abaasooka) nti wabula mmwe, mmwe mutaanirizibwa, mmwe mwabituleetera, bugenda kuba butuulo bubi

Verse 61

قَالُواْ رَبَّنَا مَن قَدَّمَ لَنَا هَٰذَا فَزِدۡهُ عَذَابٗا ضِعۡفٗا فِي ٱلنَّارِ

Baligamba nti: ayi Mukama omulabirizi waffe oyo eyatuleetera bino mwongere ebibonerezo eby'okuba mu muliro nga bibazziddwamu

Verse 62

وَقَالُواْ مَا لَنَا لَا نَرَىٰ رِجَالٗا كُنَّا نَعُدُّهُم مِّنَ ٱلۡأَشۡرَارِ

Era (aboonoonyi) baligamba nti lwaki tetulaba bantu betwali tubalira mu babi

Verse 63

أَتَّخَذۡنَٰهُمۡ سِخۡرِيًّا أَمۡ زَاغَتۡ عَنۡهُمُ ٱلۡأَبۡصَٰرُ

Abaffe twabafuula eky'okujeeja (so nga baali balungi) oba amaaso ge gatabalaba

Verse 64

إِنَّ ذَٰلِكَ لَحَقّٞ تَخَاصُمُ أَهۡلِ ٱلنَّارِ

Mazima ebyo (ebyogeddwa) ddala (okwo kwe kuliba) okuyombagana kw'abantu bo mu muliro

Verse 65

قُلۡ إِنَّمَآ أَنَا۠ مُنذِرٞۖ وَمَا مِنۡ إِلَٰهٍ إِلَّا ٱللَّهُ ٱلۡوَٰحِدُ ٱلۡقَهَّارُ

Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) mazima nze ndi mutiisa era tewali kisinzibwa kyonna mu butuufu okugyako Katonda ali omu nantalemwa

Verse 66

رَبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَا ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡغَفَّـٰرُ

Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi, nantakubwa ku mukono, omusonyiyi ennyo

Verse 67

قُلۡ هُوَ نَبَؤٌاْ عَظِيمٌ

Bagambe nti kyo (kye mbagamba) kigambo kikulu ddala

Verse 68

أَنتُمۡ عَنۡهُ مُعۡرِضُونَ

(Ate) mmwe kye mwawukanako

Verse 69

مَا كَانَ لِيَ مِنۡ عِلۡمِۭ بِٱلۡمَلَإِ ٱلۡأَعۡلَىٰٓ إِذۡ يَخۡتَصِمُونَ

Sibangako na kumanya kwonna ku bikwata ku bakungu ab'awaggula webakaayanira, (ba Malayika bwe beemulugunya nga baagala Katonda baaba asindika ku nsi mu kifo kya Adam)

Verse 70

إِن يُوحَىٰٓ إِلَيَّ إِلَّآ أَنَّمَآ أَنَا۠ نَذِيرٞ مُّبِينٌ

Ssaatumirwa kirala kyonna okugyako (okuba) nti mazima ddala nze ndi mutiisa ow'olwatu

Verse 71

إِذۡ قَالَ رَبُّكَ لِلۡمَلَـٰٓئِكَةِ إِنِّي خَٰلِقُۢ بَشَرٗا مِّن طِينٖ

Jjukira ekiseera Mukama omulabirizi wo bwe yagamba ba Malayika, nti mazima nze nja kutonda omuntu nga mugya mu kadongo

Verse 72

فَإِذَا سَوَّيۡتُهُۥ وَنَفَخۡتُ فِيهِ مِن رُّوحِي فَقَعُواْ لَهُۥ سَٰجِدِينَ

Bwe nnaamala okukola engeri nga bwanabeera era nemmufuuwamu omwoyo oguva gyendi, kale mubutame nga mumuvunnamira

Verse 73

فَسَجَدَ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ كُلُّهُمۡ أَجۡمَعُونَ

