Home

Al-Infitar

الإنفطار

Translation by Sheikh Abdul Razak Matovu

Surah 82

بِسْمِ اللَّهِ الرَّحْمَٰنِ الرَّحِيمِ

Verse 1

إِذَا ٱلسَّمَآءُ ٱنفَطَرَتۡ

E ggulu bwe ririba lyeyasizzaamu

Verse 2

وَإِذَا ٱلۡكَوَاكِبُ ٱنتَثَرَتۡ

N'emunyenye bwe ziriba nga zivudde waggulu ne zisaasaana

Verse 3

وَإِذَا ٱلۡبِحَارُ فُجِّرَتۡ

N'ennyanja bwe ziriba nga ziwaguludde

Verse 4

وَإِذَا ٱلۡقُبُورُ بُعۡثِرَتۡ

Ne Kabbuli bwe ziriba nga zifuukuddwa (abafu bonna ne bavaayo)

Verse 5

عَلِمَتۡ نَفۡسٞ مَّا قَدَّمَتۡ وَأَخَّرَتۡ

Omuntu alimanya ebyo bye yakulembeza okukola ne bye yasembyayo

Verse 6

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلۡإِنسَٰنُ مَا غَرَّكَ بِرَبِّكَ ٱلۡكَرِيمِ

Owange ggwe omuntu kale kiki ekyakugayaaza okukuggya ku muleziwo (Katonda) Omugabi

Verse 7

ٱلَّذِي خَلَقَكَ فَسَوَّىٰكَ فَعَدَلَكَ

Oyo eyakutonda n’akutereeza era n’akwenkanyankanya

Verse 8

فِيٓ أَيِّ صُورَةٖ مَّا شَآءَ رَكَّبَكَ

Mu kifaananyi kyonna kye yayagala mwe yakutondera

Verse 9

كَلَّا بَلۡ تُكَذِّبُونَ بِٱلدِّينِ

Nedda, wabula mulimbisa olunaku olw’okusasulwa (olw’enkomerero)

Verse 10

وَإِنَّ عَلَيۡكُمۡ لَحَٰفِظِينَ

Mazima muliko abakuumi (Ba Malayika)

Verse 11

كِرَامٗا كَٰتِبِينَ

Abeekitiibwa abawandiisi (abawandiika ebyo byonna ebikolebwa)

Verse 12

يَعۡلَمُونَ مَا تَفۡعَلُونَ

Bamanyi ebyo byonna byemukola

Verse 13

إِنَّ ٱلۡأَبۡرَارَ لَفِي نَعِيمٖ

Mazima abakozi b’obulungi balibeera mu byengera

Verse 14

وَإِنَّ ٱلۡفُجَّارَ لَفِي جَحِيمٖ

Era mazima abakozi b’ebibi bagenda kubeera mu muliro oguyitibwa Jahiimu

Verse 15

يَصۡلَوۡنَهَا يَوۡمَ ٱلدِّينِ

Bagenda kuguyingira ku lunaku olw’okusasulwa (olw'enkomerero)

Verse 16

وَمَا هُمۡ عَنۡهَا بِغَآئِبِينَ

Tebagenda ku gwebulankanyako

Verse 17

وَمَآ أَدۡرَىٰكَ مَا يَوۡمُ ٱلدِّينِ

On'omanyira ku ki olunaku olw'okusasulwa (olw’enkomerero)

Verse 18

ثُمَّ مَآ أَدۡرَىٰكَ مَا يَوۡمُ ٱلدِّينِ

Naye ddala on'omanyira ku ki olunaku olwokusasulwa (Katonda yakiddamu olwokuggumiza obukulu bw’olunaku olwo)

Verse 19

يَوۡمَ لَا تَمۡلِكُ نَفۡسٞ لِّنَفۡسٖ شَيۡـٔٗاۖ وَٱلۡأَمۡرُ يَوۡمَئِذٖ لِّلَّهِ

Olunaku omwoyo lwe gutaliba na buyinza bugasa mwoyo mulala na kintu kyonna. N’ebiragiro ku lunaku olwo biriba bya Katonda yekka

Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! • Abasiramu be Mangaliba, Mukono-Katoosi road basaba oyo yenna alina obusobozi obubakwasizaako ku nsonga yokusonda sente zokugula ekifo ekyokuzimbamu omuzikiti abakwasizeeko. Contact: +256708581479 • Tusaba Allah atwanguyize ensonga eno! •