Home

Al-Inshiqaq

الإنشقاق

Translation by Sheikh Abdul Razak Matovu

Surah 84

بِسْمِ اللَّهِ الرَّحْمَٰنِ الرَّحِيمِ

Verse 1

إِذَا ٱلسَّمَآءُ ٱنشَقَّتۡ

Eggulu bwe liryeyasaamu

Verse 2

وَأَذِنَتۡ لِرَبِّهَا وَحُقَّتۡ

Ne ligondera ekiragiro kya Mukama waalyo, era nga bwe kyandibadde

Verse 3

وَإِذَا ٱلۡأَرۡضُ مُدَّتۡ

Ensi bw'eriseeteezebwa

Verse 4

وَأَلۡقَتۡ مَا فِيهَا وَتَخَلَّتۡ

N'ewandula ebigirimu n'esigala nga njereere

Verse 5

وَأَذِنَتۡ لِرَبِّهَا وَحُقَّتۡ

N'egondera ekiragiro kya mukama waayo era nga bwe kyandibadde

Verse 6

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلۡإِنسَٰنُ إِنَّكَ كَادِحٌ إِلَىٰ رَبِّكَ كَدۡحٗا فَمُلَٰقِيهِ

Owange ggwe omuntu! Otakabana olutakabana (okukola e mirimu) ng'odda eri Katondawo. Era oli wakumusisinkana

Verse 7

فَأَمَّا مَنۡ أُوتِيَ كِتَٰبَهُۥ بِيَمِينِهِۦ

Kale nno omuntu aliweebwa ekitabokye mu mukonogwe ogwa ddyo

Verse 8

فَسَوۡفَ يُحَاسَبُ حِسَابٗا يَسِيرٗا

Agenda kubalwa olubala olwangu

Verse 9

وَيَنقَلِبُ إِلَىٰٓ أَهۡلِهِۦ مَسۡرُورٗا

Era adde eri banne nga musanyufu

Verse 10

وَأَمَّا مَنۡ أُوتِيَ كِتَٰبَهُۥ وَرَآءَ ظَهۡرِهِۦ

Naye oyo aliweebwa ekitabokye e mabega w'omugongogwe

Verse 11

فَسَوۡفَ يَدۡعُواْ ثُبُورٗا

Agenda kukuba e biwoobe

Verse 12

وَيَصۡلَىٰ سَعِيرًا

Yeesogge omuliro Sa-iira

Verse 13

إِنَّهُۥ كَانَ فِيٓ أَهۡلِهِۦ مَسۡرُورًا

Kubanga yabeeranga (ku nsi) mu bantube nga musanyufu (mu kujeemera amateeka ga Mukama Katonda)

Verse 14

إِنَّهُۥ ظَنَّ أَن لَّن يَحُورَ

Bambi! yalowooza nti tagenda kuzuukira

Verse 15

بَلَىٰٓۚ إِنَّ رَبَّهُۥ كَانَ بِهِۦ بَصِيرٗا

So nno, mazima Katondawe yalinga amulaba

Verse 16

فَلَآ أُقۡسِمُ بِٱلشَّفَقِ

Ndayira ekire ekimyufu (ekibaawo ng'enjuba yakagwa)

Verse 17

وَٱلَّيۡلِ وَمَا وَسَقَ

Ne ndayira n'ekiro n'ebyo bye kikungaanya

Verse 18

وَٱلۡقَمَرِ إِذَا ٱتَّسَقَ

Era ndayira omwezi bwe guba gujjudde

Verse 19

لَتَرۡكَبُنَّ طَبَقًا عَن طَبَقٖ

Mujja kukyusibwakyusibwa (mu mbeera za mmwe nga muva mu mbeera okudda ku ndala)

Verse 20

فَمَا لَهُمۡ لَا يُؤۡمِنُونَ

Naye lwaki tebakkiriza

Verse 21

وَإِذَا قُرِئَ عَلَيۡهِمُ ٱلۡقُرۡءَانُ لَا يَسۡجُدُونَۤ۩

Ne Kur'ani bwe basomerwa tebavunnama

Verse 22

بَلِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ يُكَذِّبُونَ

Wabula e nsonga ebagaana okuvunnama lwakuba nti abakafuuru balimbisa (Kur'ani)

Verse 23

وَٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِمَا يُوعُونَ

So nga Katonda amannyidde ddala bye bakweka (mu mitima gyabwe)

Verse 24

فَبَشِّرۡهُم بِعَذَابٍ أَلِيمٍ

Bawe amawulire nti bagenda kubeera mu bibonerezo ebiruma

Verse 25

إِلَّا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ لَهُمۡ أَجۡرٌ غَيۡرُ مَمۡنُونِۭ

Okugyako abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirongoofu. Abo be bagenda okufuna e mpeera etakutukawo

Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! •