Olwo nno ba Malayika bonna nga bali wamu baavunnama

Verse 74

إِلَّآ إِبۡلِيسَ ٱسۡتَكۡبَرَ وَكَانَ مِنَ ٱلۡكَٰفِرِينَ

Okugyako Ibliis yeekuluntaza naaba mu bakaafiiri

Verse 75

قَالَ يَـٰٓإِبۡلِيسُ مَا مَنَعَكَ أَن تَسۡجُدَ لِمَا خَلَقۡتُ بِيَدَيَّۖ أَسۡتَكۡبَرۡتَ أَمۡ كُنتَ مِنَ ٱلۡعَالِينَ

(Katonda) naagamba nti owange Ibliis kiki ekikugaanye okuvunnamira oyo gwe nnatonda n’omukono gwange abaffe wetwala nti oli wa kitiibwa (okusinga Adam), oba lwakuba nti bulijjo oli mu ba kiwagi ku Katonda

Verse 76

قَالَ أَنَا۠ خَيۡرٞ مِّنۡهُ خَلَقۡتَنِي مِن نَّارٖ وَخَلَقۡتَهُۥ مِن طِينٖ

(Ibliis) naagamba nti: nze mmusinga, wantonda mu muliro ate (yye) noomutonda mu kadongo

Verse 77

قَالَ فَٱخۡرُجۡ مِنۡهَا فَإِنَّكَ رَجِيمٞ

(Katonda) naagamba nti: kale gifulume (e jjana) mazima ggwe ogobeddwa (era oli mukolimire)

Verse 78

وَإِنَّ عَلَيۡكَ لَعۡنَتِيٓ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلدِّينِ

Era mazima okakaseeko ekikolimo kyange okutuusa ku lunaku lw'okusasulwa

Verse 79

قَالَ رَبِّ فَأَنظِرۡنِيٓ إِلَىٰ يَوۡمِ يُبۡعَثُونَ

(Ibliis) naagamba nti: ayi Mukama omulabirizi wange nindiriza okutuusa ku lunaku lwe balizuukizibwa

Verse 80

قَالَ فَإِنَّكَ مِنَ ٱلۡمُنظَرِينَ

(Katonda) naagamba nti: mazima ggwe oli mu balindiriziddwa

Verse 81

إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡوَقۡتِ ٱلۡمَعۡلُومِ

Okutuuka ku lunaku olw'ekiseera ekimanyiddwa

Verse 82

قَالَ فَبِعِزَّتِكَ لَأُغۡوِيَنَّهُمۡ أَجۡمَعِينَ

(Ibliis) naagamba nti: ndayira ekitiibwa kyo njakubabuliza ddala bonna

Verse 83

إِلَّا عِبَادَكَ مِنۡهُمُ ٱلۡمُخۡلَصِينَ

Okugyako abaddu bo abalondobemu mu bo

Verse 84

قَالَ فَٱلۡحَقُّ وَٱلۡحَقَّ أَقُولُ

(Katonda) naagamba nti: ago nno g'emazima, era nga bulijjo njogera mazima

Verse 85

لَأَمۡلَأَنَّ جَهَنَّمَ مِنكَ وَمِمَّن تَبِعَكَ مِنۡهُمۡ أَجۡمَعِينَ

Ddala ngenda kujjuza omuliro Jahannama (nga nguteekamu) ggwe n'abo bonna abakugondera mu bo

Verse 86

قُلۡ مَآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ مِنۡ أَجۡرٖ وَمَآ أَنَا۠ مِنَ ٱلۡمُتَكَلِّفِينَ

Gamba (ggwe Muhammad nti ekyokubatuusaako obubaka) sikibasabirako mpeera, era nga bwe ssiri mu beetumiikiriza

Verse 87

إِنۡ هُوَ إِلَّا ذِكۡرٞ لِّلۡعَٰلَمِينَ

(Kur’ani) yyo teri okugyako okuba nti kya kubuulirira eri ebitonde

Verse 88

وَلَتَعۡلَمُنَّ نَبَأَهُۥ بَعۡدَ حِينِۭ

Era ekigambo kyayo mujja kukimanyira ddala oluvanyuma lw'ekiseera kitono

Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! •