Home

Al-Mutaffifin

المطففين

Translation by Sheikh Abdul Razak Matovu

Surah 83

بِسْمِ اللَّهِ الرَّحْمَٰنِ الرَّحِيمِ

1

وَيۡلٞ لِّلۡمُطَفِّفِينَ

Okuzikirira kuli ku abo abakendeeza ebipimo

2

ٱلَّذِينَ إِذَا ٱكۡتَالُواْ عَلَى ٱلنَّاسِ يَسۡتَوۡفُونَ

Abo bwe baba nga beebapimirwa, basaba ebipimo byabwe bijjuzibwe

3

وَإِذَا كَالُوهُمۡ أَو وَّزَنُوهُمۡ يُخۡسِرُونَ

So nga bwe baba nga be balengera abalala, oba be bapima, bakendeeza (ebipimo)

4

أَلَا يَظُنُّ أُوْلَـٰٓئِكَ أَنَّهُم مَّبۡعُوثُونَ

Abaffe tebakakasa nti mazima ddala baakuzuukizibwa

5

لِيَوۡمٍ عَظِيمٖ

Ku lunaku oluzito (olw'enkomerero)

6

يَوۡمَ يَقُومُ ٱلنَّاسُ لِرَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

Olunaku abantu lwe baliyimirira mu maaso g'omulezi w’ebitonde

7

كَلَّآ إِنَّ كِتَٰبَ ٱلۡفُجَّارِ لَفِي سِجِّينٖ

Mazima ddala ebiwandiiko by’emirimu gy’aboonoonyi biri mu Sijjiin

8

وَمَآ أَدۡرَىٰكَ مَا سِجِّينٞ

Naye omanyi Sijjiin kye ki

9

كِتَٰبٞ مَّرۡقُومٞ

Ky’ekitabo ekiwandiikibwamu ebibi by’omuntu

10

وَيۡلٞ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُكَذِّبِينَ

Okuzikirira ku lunaku olwo, kulibeera ku abo abalimbisa

11

ٱلَّذِينَ يُكَذِّبُونَ بِيَوۡمِ ٱلدِّينِ

Abo abalimbisa olunaku lw’okusasulwa (olw’enkomerero)

12

وَمَا يُكَذِّبُ بِهِۦٓ إِلَّا كُلُّ مُعۡتَدٍ أَثِيمٍ

Tewali alimbisa lunaku olwo okugyako oyo asukka ensalo z’amateeka ga Katonda era omwonoonyi

13

إِذَا تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِ ءَايَٰتُنَا قَالَ أَسَٰطِيرُ ٱلۡأَوَّلِينَ

Bw’aba asomeddwa ebigambo byaffe (Kur'ani) agamba nti ebyo nfumo z’abaasooka

14

كَلَّاۖ بَلۡۜ رَانَ عَلَىٰ قُلُوبِهِم مَّا كَانُواْ يَكۡسِبُونَ

Nedda, ssi bwekiri; wabula bye baali bakola byetuuma ku mitima gyabwe

15

كَلَّآ إِنَّهُمۡ عَن رَّبِّهِمۡ يَوۡمَئِذٖ لَّمَحۡجُوبُونَ

Mazima ddala abatakkiriza ku lunaku olwo baakuziyizibwa okulaba Omulezi waabwe (Katonda)

16

ثُمَّ إِنَّهُمۡ لَصَالُواْ ٱلۡجَحِيمِ

Mazima ddala baakuyingira omuliro Jahiimu

17

ثُمَّ يُقَالُ هَٰذَا ٱلَّذِي كُنتُم بِهِۦ تُكَذِّبُونَ

Oluvanyuma bagenda kugambibwa nti ekyo kye mwalimbisanga

18

كَلَّآ إِنَّ كِتَٰبَ ٱلۡأَبۡرَارِ لَفِي عِلِّيِّينَ

Mazima ddala ebiwandiiko by’abakozi b’obulungi biri mu Illiyyiina

19

وَمَآ أَدۡرَىٰكَ مَا عِلِّيُّونَ

Naye omanyi Illiyyiina kye ki

20

كِتَٰبٞ مَّرۡقُومٞ

Ky’ekitabo ekiwandiikibwamu ebirungi by’omuntu

21

يَشۡهَدُهُ ٱلۡمُقَرَّبُونَ

Bakisemberera Ba malayika abali okumpi ne Katonda

22

إِنَّ ٱلۡأَبۡرَارَ لَفِي نَعِيمٍ

Mazima abakozi b’obulungi bagenda kubeera mu byengera

23

عَلَى ٱلۡأَرَآئِكِ يَنظُرُونَ

Nga bali ku bitanda ebiwunde nga batunuulira ebintu ebibeetoolodde

24

تَعۡرِفُ فِي وُجُوهِهِمۡ نَضۡرَةَ ٱلنَّعِيمِ

Essanyu eriribeera ku maaso gaabwe ligenda ku kulaga okwesiima kwe balibaamu

25

يُسۡقَوۡنَ مِن رَّحِيقٖ مَّخۡتُومٍ

Baligabulwanga omubisi (ogw’omu jjana) omusaanikire obulungi

26

خِتَٰمُهُۥ مِسۡكٞۚ وَفِي ذَٰلِكَ فَلۡيَتَنَافَسِ ٱلۡمُتَنَٰفِسُونَ

(Olunaagunywangako) ng'owulira akawoowo ka misk. Ne mu kyo, abaagala okuvuganya mu kukola emirimu emirungi bavuganye

27

وَمِزَاجُهُۥ مِن تَسۡنِيمٍ

Omubisi ogwo gugenda kutabulwa mu Tasnim

28

عَيۡنٗا يَشۡرَبُ بِهَا ٱلۡمُقَرَّبُونَ

Tasnim nsulo erinywebwangako abalibeera okumpi ne Katonda

29

إِنَّ ٱلَّذِينَ أَجۡرَمُواْ كَانُواْ مِنَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ يَضۡحَكُونَ

Mazima abantu abo abaali abajeemu baalinga ku nsi nga basekerera abakkiriza

30

وَإِذَا مَرُّواْ بِهِمۡ يَتَغَامَزُونَ

Bwe baabayitangako nga babageyesa amaaso

31

وَإِذَا ٱنقَلَبُوٓاْ إِلَىٰٓ أَهۡلِهِمُ ٱنقَلَبُواْ فَكِهِينَ

Ate nga bwe baddanga mu bantu baabwe nga beewaana

32

وَإِذَا رَأَوۡهُمۡ قَالُوٓاْ إِنَّ هَـٰٓؤُلَآءِ لَضَآلُّونَ

Bwe baabalabangako nga bagamba nti mazima abo baabulira ddala

33

وَمَآ أُرۡسِلُواْ عَلَيۡهِمۡ حَٰفِظِينَ

Naye tebatumwanga kubeera nga bebalondoola emirimu gya bali

34

فَٱلۡيَوۡمَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ مِنَ ٱلۡكُفَّارِ يَضۡحَكُونَ

Wabula olwaleero (olunaku lw'enkomerero) abo abakkiriza bajja kubeera nga basekerera abatakkiriza

35

عَلَى ٱلۡأَرَآئِكِ يَنظُرُونَ

(Abakkiriza) nga bali ku bitanda ebiwunde nga babakeneka

36

هَلۡ ثُوِّبَ ٱلۡكُفَّارُ مَا كَانُواْ يَفۡعَلُونَ

(Nga bwe bagamba nti) abaffe abatakkiriza basasuddwa bye baalinga bakola

Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! •