Home

Al-Buruj

البروج

Translation by Sheikh Abdul Razak Matovu

Surah 85

بِسْمِ اللَّهِ الرَّحْمَٰنِ الرَّحِيمِ

Verse 1

وَٱلسَّمَآءِ ذَاتِ ٱلۡبُرُوجِ

Ndayira e ggulu eririmu ebifo omutambulira e munyeenye (nga mwe muli e njuba n’omwezi)

Verse 2

وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡمَوۡعُودِ

Era ndayira olunaku olwalagaanyisibwa (olunaku lw’enkomerero)

Verse 3

وَشَاهِدٖ وَمَشۡهُودٖ

Era ndayira oyo aliwa obujulizi n’oyo gwe balibuwaako (ku lunaku lw’enkomerero)

Verse 4

قُتِلَ أَصۡحَٰبُ ٱلۡأُخۡدُودِ

Katonda yagoba mu kusaasirakwe abo abaasima agannya

Verse 5

ٱلنَّارِ ذَاتِ ٱلۡوَقُودِ

Gebaakumamu omuliro ogubumbujja

Verse 6

إِذۡ هُمۡ عَلَيۡهَا قُعُودٞ

Bwe baatuula awo ku mabbali waagwo

Verse 7

وَهُمۡ عَلَىٰ مَا يَفۡعَلُونَ بِٱلۡمُؤۡمِنِينَ شُهُودٞ

Nga bo (bennyini) balaba buli kyonna kyebakola ku bakkiriza

Verse 8

وَمَا نَقَمُواْ مِنۡهُمۡ إِلَّآ أَن يُؤۡمِنُواْ بِٱللَّهِ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡحَمِيدِ

Tebaalina kye baali babavunaana okugyako okukkiriza Katonda oweekitiibwa atenderezebwa

Verse 9

ٱلَّذِي لَهُۥ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ وَٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ شَهِيدٌ

Oyo, obufuzi bwe ggulu omusanvu n'ensi bwonna bubwe. Era Katonda alaba buli kintu

Verse 10

إِنَّ ٱلَّذِينَ فَتَنُواْ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ وَٱلۡمُؤۡمِنَٰتِ ثُمَّ لَمۡ يَتُوبُواْ فَلَهُمۡ عَذَابُ جَهَنَّمَ وَلَهُمۡ عَذَابُ ٱلۡحَرِيقِ

Mazima abo abaawalagganya abakkiriza abasajja n’abakkiriza abakazi ate ne bateenenya, bakutuukibwako e bibonerezo by’omuliro Jahannama era balina e bibonerezo by’omuliro ogwokya ennyo

Verse 11

إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ لَهُمۡ جَنَّـٰتٞ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُۚ ذَٰلِكَ ٱلۡفَوۡزُ ٱلۡكَبِيرُ

Mazima abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi bajja kufuna e jjana nga mukulukutira muyo emigga. Okwo nno kwe kwesiima okwannamaddala

Verse 12

إِنَّ بَطۡشَ رَبِّكَ لَشَدِيدٌ

Mazima okukwata kwa Mukamaawo kwamaanyi nnyo

Verse 13

إِنَّهُۥ هُوَ يُبۡدِئُ وَيُعِيدُ

Kubanga yye ye mutandisi wa buli kintu era yewookubizzaawo

Verse 14

وَهُوَ ٱلۡغَفُورُ ٱلۡوَدُودُ

Era musonyiyi nnyo, era abaagala nnyo

Verse 15

ذُو ٱلۡعَرۡشِ ٱلۡمَجِيدُ

Yye ye nannyini Arishi, Oweekitiibwa

Verse 16

فَعَّالٞ لِّمَا يُرِيدُ

Akola buli ky’aba ayagadde

Verse 17

هَلۡ أَتَىٰكَ حَدِيثُ ٱلۡجُنُودِ

Wali owulidde ku byafaayo by’amagye

Verse 18

فِرۡعَوۡنَ وَثَمُودَ

Aga Firawo n’abantu ba Thamuud

Verse 19

بَلِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فِي تَكۡذِيبٖ

Wabula abo abatakkiriza bali mu kulimbisa

Verse 20

وَٱللَّهُ مِن وَرَآئِهِم مُّحِيطُۢ

So nga Katonda abeetoolodde

Verse 21

بَلۡ هُوَ قُرۡءَانٞ مَّجِيدٞ

Wabula yo Kur'ani (eyassibwa ku Nabbi Muhammad) ya kitiibwa

Verse 22

فِي لَوۡحٖ مَّحۡفُوظِۭ

Eri mu ggwandiikiro erikuumwa obutiribiri

Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! •